Okusiima Vidiyo The Bible—Its Power in Your Life
Ng’oddamu ebibuuzo ebiddirira, laga okusiima okuviira ddala mu mutima gwo ku bubaka obuli mu vidiyo eno. (1a) Kiki ekiwadde obukadde n’obukadde bw’abantu amaanyi okukyusa obulamu bwabwe ne bufuuka obulungi okusingawo? (Beb. 4:12) (1b) Kiki ekyetaagisa okufuna amaanyi gano n’okugakozesa mu bulamu? (2) Byawandiikibwa ki ebyaweebwa okuyamba abafumbo (a) okulongoosa mu mpuliziganya yaabwe ne (b) okufuga obusungu bwabwe? (3) Engeri Omukristaayo gy’atunuuliramu obufumbo eyinza etya okulongoosa obulamu bw’amaka? (Bef. 5:28, 29) (4) Yakuwa Katonda ataddewo atya ekyokulabirako ekirungi mu kuwa abaana ebintu bisatu bonna bye baagala era bye beetaaga, era abazadde leero bayinza batya okukola ekintu kye kimu? (Mak. 1:9-11) (5) Lwaki abazadde bennyini be basaanidde okuyigiriza abaana baabwe Baibuli, era kiki ekiraga obwetaavu bw’okukikola obutayosa? (Ma. 6:6, 7) (6) Abazadde bayinza batya okunyumisa okuyiga kw’amaka? (7) Ng’oggyeko okuyiga Baibuli, kiki Ekigambo kya Katonda kye kikubiriza abazadde okuwa abaana baabwe? (8) Amagezi agali mu Baibuli gayinza gatya okuyamba amaka okuba obulungi mu by’enfuna? (9) Bwe giba gissiddwa mu nkola, misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egiyinza okuyamba okukendeeza ku kulwalalwala? (10) Emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda gireeseewo njawulo ki mu bulamu bwo? (11) Lwaki okulaba vidiyo eno kuyinza okuyamba omuntu gw’oddiŋŋana mu buweereza okukkiriza okuyigirizibwa Baibuli?