Baibuli—Ekitabo eky’Amazima era eky’Obunnabbi
Vidiyo eyitibwa Mankind’s Oldest Modern Book y’esooka mu vidiyo essatu ez’enjawulo eziri ku DVD eyitibwa The Bible—A Book of Fact and Prophecy. Ng’omaze okulaba vidiyo eno, ddamu ebibuuzo bino wammanga:
(1) Mu ngeri ki Baibuli gy’ekkiriziganyaamu ne sayansi ow’omu kiseera kino? (2) Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Baibuli ze tulina leero zikwatagana bulungi n’ebiwandiiko ebyasooka? (3) Kiki ekirabikira ennyo mu biwandiiko bya Baibuli eby’edda? (4) Mu ngeri ki John Wycliffe, Johannes Gutenberg, William Tyndale, John Hus, Martin Luther, Casiodoro de Reina, ne Charles Taze Russell gye baafuba ennyo okubunyisa Ekigambo kya Katonda mu nsi yonna, era ekkanisa yaziyiza etya okubunyisibwa kwa Baibuli? (5) Amagezi agali mu Baibuli gayambye gatya abantu okwaŋŋanga ebizibu gamba ng’obulwadde (Zab. 34:8), omuze gw’okukuba zzaala (1 Tim. 6:9, 10), okwawukana n’obutali bwesigwa mu bufumbo (1 Kol. 13:4, 5; Bef. 5:28-33), n’okululunkanira eby’obugagga (Mat. 16:26)? (6) Bujulizi ki obuliwo obulaga nti okukolera ku misingi gya Baibuli kisobola okuyamba omuntu okuvvuunuka obukyayi mu mawanga ne mu langi (Luk. 10:27)? (7) Mu ngeri ki okunywerera ku misingi gya Baibuli gye kikusobozesezza okufuna essanyu erya nnamaddala? (8) Oyinza otya okukozesa vidiyo eno okuyamba abalala?—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2006, olupapula 8.