Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda
1 Firipo bwe yali abuulira omukungu, ‘yayasamya akamwa ke n’asookera ku kyawandiikibwa kino n’amubuulira ebikwata ku Yesu.’ (Bik. 8:35) Firipo yali ‘akozesa bulungi ekigambo kya Katonda.’ (2 Tim. 2:15) Wabula leero, abalabirizi abatambula bakizudde nti, ababuulizi bangi tebatera kukozesa Baibuli nga babuulira. Okozesa Baibuli mu buweereza bwo?
2 Ekigambo kya Katonda kye kisinziirwako byonna bye tukkiriza ne bye tuyigiriza. (2 Tim. 3:16, 17) Kye kisikiriza abantu eri Yakuwa era ne kibayamba okufuna obulamu. Eyo y’ensonga lwaki kikulu okukozesa Baibuli mu buweereza bwaffe mu kifo ky’okunyumya obunyumya ku bintu ebitusanyusa. (Beb. 4:12) Olw’okuba abantu abasinga obungi bamanyi kitono nnyo ku Baibuli, twetaaga okugibasomera, tubalage obulagirizi n’essuubi by’ewa olulyo lw’omuntu.
3 Soma Butereevu Okuva mu Baibuli: Gezaako okugenda okubuulira nga tolina nsawo ya bitabo. Gezaako okussa ebitabo by’otwala mu kubuulira mu kasawo akatonotono mu kifo ky’ensawo ennene, era Baibuli ogikwate mu ngalo oba ogisse mu nsawo y’olugoye lwo. Ng’otandise emboozi n’omuntu, oyinza okuggyayo Baibuli mu ngeri etaamuleetere kulowooza nti ogenda kumubuulira bbanga ggwanvu. Liraana omuntu oyo mu ngeri gy’asobola okugobereramu obulungi by’omusomera okuva mu Baibuli yo. Oyinza okumusaba okusomayo olunyiriri mu ddoboozi eriwulikika. Ajja kukwatibwako nnyo bw’aneerabirako n’agage Baibuli ky’egamba okusinga okukiwulira okuva gy’oli. Kya lwatu, okusobola okumuyamba okutegeera ensonga eri mu kyawandiikibwa, osaanidde okuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu ebiri mu kyawandiikibwa ekyo.
4 Ennyanjula y’Ekyawandiikibwa Kimu: Ng’omaze okweyanjula, oyinza okugamba: “Abantu banoonya obulagirizi okuva mu nsonda ez’enjawulo. Ggwe olowooza eruwa esinga okwesigika okutuwa obulagirizi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Olowooza ki ku bigambo bino? [Soma Engero 2:6, 7, era muleke abeeko ky’addamu.] Amagezi g’omuntu galiko ekkomo era gabulako nnyo, ekiviiriddeko bangi okuggwamu essuubi. Ku luuyi olulala, amagezi ga Katonda geesigika era ga muganyulo ebbanga lyonna.” Kati ggyayo ekitabo omulage ekyokulabirako kimu ekyoleka amagezi ga Katonda.
5 Yesu yakozesa Ebyawandiikibwa okuyamba abaalina emitima emyesigwa. (Luk. 24:32) Pawulo yakozesa ebyawandiikibwa okulaga nti bye yali ayigiriza bituufu. (Bik. 17:2, 3) Essanyu lyaffe n’obuvumu bijja kweyongera bwe tuneeyongera okukuguka mu kukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda.