LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 12/15 lup. 11-15
  • Oneefiiriza Ku Lw’obwakabaka?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oneefiiriza Ku Lw’obwakabaka?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • SSADDAAKA EZAAWEEBWANGAYO MU ISIRAERI
  • SSADDAAKA EZIWEEBWAYO LEERO
  • OKUWAAYO OKUSINZIIRA KU EBYO BYE TULINA
  • SSADDAAKA ZAFFE ZA MUWENDO NNYO
  • Yigira ku ‘Bintu Ebikulu Ebikwata ku Mazima’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ssaddaaka ez’Okutendereza Ezisanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Waayo Ssaddaaka eri Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ssaddaaka Ezaasanyusa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/15 lup. 11-15
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Oneefiiriza Ku Lw’obwakabaka?

“Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 KOL. 9:7.

EBYAWANDIIKIBWA EBY’OKUFUMIITIRIZAAKO

Ebyawandiikibwa bino wammanga biyinza bitya okukuyamba okumanya obanga ssaddaaka z’owaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka zikkirizibwa?

  • 1 Ebyomumirembe 29:9

  • 1 Abakkolinso 16:1, 2

  • 2 Abakkolinso 8:12

1. Bintu ki bangi bye beefiiriza, era lwaki?

BULIJJO abantu baba beetegefu okubaako bye beefiiriza olw’ebintu bye batwala ng’ebikulu. Abazadde beefiiriza ebiseera byabwe, ssente zaabwe, n’amaanyi gaabwe ku lw’abaana baabwe. Abavubuka ababa baagala okwenyigira mu mizannyo gya Olympics bamala ebiseera bingi nga batendekebwa era nga beegezaamu mu kifo ky’okubeera awamu ne mikwano gyabwe nga beesanyusaamu. Ne Yesu aliko bye yeefiiriza olw’ebintu bye yali atwala ng’ebikulu. Teyeemalira ku byakwesanyusaamu era teyazaala baana. Mu kifo ky’ekyo, yeemalira ku mulimu gw’Obwakabaka. (Mat. 4:17; Luk. 9:58) Abagoberezi ba Yesu nabo baalina ebintu bingi bye beefiiriza olw’Obwakabaka, kubanga Obwakabaka kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwabwe. (Mat. 4:18-22; 19:27) N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Kintu ki kye ntwala ng’ekikulu mu bulamu bwange?’

2. (a) Bintu ki Abakristaayo bonna kye balina okwefiiriza? (b) Ab’oluganda abamu beefiiriza batya okusobola okuwagira Obwakabaka?

2 Waliwo ebintu Abakristaayo bonna bye balina okwefiiriza okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Mu bintu ebyo mwe muli okuwaayo ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okusaba, okusoma Bayibuli, okuba n’okusinza kw’amaka, okugenda mu nkuŋŋaana, n’okugenda okubuulira.a (Yos. 1:8; Mat. 28:19, 20; Beb. 10:24, 25) Olw’okuba tufuba okuwagira Obwakabaka era olw’okuba Yakuwa atuwadde emikisa gye, omulimu gw’okubuulira gweyongedde okukolebwa mu nsi yonna, era abantu bangi beeyongedde okujja ku ‘lusozi olw’ennyumba ya Yakuwa.’ (Is. 2:2) Okusobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, ab’oluganda bangi beefiiriza nga baweereza ku Beseri, nga bakola omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene, nga bateekateeka enkuŋŋaana ennene, oba nga bayamba abo abakoseddwa obutyabaga. Wadde nga Yakuwa tatwetaagisa kukola bintu ebyo okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, ebintu ebyo nabyo byetaagisa okusobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka.

3. (a) Bwe twefiiriza ku lw’Obwakabaka kituganyula kitya? (b) Bibuuzo ki buli omu ku ffe by’asaanidde okwebuuza?

3 Leero, okusinga bwe kyali kibadde, kikulu nnyo okukola kyonna ekisoboka okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Kitusanyusa nnyo okulaba nti waliwo abantu bangi abaliko bye beefiirizza okusobola okuwagira omulimu gwa Yakuwa. (Soma Zabbuli 54:6.) Bwe twoleka omwoyo ng’ogwo omugabi, kituleetera essanyu lingi nga bwe tulindirira Obwakabaka bwa Katonda okujja. (Ma. 16:15; Bik. 20:35) N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: Waliwo engeri yonna gye nnyinza okwongera okwefiiriza ku lw’Obwakabaka? Nkozesa ntya ebiseera byange, ssente zange, amaanyi gange, n’obusobozi bwange? Bwe kituuka ku ssaddaaka ze tuwaayo, kiki kye tusaanidde okujjukira? Kati ka tulabe ekyo kye tuyigira ku zimu ku ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo kyeyagalire.

SSADDAAKA EZAAWEEBWANGAYO MU ISIRAERI

4. Abaisiraeri baaganyulwanga batya mu kuwaayo ssaddaaka?

4 Abaisiraeri baalinanga okuwaayo ssaddaaka okusobola okusonyiyibwa ebibi byabwe. Ate era baalinanga okuwaayo ssaddaaka okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Ezimu ku ssaddaaka ezo buli Muisiraeri yalinanga okuziwaayo ate endala zaaweebwangayo kyeyagalire. (Leev. 23:37, 38) Ebiweebwayo ebyokebwa Abaisiraeri baabiwangayo ng’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, oba ng’ebirabo eri Yakuwa. Ku lunaku yeekaalu ya Sulemaani lwe yaweebwayo, ssaddaaka nnyingi zaaweebwayo eri Yakuwa.​—2 Byom. 7:4-6.

5. Nteekateeka ki Yakuwa gye yakola okusobozesa n’abantu abaavu okuwaayo ssaddaaka?

5 Yakuwa yali akimanyi nti abantu bonna baali tebasobola kuwaayo kye kimu, era teyabasuubiranga kuwaayo kisukka ku busobozi bwabwe. Amateeka ga Yakuwa gaali geetaagisa omuntu okuwaayo ensolo era omusaayi gwayo guyiibwe. Ssaddaaka ezo zaali ‘kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja’ okuyitira mu Mwana we Yesu. (Beb. 10:1-4) Kyokka Yakuwa teyali mukakanyavu. Ng’ekyokulabirako, omuntu bwe yabanga tasobola kuwaayo ndiga oba mbuzi, Katonda yakkirizanga omuntu oyo okuwaayo amayiba. Bwe kityo, n’abantu abaavu baasobolanga okubaako kye bawaayo eri Yakuwa era ne baba basanyufu. (Leev. 1:3, 10, 14; 5:7) Wadde ng’abantu baali bayinza okuwaayo ebika by’ensolo eby’enjawulo, waliwo ebintu bibiri Yakuwa bye yali yeetaagisa abo bonna abaawangayo ebiweebwayo ebya kyeyagalire.

6. Bintu ki Yakuwa bye yali yeetaagisa abo abaawangayo ssaddaaka, era lwaki kyabanga kikulu okutuukiriza ebintu ebyo?

6 Ekisooka, omuntu yalinanga okuwaayo ekisingayo obulungi. Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti singa ensolo gye baawangayo yabanga ndwadde oba ng’eriko obulemu, ssaddaaka eyo teyandikkiriziddwa. (Leev. 22:18-20) Eky’okubiri, omuntu eyabanga awaayo ekiweebwayo yalinanga okuba omulongoofu. Singa omuntu teyabanga mulongoofu, yalinanga okusooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi oba ekiweebwayo olw’omusango okusobola okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa nga tannaba kuwaayo ekiweebwayo ekya kyeyagalire. (Leev. 5:5, 6, 15) Ekyo kyali kikulu nnyo kubanga Yakuwa yagamba nti omuntu yenna ataali mulongoofu bwe yandiridde ku ssaddaaka ey’emirembe, ng’omwo mwe mwali n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, yali wa kuttibwa. (Leev. 7:20, 21) Ku luuyi olulala, singa omuntu yabanga mulongoofu era nga ssaddaaka ye teriiko bulemu, omuntu oyo yandibadde musanyufu nnyo era yandibadde n’omuntu ow’omunda omuyonjo.​—Soma 1 Ebyomumirembe 29:9.

SSADDAAKA EZIWEEBWAYO LEERO

7, 8. (a) Mikisa ki ab’oluganda abeefiiriza olw’Obwakabaka gye bafuna? (b) Bintu ki bye tulina bye tuyinza okukozesa mu mulimu gw’Obwakabaka?

7 Ne leero waliwo ab’oluganda bangi abeefiiriza ebintu ebitali bimu okusobola okuweereza Yakuwa, era ekyo kimusanyusa nnyo. Bwe twewaayo okuyamba bakkiriza bannaffe kituleetera essanyu lingi. Omu ku b’oluganda abakola omulimu ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga yagamba nti afunye essanyu lingi nnyo mu kuweereza mu ngeri eyo. Yagamba nti: “Okulaba essanyu ab’oluganda lye bafuna nga bafunye Ekizimbe ky’Obwakabaka oba nga tubadduukiridde nga bakoseddwa akatyabaga kindeetera okuwulira nti okufuba kwaffe si kwa bwereere.”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Ebiweebwayo bingi byaweebwangayo kyeyagalire, nga ne leero ssaddaaka ze tuwaayo bwe tuziwaayo kyeyagalire (Laba akatundu 7-13)

8 Ekibiina kya Yakuwa kikoze kyonna ekisoboka okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Mu 1904, Ow’oluganda C. T. Russell yagamba nti: “Buli omu alina okwetwala ng’alondeddwa Mukama waffe okuba omuwanika w’ebiseera bye, obuyinza bwe, ssente ze, n’ebirala, era buli omu alina okukozesa obulungi ebintu ebyo okuweesa Mukama waffe ekitiibwa.” Wadde nga kitwetaagisa okubaako ebintu bye twefiiriza okusobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, ekyo bwe tukikola, tufuna emikisa mingi. (2 Sam. 24:21-24) Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebintu bye tulina okuwagira omulimu gw’Obwakabaka?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Ab’oluganda abaweereza ku Beseri mu Australia

9. Musingi ki oguli mu Lukka 10:2-4 ogusobola okutuyamba okukozesa obulungi ebiseera byaffe?

9 Ebiseera byaffe. Kyetaagisa ebiseera bingi n’amaanyi mangi okuvvuunula ebitabo byaffe n’okubikuba mu kyapa, okuzimba ebizimbe mwe tusinziza, okuteekateeka enkuŋŋaana ennene, okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga, n’okukola emirimu emirala egikwataganyizibwa n’Obwakabaka. Ffenna tulina essaawa 24 olunaku. Yesu yalaga omusingi oguyinza okutuyamba okukozesa obulungi ebiseera byaffe. Bwe yali atuma abayigirizwa be okugenda okubuulira, Yesu yabagamba ‘obutalwa mu kkubo nga balamusa omuntu yenna.’ (Luk. 10:2-4) Lwaki Yesu yabagamba bw’atyo? Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Mu biseera by’edda, abantu bwe baabanga balamusagana tebaakomanga ku kwekwata mu ngalo, wabula beegwanga mu kifuba emirundi egiwerako, era ne beeyala ne ku ttaka. Ekyo kyatwalanga ebiseera bingi.” Yesu yali tagamba bagoberezi be kwewulirira ku balala. Mu kifo ky’ekyo, yali ayagala bakimanye nti baalina ebiseera bitono, era nti baalina okukozesa obulungi ebiseera ebyo nga beemalira ku bintu ebisinga obukulu. (Bef. 5:16) Okukolera ku musingi oguli mu bigambo bya Yesu ebyo, naffe kisobola okutuyamba okufuna ebiseera ebimala okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Ab’oluganda nga bali mu Kizimbe ky’Obwakabaka e Kenya, Afirika

10, 11. (a) Ssente ze tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka zikozesebwa zitya? (b) Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu 1 Abakkolinso 16:1, 2?

10 Ssente zaffe. Kyetaagisa ssente nnyingi nnyo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Buli mwaka, ekibiina kya Yakuwa kikozesa ssente nnyingi nnyo okulabirira abalabirizi abakyalira ebibiina, bapayoniya ab’enjawulo, n’abaminsani. Okuva mu 1999, Ebizimbe by’Obwakabaka ebisukka mu 24,500 bye bizimbiddwa mu nsi ezikyakula. Kyokka ate wakyaliwo obwetaavu bw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ebirala nga 6,400. Buli mwezi magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ng’obukadde 100 ze zikubibwa mu kyapa. Ssente zonna ezikozesebwa mu bintu ebyo zeezo ze tuwaayo kyeyagalire.

11 Omutume Pawulo yalaga ekyo kye tuyinza okukola bwe tuba twagala okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. (Soma 1 Abakkolinso 16:1, 2.) Pawulo yakubiriza ab’oluganda mu Kkolinso okubaako ssente ze baterekawo ku ntandikwa ya wiiki mu kifo ky’okulinda wiiki eggweeko balyoke balabe ezifisseewo ze baba bawaayo. Mu ngeri y’emu, leero ab’oluganda ne bannyinaffe bangi babaako ssente ze baterekawo nga bukyali basobole okubaako kye bawaayo. (Luk. 21:1-4; Bik. 4:32-35) Yakuwa asiima nnyo omwoyo omugabi abaweereza be gwe booleka.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Omu ku b’oluganda abakola omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Tuxedo, Amerika

12, 13. Kiki ekiyinza okulemesa abamu okukozesa amaanyi gaabwe n’obusobozi bwabwe mu bujjuvu, era Yakuwa asobola atya okubayamba?

12 Amaanyi gaffe n’obusobozi bwaffe. Bwe tusalawo okukozesa amaanyi gaffe n’obusobozi bwaffe mu mulimu gw’Obwakabaka, Yakuwa atuyamba. Yakuwa mwetegefu okutuyamba nga tuweddemu amaanyi. (Is. 40:29-31) Owulira nga tolina bumanyirivu bwetaagisa okusobola okukola omulimu ogumu mu kibiina kya Yakuwa, oboolyawo ng’olowooza nti abalala be balina obumanyirivu okukola omulimu ogwo? Kijjukire nti Yakuwa asobola okukuyamba okufuna obumanyirivu obwetaagisa okukola omulimu gwe, nga bwe yayamba Bezaaleeri ne Okoliyaabu.​—Kuv. 31:1-6; laba ekifaananyi ku lupapula 11.

13 Yakuwa atukubiriza obutakkiriza kintu kyonna kutulemesa kumuweereza n’obunyiikivu. (Nge. 3:27) Yeekaalu ey’omu Yerusaalemi bwe yali eddamu okuzimbibwa, Yakuwa yakubiriza Abayudaaya okulowooza ennyo ku ekyo kye baali bakola okuwagira omulimu ogwo. (Kag. 1:2-5) Baali balekedde awo okukulembeza omulimu gwa Yakuwa. N’olwekyo, tusaanidde okwebuuza: Okukola omulimu gwa Yakuwa kye kintu kye tutwala ng’ekikulu mu bulamu bwaffe? Waliwo kye tuyinza okukola okusobola okwongera okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu nnaku zino ez’oluvannyuma?

OKUWAAYO OKUSINZIIRA KU EBYO BYE TULINA

14, 15. (a) Kyakulabirako ki ekirungi baganda baffe abatali bulungi mu bya nfuna kye batuteerawo? (b) Kiki kye tusaanidde okukola?

14 Abantu bangi babeera mu bitundu omuli obwavu oba ebizibu ebirala eby’amaanyi. Ekibiina kya Yakuwa kifuba ‘okukola’ ku byetaago by’ab’oluganda ababeera mu bitundu ng’ebyo. (2 Kol. 8:14) Wadde kiri kityo, n’ab’oluganda abatali bulungi mu bya nfuna bafuba okubaako kye bawaayo. Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba ab’oluganda ng’abo nga nabo bagaba n’essanyu.​—2 Kol. 9:7.

15 Mu nsi emu enjavu ey’omu Afirika, ab’oluganda abamu bwe balima ebirime byabwe basalawo nti ekitundu ekimu eky’ennimiro yaabwe ebirime byonna ebinaakivaamu bajja kubitunda era ssente ezinaavaamu baziweeyo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Mu nsi eyo y’emu, lumu waaliwo Ekizimbe ky’Obwakabaka ekyali kigenda okuzimbibwa. Baganda baffe ne bannyinaffe baali baagala okuwagira omulimu ogwo kyokka ng’ekizimbe ekyo kyali kigenda kuzimbibwa mu kiseera eky’okusiga. Olw’okuba baali baagala nnyo okuwagira omulimu ogwo, baagendanga ku makya okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka ate olw’eggulo ne bagenda okusiga ebirime byabwe. Ng’ab’oluganda abo baayoleka omwoyo ogw’okwefiiriza! Ekyo kitujjukiza ab’oluganda ab’omu Makedoni abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Wadde nga baali “baavu nnyo,” baasaba baweebwe akakisa okuyamba bakkiriza bannaabwe abaali mu bwetaavu. (2 Kol. 8:1-4) Naffe tusobola okubakoppa nga buli omu ku ffe afuba okuwaayo ky’asobola ‘okusinziira ku mukisa Yakuwa gw’amuwadde.’​—Soma Ekyamateeka 16:17.

16. Kiki kye tulina okukola okusobola okulaba nti ssaddaaka zaffe zikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa?

16 Naye waliwo ekintu kye tusaanidde okujjukira. Okufaananako Abaisiraeri abaaliwo mu biseera by’edda, naffe tusaanidde okufuba okulaba nti ssaddaaka ze tuwaayo kyeyagalire zikkirizibwa mu maaso ga Katonda. Kiki kye tulina okukola okusobola okulaba nti ssaddaaka zaffe zikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa? Tulina okulaba nti tetugwa lubege bwe kituuka ku kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka n’okuweereza Yakuwa. Okuwaayo ebiseera byaffe n’ebintu byaffe okuyamba abalala tekisaanidde kutuleetera kulagajjalira byetaago by’ab’omu maka gaffe eby’omwoyo oba eby’omubiri. Ekyo singa kibaawo, tuba ng’abawaddeyo ebyo bye tutalina. (Soma 2 Abakkolinso 8:12.) Ate era tulina n’okufuba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. (1 Kol. 9:26, 27) Bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli, ssaddaaka ze tuwaayo zijja kutuleetera essanyu, era zijja ‘kukkirizibwa’ mu maaso ga Yakuwa.

SSADDAAKA ZAFFE ZA MUWENDO NNYO

17, 18. Okuba nti waliwo ab’oluganda bangi abooleka omwoyo ogw’okwefiiriza kituleetera kuwulira tutya, era kiki ffenna kye tusaanidde okulowoozaako?

17 Baganda baffe ne bannyinaffe bangi beewaayo “ng’ekiweebwayo ekinywebwa ekiyiibwa” nga bakola kyonna ekisoboka okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. (Baf. 2:17) Tusiima nnyo bakkiriza bannaffe ng’abo abooleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Era tusiima nnyo ne bakyala b’ab’oluganda abatwala obukulembeze mu mulimu gw’Obwakabaka awamu n’abaana baabwe olw’okwoleka omwoyo omugabi n’omwoyo ogw’okwefiiriza.

18 Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Ka ffenna tufube okulowooza ku ngeri gye tuyinza okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu bujjuvu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kufuna emikisa mingi mu kiseera kino ne “mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.”​—Mak. 10:28-30.

a Laba ekitundu “Waayo Ssaddaaka eri Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 15, 2012, olupapula 21-25.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share