Okukubiriza Okusiima Vidiyo The Bible—Mankind’s Oldest Modern Book
Ebibuuzo ebiddirira biraga ensonga z’oyinza okuba nga weetegerezza ng’olaba vidiyo eno: (1) Nsonga ki ezaawulawo Baibuli ng’ekitabo ekitageraageranyizika? (2) Waayo ekyokulabirako ku ngeri Baibuli, wadde nga nkadde nnyo, bw’ekkiriziganya ne sayansi ow’ebiseera bino. (3) Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Baibuli eya leero tekyuse okuva ku biwandiiko ebyasooka? (4) Kintu ki ekikulu ennyo mu biwandiiko bya Baibuli eby’edda, era kino kikuwa bwesige ki? (5) Mu ngeri ki John Wycliffe, Johannes Gutenberg, William Tyndale, Mary Jones, ne Charles Taze Russell gye beenyigira mu kubunyisa Ekigambo kya Katonda okwetooloola ensi yonna? (6) Ekkanisa yaziyiza etya Baibuli mu ngeri ey’obukambwe, naye kiki ekigisobozesezza okuwonawo n’okutuuka mu kiseera kyaffe? (7) Entegeka ya Yakuwa ekomye wa mu kuvvuunula n’okufulumya Baibuli? (8) Okubuulirira okulungi okuli mu Baibuli kuyambye kutya abantu okukola ku bizibu eby’okukuba zzaala? (1 Tim. 6:9, 10), okwawukana mu bufumbo n’obutali bwesigwa (1 Kol. 13:4, 5; Bef. 5:28-33), n’okuluubirira okufuna eby’obugagga (Mat. 16:26)? (9) Bukakafu ki obuliwo obulaga nti okussa mu nkola emitindo gy’omu Byawandiikibwa kiyinza okuyamba mu kuvvuunuka obukyayi obuli mu nsi, mu mawanga, ne mu langi? (10) Mu ngeri ki okuyiga ebiri mu Baibuli gye kukuleetedde essanyu erisingawo? (11) Baani boolowooza nti bandiganyuddwa mu vidiyo eno, era onoogibalaga otya?