LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/02 lup. 8
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Okuva mu Buwere

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Okuva mu Buwere
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Tendeka Abaana Bo Okuweereza Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Baagale Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 1/02 lup. 8

Abazadde​—Mutendeke Abaana Bammwe Okuva mu Buwere

1 ‘Tendeka omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.’ (Nge. 22:6) Abazadde bwe muba nga temwagala baana bammwe ‘kuva’ mu kkubo ery’amazima, ddi lwe mwanditandise okubatendeka? Mu buwere!

2 Pawulo bwe yagamba nti okuyigirizibwa kwa Timoseewo mu by’omwoyo ‘kwava mu buwere,’ kirabika nga yali ategeeza nti kwatandika nga muto nnyo ddala. (2 Tim. 3:14, 15) Ekyavaamu, Timoseewo yakula n’afuuka omuntu eyettanira ennyo eby’omwoyo. (Baf. 2:19-22) Abazadde, nammwe musaanidde ‘okutandikira mu buwere’ okutendeka abaana bammwe basobole ‘okukula nga batya Yakuwa.’​—1 Sam. 2:21.

3 Bawe Amazzi Ge Beetaaga Okusobola Okukula: Ng’emiti emito bwe gyetaaga okufukirirwa amazzi buli kiseera gisobole okufuuka emiti eminene, n’abaana abato ab’emyaka egitali gimu beetaaga okufukirirwa amazzi ag’amazima ga Baibuli basobole okufuuka abaweereza ba Katonda abakulu mu by’omwoyo. Engeri emu enkulu ey’okuyigiriza abaana amazima n’okubayamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, kwe kuyiga Baibuli ng’amaka obutayosa. Naye abazadde, mufeeyo nnyo ku kiseera kye mumala nga muyigiriza abaana bammwe. Eri abaana abato, okuyiga okumala essaawa enyimpimpi buli lunaku, kiba kya muganyulo nnyo okusinga okuyiga okumala essaawa nnyingi olunaku olumu.​—Ma. 11:18, 19.

4 Togayanga busobozi bw’abaana bo obw’okuyiga. Babuulire ebikwata ku bantu aboogerwako mu Baibuli. Basabe bakube ebifaananyi ebikwata ku bintu ebyogerwako mu Baibuli oba bazannye emizannyo egyesigamiziddwa ku Baibuli. Kozesa bulungi vidiyo zaffe ne kassetti za radiyo nga mw’otwalidde n’ez’emizannyo egyesigamiziddwa ku Baibuli. Okuyiga kw’amaka kutuukaganye n’obukulu bw’abaana bo era n’obusobozi bwabwe obw’okuyiga. Okusooka, okutendeka okwo kusaanidde kubeere kwangu era nga kuli mu kigero ekitonotono; naye omwana bw’agenda akula, okutendekebwa kwe kusaanidde kugaziyizibwe. Okuyiga kwa Baibuli kufuule kunyuvu. Bw’oba ng’oyagala abaana bo ‘okwegombanga’ okuyiga Ekigambo kya Katonda, fuula okuyiga okwo okusanyusa nga bw’osobola.​—1 Peet. 2:2.

5 Bayambe Okwenyigira mu Bikolebwa mu Kibiina: Abaana bo bateerewo ebiruubirirwa ebirungi basobole okwenyigira mu bujjuvu mu bikolebwa mu kibiina. Ekiruubirirwa kyabwe ekisooka kyandibadde ki? Abazadde ab’abaana babiri abato baagamba: “Bombi baatandika okutendekebwa okusirika nga bali mu Kizimbe ky’Obwakabaka.” Oluvannyuma, yamba abaana okubaako bye baddamu mu bigambo byabwe nga bali mu nkuŋŋaana, era n’okubeera n’ekiruubirirwa eky’okwewandiisa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Ate mu buweereza bw’ennimiro, ebiruubirirwa ebirungi byandibadde okuwa omuntu tulakiti, okusoma ekyawandiikibwa, okwanjula magazini oba okunyumya ne nnyinimu mu ngeri ey’amagezi.

6 Ssaawo Ekyokulabirako Ekirungi: Abaana bo bulijjo bakuwulira ng’oyogera ku Yakuwa era ng’omusaba? Bakulaba ng’oyiga Ekigambo kye, ng’ogenda mu nkuŋŋaana, nga weenyigira mu buweereza bw’ennimiro era ng’okola by’ayagala n’essanyu? (Zab. 40:8) Kiba kikulu nnyo bakulabe ng’okola ebintu ebyo era n’okubikolera awamu nabo. Omuwala omu omukulu yayogera bw’ati ku maama we eyakuza abaana mukaaga era ne bafuuka Abajulirwa abeesigwa: “Ekyasinga okutukwatako ennyo, kyali ekyokulabirako kya maama waffe. Ekyokulabirako kye kyatukubirizannyo n’okusinga ebigambo obugambo.” Omuzadde omu ow’abaana abana yagamba: “‘Tetwayogeranga bwogezi nti Yakuwa gwe tukulembeza mu bulamu bwaffe,’ naye twakyoleka mu bulamu bwaffe.”

7 Abazadde mutandike nga bukyali okutendeka abaana bammwe, nga mu bayigiriza amazima ag’omu Kigambo kya Katonda, nga mu bateerawo ebiruubirirwa ebirungi, era nga mu bateerawo ebyokulabirako ebisingayo obulungi. Mujja kuba basanyufu oluvannyuma nti mwakikola!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share