Okubuulira Amawulire g’Obwakabaka Kuwonya Obulamu!
1 Gwe mulimu ogusingira ddala obukulu ogukolebwa mu nsi leero. Yakuwa Katonda, Yesu Kristo, n’enkuyanja ya bamalayika bagutaddeko omwoyo. Mulimu ki ogwo, era lwaki mukulu? Kwe kubuulira amawulire g’Obwakabaka, era nga kuwonya obulamu!—Bar. 1:16; 10:13, 14.
2 Abamu balowooza nti twandisobodde okuyamba abantu mu ngeri esingawo singa twenyigira mu kutereeza embeera y’ensi. Bangi beemalidde ku kaweefube w’okuleeta emirembe, okugezaako okuwonya endwadde, n’okulongoosa embeera y’eby’enfuna. Naye kiki ekijja okusingira ddala okuyamba abantu?
3 Omulimu Ogusingirayo Ddala Obukulu: Amawulire g’Obwakabaka ge gokka agannyonnyola ekigendererwa ky’obulamu, ensonga lwaki abantu babonaabona, era ge gokka agatuwa essuubi eryesigika erikwata ku biseera eby’omu maaso. Amawulire amalungi gayamba abantu okufuuka mikwano gya Yakuwa, era kino ne kibaviirako okufuna “emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna.” (Baf. 4:7) Amawulire g’Obwakabaka ge gokka agawa obulagirizi obuyamba abantu okwaŋŋanga ebizibu by’obulamu kati era ne gannyonnyola engeri y’okuwonawo mu biseera ebijja ng’abantu ababi bazikirizibwa. (1 Yok. 2:17) Mazima ddala, okubuulira amawulire g’Obwakabaka kikulu nnyo.
4 Ekyokulabirako: Ngeri ki eyandibadde esinga obulungi okuyambamu abantu b’oku kyalo ekiri mu kabi k’okubuutikirwa amazzi agaagala okuwaguza ebbibiro? Wandikutte kalobo n’otandika okusenerera amazzi ago nga bw’ogayiwa eri? Oba wandiyooyoose buyooyoosi ekyalo ekyo ekyolekedde akatyabaga? Nedda! Abantu b’oku kyalo ekyo baba balina okulabulwa ku katyabaga akabindabinda, era n’okuyambibwa okukasumattuka! Leero, abo abali mu tulo otw’eby’omwoyo bali mu kabi kanene. (Luk. 21:34-36) Okuva embeera zino ez’ebintu bwe zigenda okuggwaawo, ka tunyiikirire okubuulira bonna nga bwe kisoboka!—2 Tim. 4:2; 2 Peet. 3:11, 12.
5 Nywerera ku Mulimu Guno: Ka tunoonyerezenga engeri z’okutuusa amawulire amalungi ku bantu abalala bangi abeesimbu—mu maka gaabwe, ku nguudo, ku ssimu, n’okuyitira mu kubuulira embagirawo. Omulimu Yakuwa gw’atuwadde, gwe mulimu ogusinga obukulu. Bwe tunaagukola n’obunyiikivu, tujja ‘kwerokola ffekka era n’abo abatuwuliriza.’—1 Tim. 4:16.