Baibuli—Amaanyi Gaayo Kye Gasobola Okukola ku Bulamu Bwo
Baibuli eyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okulongoosa obulamu bwabwe. Egimu ku misingi egiri mu Baibuli eginaatuyamba okwaŋŋanga ebizibu gye giruwa? Awatali kubuusabuusa ojja kusanyuka nnyo bw’onoofuna eky’okuddamu mu kibuuzo kino ng’olaba vidiyo eyitibwa The Bible—Its Power in Your Life, eyokubiri ku vidiyo essatu eziri ku DVD eyitibwa The Bible—A Book of Fact and Prophecy. Ng’omaze okulaba vidiyo eno, osobola okuddamu ebibuuzo bino?
(1) Lwaki tuyinza okugamba nti Baibuli esingawo ku kuba ekitabo ekirungi? (Beb. 4:12) (2) Bwe kiba nti Baibuli esobola okuyamba abantu okulongoosa obulamu bwabwe, lwaki abantu balina ebizibu bingi? (3) Omutwe omukulu ogwa Baibuli gwe guluwa? (4) Byawandiikibwa ki ebyayogeddwako mu vidiyo ebisobola okuyamba abafumbo (a) okuba n’empuliziganya ennungi ne (b) okufuga obusungu? (5) Okuba n’endowooza ey’Ekikristaayo ekwata ku bufumbo kiyinza kitya okulongoosa obulamu bw’amaka? (Bef. 5:28, 29) (6) Yakuwa ateereddewo atya abazadde ekyokulabirako ekirungi? (Mak. 1:9-11) (7) Abazadde bayinza batya okufuula okuyiga kw’amaka okunyuvu? (8) Ng’oggyeko okubayigiriza Baibuli, kiki ekirala Ekigambo kya Katonda kye kikubiriza abazadde okuwa abaana baabwe? (9) Amagezi agali mu Baibuli gayinza gatya okuyamba amaka okweyimirizaawo mu by’enfuna? (10) Misingi ki egiri mu Byawandiikibwa egikwata ku buyonjo, okukozesa ebiragalalagala, okunywa ennyo omwenge, n’okweraliikirira ekisukkiridde eginaatuyamba okwewala endwadde? (11) Bisuubizo ki ebiri mu Baibuli ebinaatuyamba okuba abanywevu mu by’omwoyo? (Yob. 33:25; Zab. 145:16) (12) Enjigiriza eziri mu Kigambo kya Katonda zikuyambye zitya okulongoosa obulamu bwo? (13) Oyinza otya okukozesa vidiyo eno okuyamba abalala?