LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/01 lup. 1
  • Weeteekereteekere Okuyiga Obunnabbi bwa Isaaya!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeteekereteekere Okuyiga Obunnabbi bwa Isaaya!
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Okusoma Akatabo Daniel’s Prophecy
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Engeri Yakuwa gy’Atuyamba Okugumiikiriza n’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Tuyinza Tutya Okwetegekera Enkuŋŋaana Obulungi?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Tendereza Yakuwa mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 7/01 lup. 1

Weeteekereteekere Okuyiga Obunnabbi bwa Isaaya!

1 “Abasinza abeesigwa bayinza okuba abakakafu nti Yakuwa . . . tajja kuganya nsi ya Setaani okweyongera okubaawo wadde olunaku olumu okusukka ku kiseera ky’ategese okugiggyawo.” Ebigambo ebyo nga bizzaamu nnyo amaanyi! Binokoddwa wa? Mu kitabo Isaiah’s Prophecy​—Light for All Mankind I. Ddala obunnabbi bwa Isaaya buyinza okutuleetera okuwunzika bwe tutyo? Yee! Mu kitabo kya Baibuli ekyo, obulokozi bussibwako nnyo essira. (Is. 25:9) Eyo ye nsonga lwaki kijja kutuzzaamu nnyo amaanyi okusoma ekitundu kino eky’omu Kigambo kya Katonda mu Kuyiga Ekitabo okw’Ekibiina. Tunaabaayo buli wiiki okukisoma? Lwaki tusaanidde okubaawo?

2 Mu Isaaya 30:20 (NW), Yakuwa ayitibwa “Omuyigiriza ow’Ekitalo.” Buli Mukristaayo asaanidde okuwuliriza n’obwegendereza nga Yakuwa atuyigiriza okuyitira mu Kigambo kye n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ by’atuwa. (Mat. 24:45; Is. 48:17, 18) Bwe tutyo bwe tusaanidde okukola nga tusoma ekitabo Isaiah’s Prophecy I. Oyinza otya okuganyulwa mu bujjuvu ng’ekitabo kino kisomebwa?

3 Teekateeka Okwenyigiramu: Waayo ebiseera ebimala buli wiiki okweteekerateekera olukuŋŋaana olwo olw’okuyiga ekitabo. Soma obutundu bwonna obuli mu kitundu eky’okusoma wiiki eyo. Lowooza ku buli kibuuzo. Sazaako eby’okuddamu mu kitabo kyo. Ennyiriri ezijuliziddwa okuva mu kitabo kya Isaaya ziri mu nnukuta nkwafu. Zisome n’obwegendereza. Ebyawandiikibwa ebirala ebiweereddwa, bikebere mu Baibuli olabe engeri gye bikwataganamu n’ekyo ekyogerwako. Fumiitiriza ku ebyo by’oyiga. Oluvannyuma wenyigire mu kuddamu by’otegese gy’okuŋŋaanira okuyiga ekitabo.

4 Ow’oluganda akubiriza okuyiga ekitabo asaanidde okuyamba bonna abaliwo okukozesa obulungi Baibuli era n’okutegeera obulungi omuganyulo oguli mu kitundu ekiyigibwa. Bw’oba ng’olondeddwa okuwa eky’okuddamu ekisooka, ddamu ekibuuzo butereevu ng’otuukira ddala ku nsonga. Omuntu omulala bw’aba ng’amaze okukikola, oyinza okugaziyaako. Oboolyawo, oyinza okulaga engeri ekyawandiikibwa ekikulu gye kiwagiramu omutwe gw’ekitundu ekyo. Gezaako okuddamu mu bigambo byo, era nyumirwa okwenyigira mu kukubaganya ebirowoozo.

5 Ffenna ka twekenneenye obubaka obw’omuwendo ennyo obuli mu kitabo kya Isaaya. Bujja kutukubiriza okwesunga ennyo olunaku lwa Yakuwa olw’obulokozi!​—Is. 30:18.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share