‘Baako ky’Otereka’
Mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka, waaliwo ebyetaago eby’omubiri ebyalina okukolwako. Buli muntu yakubirizibwa ‘okubaako ky’atereka’ okusinziira ku busozi bwe asobole okukiwaayo okukola ku byetaago ebyo. (1 Kol. 16:1-3) Olw’omwoyo ogw’okugaba gwe baalaga, bonna baasanyuka ‘okwebaza Katonda’ mu ngeri eyo.—2 Kol. 9:11, 12.
Leero, omulimu gw’abantu ba Yakuwa mu nsi yonna gweyongera okugaziwa, era gwetaaga okuwagirwa mu by’ensimbi. Kiba kituukirawo naffe ‘okubaako kye tutereka’ bulijjo okusobola okukola ku bwetaavu obwo. (2 Kol. 8:3, 4) Waliwo engeri nnyingi omuntu mw’ayinza okubaako ky’awaayo. (Laba Watchtower aka Noovemba 1, 2001, empapula 28-9.) Okuwaayo tukutwala nga nkizo ya maanyi etuleetera essanyu erya nnamaddala.—Bik. 20:35, NW.