Yigira ku ‘Bintu Ebikulu Ebikwata ku Mazima’
“[Mutegeera] ebintu ebikulu ebikwata ku kumanya n’amazima ebiri mu Mateeka.”—BAR. 2:20.
NOONYA EBY’OKUDDAMU MU BIBUUZO BINO:
Ssaddaaka ezaalagirwa mu Mateeka ga Musa zaali zisonga ku ki?
Ssaddaaka Abakristaayo ze bawaayo leero zifaananako zitya n’ezimu ku ezo Abaisiraeri ze baawangayo?
Ssaddaaka ki Yakuwa z’akkiriza, era ssaddaaka ki z’atakkiriza?
1. Lwaki twetaaga okutegeera amakulu g’ebintu ebyali mu Mateeka ga Musa?
EBYO omutume Pawulo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika bituyamba okutegeera ebintu ebikulu bingi ebyali mu Mateeka ga Musa. Ng’ekyokulabirako, mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya, Pawulo yalaga bulungi engeri Yesu, ‘kabona asinga obukulu era omwesigwa,’ gye yasobola okuwaayo omulundi ogumu “ssaddaaka etabaganya” n’asobozesa abantu abagikkiririzaamu okufuna “obulokozi obw’olubeerera.” (Beb. 2:17; 9:11, 12) Pawulo era yakiraga nti weema entukuvu yali “kisiikirize ky’ebintu eby’omu ggulu” era nti Yesu yafuuka Omutabaganya ‘w’endagaano esingako obulungi’ ku eyo Musa mwe yali omutabaganya. (Beb. 7:22; 8:1-5) Mu kiseera kya Pawulo, kyali kyetaagisa okunnyonnyola Abakristaayo amakulu g’ebintu ebyali mu Mateeka. Ebyo Pawulo bye yayogera naffe bisobola okutuyamba okwongera okusiima ebintu byonna Katonda by’atukoledde.
2. Nkizo ki Abakristaayo Abayudaaya gye baalina Ab’amawanga gye bataalina?
2 Ebimu ku bintu Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo b’omu Rooma yali abyolekezza eri Abakristaayo Abebbulaniya abaali mu Rooma era abaali bayigiriziddwa Amateeka ga Musa. Yakiraga nti abantu ng’abo, okuva bwe kiri nti baali bamanyi ebintu ebyali mu Mateeka ga Musa, baali bategeera “ebintu ebikulu ebikwata ku kumanya n’amazima,” era ng’ebintu ebyo bikwata ku Yakuwa n’emisingi gye egy’obutuukirivu. Olw’okuba baali bategeera ‘ebintu ebikulu ebikwata ku mazima’ era nga babyagala, Abakristaayo Abebbulaniya, okufaananako Abayudaaya abaaliwo mu biseera by’edda, baali basobola okuyigiriza abantu abalala ebikwata ku Mateeka ga Musa, Yakuwa ge yali awadde abantu be.—Soma Abaruumi 2:17-20.
EBINTU EBYALI EKISIIKIRIZE KYA SSADDAAKA YA YESU
3. Okwekenneenya ebikwata ku ssaddaaka Abayudaaya ze baawangayo kituganyula kitya?
3 Ebintu ebikulu ebikwata ku mazima Pawulo bye yayogerako naffe bisobola okutuyamba okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa. Emisingi egyali mu Mateeka ga Musa ne leero gikyali gya muganyulo gye tuli. N’olw’ensonga eyo, ka twetegerezeeyo ekintu kimu ekyali mu Mateeka—engeri ssaddaaka n’ebiweebwayo gye byatwala Abayudaaya abawombeefu eri Kristo n’engeri gye byabayamba okutegeera ebyo Katonda bye yali abeetaagisa. Era okuva bwe kiri nti ebintu ebikulu Yakuwa bye yeetaagisa abaweereza be tebikyuka, tugenda kwetegereza n’engeri amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri agakwata ku kuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo gye gayinza okutuyamba okulaba obanga obuweereza bwaffe busiimibwa mu maaso ge.—Mal. 3:6.
4, 5. (a) Amateeka ga Musa gajjukiza ki abantu ba Katonda? (b) Ssaddaaka ezaaweebwangayo zaali zisonga ku ki?
4 Amateeka ga Musa gajjukizanga Abayudaaya nti baali boonoonyi. Ng’ekyokulabirako, omuntu yenna eyakwatanga ku mulambo yalinanga okutukuzibwa. Omuntu okusobola okutukuzibwa, yalinanga okuwaayo ente eya lukunyu ennamu obulungi. Kabona yattanga ente eyo, n’agyokya, era evvu lyayo n’alikozesa okuteekateeka amazzi ag’okutukuza. Ku lunaku olw’okusatu n’olw’omusanvu, okuva omuntu oyo lwe yafuuka atali mulongoofu, yamansirwangako amazzi ago asobole okutukuzibwa. (Kubal. 19:1-13) Era Amateeka gajjukizanga Abayudaaya nti abantu bonna bazaalibwa nga tebatuukiridde era nga balina ekibi. Okusinziira ku Mateeka ago, omukazi teyabanga mulongoofu okumala ekiseera oluvannyuma lw’okuzaala era oluvannyuma yalinanga okuwaayo ssaddaaka olw’ekibi.—Leev. 12:1-8.
5 Waliwo n’embeera endala nnyingi ezaali zeetaagisa Abayudaaya okuwaayo ssaddaaka okusobola okusonyiyibwa ebibi. Ka kibe nti baali bakimanyi oba nedda, ssaddaaka ezo, awamu n’ezo oluvannyuma ezaaweebwangayo mu yeekaalu ya Yakuwa, zaali ‘kisiikirize busiikirize’ kya ssaddaaka ya Yesu etuukiridde.—Beb. 10:1-10.
ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU BWE KITUUKA KU KUWAAYO SSADDAAKA
6, 7. (a) Kiki Abaisiraeri kye baalina okujjukira bwe baabanga baagala okuwaayo ssaddaaka, era ekyo kyali kisonga ku ki? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
6 Ensolo Abaisiraeri ze baawangayo eri Yakuwa nga ssaddaaka zaalinanga okuba nga nnamu bulungi—nga si nzibe z’amaaso, nga teziriiko biwundu, nga teziriiko bulemu, era nga si ndwadde. (Leev. 22:20-22) Abaisiraeri bwe baawangayo ebirime eri Yakuwa, byalina okuba nga bye ‘bibereberye,’ era nga bye ‘bisingayo obulungi’ mu bintu bye babanga bakungudde. (Kubal. 18:12, 29) Singa tebaawangayo ekyo ekisingayo obulungi, Yakuwa teyakkirizanga ssaddaaka zaabwe. Abaisiraeri okuwaayo ssaddaaka z’ensolo ezisingayo obulungi, kyali kisonga ku ssaddaaka ya Yesu etandibaddeko bbala wadde akamogo era kyali kiraga nti Yakuwa yandiwaddeyo ssaddaaka esingayo obulungi era ey’omuwendo ennyo okusobola okununula abantu.—1 Peet. 1:18, 19.
7 Omuntu eyawangayo ssaddaaka bwe yabanga ddala yali asiima ebintu Yakuwa bye yabanga amukoledde, yabanga musanyufu okuwa Yakuwa ekyo ekyali kisingayo obulungi ku bintu bye yabanga alina. Omuntu yali asobola okusalawo okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo okuba ekirungi oba nedda. Kyokka yalinanga okukijjukira nti Katonda yali tasobola kusiima ssaddaaka eriko bulemu kubanga ekyo kyandiraze nti omuntu oyo okuwaayo ssaddaaka yali takitwala ng’ekintu ekikulu oba yaziwangayo nga teyeeyagalidde. (Soma Malaki 1:6-8, 13.) Ekyo kisaanidde okutuleetera okulowooza ennyo ku buweereza bwaffe eri Katonda. Kikulu okwebuuza: ‘Lwaki mpeereza Yakuwa? Nneetaaga okulongoosa mu ngeri gye muweerezaamu? Muwa ekyo ekisingayo okuba ekirungi?’
8, 9. Kiki kye tuyigira ku ndowooza Abaisiraeri gye baabanga nayo nga bawaayo ssaddaaka?
8 Omuisiraeri bwe yawangayo ssaddaaka eri Yakuwa kyeyagalire okulaga nti asiima ebyo Yakuwa bye yabanga amukoledde, oba bwe yawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okusobola okusiimibwa Yakuwa, kiyinza okuba nga tekyamuzibuwaliranga kuwaayo nsolo eyabanga esingayo obulungi. Yabanga musanyufu okuwaayo ensolo eyo eri Yakuwa. Leero tetuwaayo ssaddaaka ng’ezo ezaalagirwa mu Mateeka ga Musa; naye tuwaayo ssaddaaka mu ngeri endala. Tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe mu kuweereza Yakuwa. ‘Okwatula mu lujjudde’ essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo, ‘okukola ebirungi, n’okugabana ebintu n’abalala,’ omutume Pawulo yabyogerako nga ssaddaaka ezisanyusa Katonda. (Beb. 13:15, 16) Endowooza gye tuba nayo nga tuweereza Yakuwa eraga obanga tusiima ebintu ebirungi Yakuwa by’atukoledde. N’olwekyo, okufaananako Abaisiraeri, naffe tusaanidde okwekebera tulabe engeri gye tuweerezaamu Yakuwa n’ensonga lwaki tumuweereza.
9 Oluusi Amateeka ga Musa geetaagisanga Omuisiraeri okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi oba ekiweebwayo olw’omusango bwe yabanga aliko ekibi ky’akoze. Okuva bwe kiri nti Abaisiraeri baali bateekeddwa okuwaayo ebiweebwayo ebyo, olowooza Omuisiraeri kyandimuzibuwalidde okubiwaayo kyeyagalire? (Leev. 4:27, 28) Ekyo tekyandimuzibuwalidde singa ddala yabanga ayagala okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
10. “Ssaddaaka” ki ze tuyinza okuwaayo okusobola okutereeza enkolagana yaffe ne Katonda oba ne muganda waffe?
10 Leero, tuyinza okunyiiza muganda waffe nga tetugenderedde. Omuntu waffe ow’omunda ayinza okutandika okutulumiriza olw’ekyo kye tuba tukoze. Naye bwe tuba nga ddala twagala okusanyusa Yakuwa, tujja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti tutereeza enkolagana yaffe ne muganda waffe. Ekyo kiyinza okutwetaagisa okwetondera ow’oluganda gwe tuba tunyiizizza. Ate ekibi kye tuba tukoze bwe kiba eky’amaanyi, kiba kitwetaagisa okutuukirira abakadde batuyambe. (Mat. 5:23, 24; Yak. 5:14, 15) Ekyo kiraga nti okusobola okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne muganda waffe oba ne Katonda, kiba kitwetaagisa okubaako ne kye tukolawo. Kiba nga kuwaayo ssaddaaka. Bwe tuba abeetegefu okuwaayo “ssaddaaka” ng’ezo, tusobola okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu ne muganda waffe era tuddamu okuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Ekyo kituyamba okulaba nti Yakuwa amanyi bulungi ekyo kye twetaaga.
11, 12. (a) Lwaki Abaisiraeri baawangayo ebiweebwayo olw’emirembe? (b) Kiki kye tuyigira ku biweebwayo olw’emirembe?
11 Ssaddaaka endala ezaawebwangayo mu Mateeka ga Musa zaabanga biweebwayo olw’emirembe. Ssaddaaka ezo zaalaganga nti omuntu yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Omuntu eyawangayo ekiweebwayo olw’emirembe, ye n’ab’omu maka ge baalyanga ku nnyama y’ensolo gye yabanga awaddeyo, oboolyawo nga bali mu kimu ku bisenge bya yeekaalu omwalirwanga emmere. Kabona eyasaddaakanga ensolo eyo, awamu ne bakabona abalala abaabanga baweereza mu yeekaalu nabo baaweebwanga ku nnyama eyo. (Leev. 3:1; 7:31-33) Omuisiraeri yawangayo ssaddaaka eyo olw’okwagala okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Kyalinga gy’obeera nti Omuisiraeri oyo, ab’omu maka ge, bakabona, ne Yakuwa bonna baali batudde ku kijjulo nga baliira wamu mu mirembe era nga basanyufu.
12 Okuwaayo ekiweebwayo olw’emirembe kyabanga ng’okwaniriza Yakuwa ku kijjulo. Nga yabanga nkizo ya maanyi okwaniriza Yakuwa ku kijjulo ng’ekyo era n’akkiriza okujja! Kya lwatu nti Omuisiraeri yafubanga okuwaayo ekyo ekisingayo obulungi eri omugenyi ng’oyo ow’ekitiibwa ennyo. Ebiweebwayo olw’emirembe, ekimu ku bintu ebikulu ebikwata ku mazima ebyali mu Mateeka, byali bisonga ku ky’okuba nti okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu esingayo okuba ey’omuwendo, abantu bonna abandyagadde okuba n’enkolagana ennungi n’Omutonzi waabwe baali basobola okugifuna. Leero, tusobola okufuuka mikwano gya Yakuwa singa tuwaayo kyeyagalire ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okumuweereza.
EZIMU KU SSADDAAKA KATONDA Z’ATAKKIRIZA
13, 14. Lwaki Yakuwa teyakkiriza ssaddaaka Kabaka Sawulo gye yali ayagala okuwaayo?
13 Yakuwa yakkirizanga ssaddaaka singa omuntu eyagiwangayo yabanga n’endowooza ennuŋŋamu. Naye mu Bayibuli mulimu n’ebyokulabirako by’abantu abaawaayo ssaddaaka Yakuwa z’atakkiriza. Lwaki ssaddaaka ezo tezaamusanyusa? Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri.
14 Nnabbi Samwiri yagamba Kabaka Sawulo nti ekiseera kyali kituuse Yakuwa okuzikiriza Abamaleki. Bwe kityo, yagamba Sawulo okubasaanyawo bonna awamu n’ebisolo byabwe byonna. Kyokka, oluvannyuma lw’okuwangula olutalo, Sawulo yaleka abasajja be okuwonyaawo Agagi, eyali kabaka w’Abamaleki. Era Sawulo yawonyaawo n’ebisolo byabwe ebyali birabika obulungi ng’agamba nti byali bya kuweebwayo nga ssaddaaka eri Yakuwa. (1 Sam. 15:2, 3, 21) Kiki Yakuwa kye yakola? Yagaana Sawulo okuba kabaka olw’obujeemu bwe. (Soma 1 Samwiri 15:22, 23.) Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti Katonda okusobola kukkiriza ssaddaaka zaffe, tulina okuba nga tukwata ebiragiro bye.
15. Abaisiraeri okuwaayo ssaddaaka ate nga mu kiseera kye kimu bakola ebintu ebibi kyalaga ki?
15 Waliwo n’ekyokulabirako ekirala ekiri mu kitabo kya Isaaya. Mu kiseera kya Isaaya, Abaisiraeri baawangayo ssaddaaka eri Yakuwa okusobola okusonyiyibwa ebibi byabwe naye ng’ate mu kiseera kye kimu bakola ebintu ebibi. Ekyo kyaleetera ssaddaaka zaabwe obutakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa. Yabagamba nti: “Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira, . . . nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n’amasavu g’ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw’abaana b’endiga, newakubadde ogw’embuzi [ennume]. . . . Temuleetanga nate bitone ebitaliimu; obubaane bwa muzizo gye ndi.” Ekizibu kyali kivudde ku ki? Katonda yabagamba nti: “Bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi. Munaabe, mwerongoose; muggyengawo obubi bw’ebikolwa byammwe bive mu maaso gange; mulekenga okukola obubi.”—Is. 1:11-16.
16. Ssaddaaka ki ezikkirizibwa mu maaso ga Katonda?
16 Yakuwa teyasanyukiranga ssaddaaka ezaaweebwangayo aboonoonyi abatayagala kwenenya. Naye yakkirizanga essaala awamu n’ebiweebwayo by’abo abaafubanga okukwata ebiragiro bye. Ebintu ebikulu ebyali mu Mateeka byalaga abantu ng’abo nti baali boonoonyi era nti baali beetaaga okusonyiyibwa ebibi byabwe. (Bag. 3:19) Ekyo kyabaleeteranga okunakuwalira ebibi byabwe era ne beenenya mu bwesimbu. Mu ngeri y’emu leero, naffe twetaaga okukijjukira nti ssaddaaka ya Kristo ye yokka esobola okutangirira ebibi byaffe. Singa tutegeera obukulu bwa ssaddaaka eyo era ne tulaga nti tugisiima, Yakuwa ajja ‘kusanyukira’ ebintu byonna bye tukola nga tumuweereza.—Soma Zabbuli 51:17, 19.
KIRAGE NTI OKKIRIRIZA MU SSADDAAKA YA YESU!
17-19. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Abaisiraeri bo baalaba ‘kisiikirize busiikirize’ eky’ekigendererwa kya Katonda, naye ffe tulabira ddala ebintu byennyini. (Beb. 10:1) Amateeka agakwata ku kuwaayo ssaddaaka gaayamba Abaisiraeri okumanya ekyo kye baalina okukola okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Baalina okumusiima olw’ebintu bye yali abakoledde, okumuwa ekyo ekisingayo obulungi, n’okukitegeera nti baali beetaaga okusonyiyibwa ebibi byabwe. Leero, Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani bituyamba okutegeera nti okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, Yakuwa ajja kuggirawo ddala ekibi n’okufa. Era okuyitira mu kinunulo, Yakuwa asobola okusonyiwa ebibi byaffe ne tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa!—Bag. 3:13; Beb. 9:9, 14.
18 Kya lwatu nti okusobola okuganyulwa mu kinunulo, twetaaga okukola ekisingawo ku kutegeera obutegeezi amakulu gaakyo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Amateeka gafuuse mutwazi waffe atutwala eri Kristo tusobole okuyitibwa abatuukirivu olw’okukkiriza.” (Bag. 3:24) Tulina okwoleka okukkiriza okwo mu bikolwa. (Yak. 2:26) Bwe kityo, Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaalina okumanya okwali kukwata ku bintu ebikulu ebyali mu Mateeka ga Musa okukolera ku kumanya kwe baali balina. Bwe bandikoze bwe batyo, enneeyisa yaabwe yandibadde etuukana bulungi n’amazima ge baali bayigiriza abalala.—Soma Abaruumi 2:21-23.
19 Wadde nga leero Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa, balina okuwaayo ssaddaaka ezikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri kino gye tusobola okukikolamu.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 17
Ebintu ebikulu Yakuwa bye yeetaagisa abaweereza be tebikyuka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Nsolo ki gye wandiwaddeyo eri Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Abo abawaayo eri Yakuwa ssaddaaka ezikirizibwa, basiimibwa mu maaso ge