LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/01 lup. 3
  • Enkuŋŋaana Ennene Kiba Kiseera kya Ssanyu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkuŋŋaana Ennene Kiba Kiseera kya Ssanyu!
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Osiima Ebintu Ebitukuvu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 5/01 lup. 3

Enkuŋŋaana Ennene Kiba Kiseera kya Ssanyu!

1 Enkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa kiba kiseera kya ssanyu nnyo. Okumala emyaka egisukka mu 100, enkuŋŋaana zino zikoze kinene ku kweyongera okubaddewo mu ntegeka yaffe. Okuva ku ntandikwa entono ennyo, tulabye emikisa gya Yakuwa mingi ku mulimu gwaffe ogw’ensi yonna. Mu lukuŋŋaana olunene olwali mu Chicago, Illinois, mu 1893, abantu 70 ku abo 360 abaaliwo baalaga okwewaayo kwabwe eri Yakuwa nga baabatizibwa. Omwaka oguwedde. abantu abaali mu Nkuŋŋaana za District eza “Abakolera ku Kigambo kya Katonda” ezaali mu bifo ebitali bimu mu nsi yonna baali 9,454,055 era abaabatizibwa baali 129,367. Kino nga kireeta essanyu lya kitalo!

2 Okuviira ddala mu biseera bya Baibuli, enkuŋŋaana z’abantu ba Katonda zibadde nteekateeka nkulu nnyo ez’okufuna obulagirizi bwe. Mu kiseera kya Ezera ne Nekkemiya, abantu baawuliriza ng’Amateeka gasomebwa, “okuva enkya mu makya okutuusa ettuntu.” (Nek. 8:2, 3) Olw’okuba baategeera bulungi Amateeka mu kiseera ekyo, abantu ‘baasanyuka nnyo.’ (Nek. 8:8, 12) Naffe tusanyuka kubanga enkuŋŋaana ennene zituwa omukisa okufuna obulagirizi obulungi n’emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi mu ‘kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45) Okuva Yesu bwe yagamba nti omuntu aba mulamu lwa “buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda,” enkuŋŋaana ennene zituyamba mu mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.​—Mat. 4:4.

3 Okufuba Okubaawo mu Lukuŋŋaana Kivaamu Emiganyulo: Ffenna twandibadde n’ekiruubirirwa okubaawo mu bitundu byonna eby’Olukuŋŋaana lwa District olw’omwaka guno olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda.” Tusaanidde tukole enteekateeka okutuuka nga bukyali buli lunaku era tusigalewo twenyigire mu kugamba nti “Amiina” ng’okusaba okuggalawo kuwedde. Okutuukiriza kino, kiyinza okutwetaagisa okukola enkyukakyuka mu nteekateeka zaffe. Kiyinza okubeera ekizibu okufuna olukusa okuva ku mulimu okubaawo mu lukuŋŋaana olunene. Naye twetaaga okubeera n’obuvumu. Bwe tuba nga tujja kwetaaga aw’okusula oba entambula, tusaanidde tukole enteekateeka nga bukyali. Okufuba kwonna kwe tunaakola tekujja kuba kwa bwereere!

4 Emikisa abantu ba Yakuwa gye bafuna mu kubeerawo mu nkuŋŋaana ennene, bagitwala nga gya muwendo nnyo okusinga ssente. Weetegereze ebyokulabirako by’abo abaalina obumalirivu okubeerawo mu Lukuŋŋaana Olunene olw’Ensi Yonna olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwa “Katonda by’Ayagala” mu mwaka 1958 mu kibuga New York. Ow’oluganda omu yaggalawo bizineesi ye ey’obuzimbi okumala wiiki bbiri asobole okubaako obuyambi bw’awa n’okubeera mu lukuŋŋaana olwo olunene. Ow’oluganda mu Virgin Islands yatunda yiika ttaano ez’ettaka, ye n’ab’omu maka ge bonna basobole okubaawo mu lukuŋŋaana olwo. Omugogo gw’abafumbo baatunda eryato lyabwe kibasobozese okutwala abaana baabwe abasatu, okuva ku w’emyezi ebiri okutuuka ku w’emyaka musanvu, mu lukuŋŋaana olwo. Ab’oluganda basatu ab’omubiri mu California baagambibwa nti singa bava ku mirimu gyabwe, bwe bandikomyewo tebandigisanze. Kyokka, ekyo tekyabakugira kugenda mu lukuŋŋaana olwo olutagenda kwerabirwa. Ne mu bitundu byaffe, ab’oluganda ne bannyinaffe batunze ente, embuzi, endiga oba ebirime okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana ennene.

5 Yakuwa Awa Omukisa Okufuba Kwaffe: Yakuwa alaba era n’awa omukisa okufuba kw’abantu be. (Beb. 6:10) Ng’ekyokulabirako, mu lukuŋŋaana olwaliwo mu mwaka 1950 olwa “Okweyongera kwa Teyokulase,” abo abaaliwo baawulira okwogera okukulu ennyo okwalina omutwe ogugamba nti “Embeera z’Ebintu Empya.” Ow’oluganda Frederick Franz, yabuuza ekibuuzo ekyasanyusa abaaliwo bonna: “Ffe abali mu lukuŋŋaana luno olw’ensi yonna akawungeezi kano, kinaatusanyusa okumanya nti mu ffe mulimu bangi abasuubirwa okuba abalangira mu nsi empya?” Kati nga wayiseewo emyaka 50, tukyali basanyufu olw’okutegeera obulungi Zabbuli 45:16.

6 Oluvannyuma lw’okubaawo mu lukuŋŋaana lwa district omwaka oguwedde, omutwe gw’amaka omu eyasiima ennyo, yawandiika ebigambo bino: “Ab’oluganda, muyinza obutamanya ngeri olukuŋŋaana luno gye luwonyezzaamu obulamu bwaffe. Nze n’ab’omu maka gange twasengukira mu kibuga okunoonya omulimu. Kyokka ekyavaamu, embeera yaffe ey’eby’omwoyo yasereba nnyo. . . . Twali tusudde muguluka obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo. Twalekera n’awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu kubuulira. . . . Olukuŋŋaana luno olunene lutuzzizzaamu nnyo amaanyi. Kati ate tutandise buto okussaawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era n’okweteekateeka okubituukiriza.”

7 Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo gye twetaaga. Atuwa ebintu bingi ebirungi mu nkuŋŋaana zaffe ennene. Okusiima kwe tulina eri enteekateeka eno kwandituleetedde okwogera nga Koluneeriyo bwe yayogera nga Peetero amukyalidde: ‘Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by’olagiddwa Yakuwa.’ (Bik. 10:33) Ka kibeere kiruubirirwa kyaffe ‘okubeera mu maaso ga Katonda’ mu bitundu byonna eby’Olukuŋŋaana lwa District olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda” olw’omwaka guno era tusanyuke!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share