Tusobola Okubaako Kye Tuwa Yakuwa
1 Obadde okimanyi nti abantu balina kye basobola okuwa Katonda? Abeeri, yawaayo ebimu ku bisolo bye ebisingayo obulungi nga ssaddaaka eri Yakuwa, era Nuuwa ne Yobu nabo baakola kye kimu. (Lub. 4:4; 8:20; Yobu 1:5) Kya lwatu nti ebiweebwayo ng’ebyo tebyagaggawaza Mutonzi, okuva bwe kiri nti ye nnannyini byonna. Kyokka ebiweebwayo ebyo byayoleka okwagala okw’amaanyi abasajja abo abeesigwa kwe baalina eri Katonda. Leero, tusobola okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga bye tulina okuwa Yakuwa “ssaddaaka ey’ettendo.”—Beb. 13:15.
2 Ebiseera: Nga kiba kirungi nnyo ‘okugula’ ebiseera okuva ku bintu ebitali bikulu nnyo tusobole okukola ekisingawo mu buweereza! (Bef. 5:15, 16) Oboolyawo tuyinza okukola enkyukakyuka mu nteekateeka zaffe ne tusobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi okumala omwezi gumu mu mwaka oba n’okusingawo. Oba tuyinza okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza. Ku ssaawa ze tutera okumala nga tubuulira buli wiiki, singa twongerako eddakiika 30, obuweereza bwaffe bujja kweyongerako essaawa bbiri buli mwezi!
3 Amaanyi: Okusobola okuba n’amaanyi ag’okukozesa mu buweereza, twetaaga okwewala emirimu n’eby’okwesanyusaamu ebiyinza okutukooya ennyo ne tulemererwa okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo obulungi. Era twetaaga okwewala okweraliikirira ennyo, omutima gwaffe guleme ‘kukutama’ ne kituviirako obutaba na maanyi ga kuweereza Katonda. (Nge. 12:25) Ne bwe kiba nti waliwo ensonga entuufu etuleetera okweraliikirira, nga kyandibadde kirungi nnyo ne ‘tussa omugugu gwaffe ku Yakuwa’!—Zab. 55:22; Baf. 4:6, 7.
4 Eby’Obugagga: Era tusobola okuwagira omulimu gw’okubuulira nga tukozesa eby’obugagga byaffe. Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ‘okubaako kye batereka’ basobole okuyamba abo abali mu bwetaavu. (1 Kol. 16:1, 2) Mu ngeri y’emu, naffe tuyinza okubaako ssente ze tutereka tusobole okuziwaayo olw’okuwagira emirimu gy’ekibiina n’omulimu gw’ensi yonna. Yakuwa asiima nnyo ekyo kye tuwaayo okuviira ddala ku mutima gwaffe, ne bwe kiba kitono kitya.—Luk. 21:1-4.
5 Yakuwa atuwadde ebintu bingi nnyo. (Yak. 1:17) Tulaga nti tusiima bwe tuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga byaffe okusobola okumuweereza. Bwe tukola bwe tutyo, tusanyusa Yakuwa, “kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Kol. 9:7.