Buli Muntu Asobola Okubaako ky’Ayiga Okuva mu Vidiyo Noah—He Walked With God
Soma Olubereberye 6:1 okutuuka ku 9:19. Oluvannyuma laba vidiyo ekwata ku Nuuwa, era olowooze ku ngeri gye wandizzeemu ebibuuzo bino: (1) Ensi yali etya mu nnaku za Nuuwa, era yatuuka etya mu mbeera eyo? (2) Kiki ekyafuula Nuuwa okuba omuntu ow’enjawulo, mulimu ki Katonda gwe yamuwa okukola, era lwaki? (3) Kyandiba nga eryato lyazimbibwa mu kifo ki, kyatwala bbanga ki, era lyali ddene kwenkana wa? (4) Ng’oggyeko okuzimba eryato, Nuuwa n’ab’omu nju ye baalina kukola ki ekirala? (5) Olowooza kyali kitya munda oluvannyuma lw’oluggi okuggalwawo? (6) Wandiwulidde otya ng’owonyeewo mu Mataba? (7) Kiki kye tutera okulaba ekitujjukiza Amataba, era kitegeeza ki? (8) Baibuli by’etutegeeza ku Nuuwa bikuyigirizza ki ku bikwata ku ggwe kennyini, ab’omu nju yo, ne ku mulimu Katonda gw’atuwadde okukola? (9) Bibuuzo ki by’oyagala okubuuza Nuuwa n’ab’omu nju ye bw’onoobasisinkana mu Lusuku lwa Katonda? (10) Kati oteeseteese kukozesa otya vidiyo ekwata ku Nuuwa?