Buulira n’Obunyiikivu!
1. Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa kwe tusaanidde okutwala nga kukulu?
1 “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu.” (2 Tim. 4:2) Lwaki okubuulirira kwa Pawulo kukulu nnyo leero? Ebigambo bino bikwata bitya ku bulamu bwaffe n’obw’abalala?
2. Lwaki tunyiikira okunoonya abo abatannawulira mawulire malungi?
2 Obulamu Buzingirwamu: Obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna beetaaga okuwulira amawulire amalungi agasobola okubatuusa ku bulokozi. (Bar. 10:13-15; 1 Tim. 4:16) Abantu bangi abaagala amazima tubasanga mu bitundu ebibuulirwamu enfunda n’enfunda. Bwe tuddayo ku lunaku olulala oba mu biseera ebirala, tuyinza okusangayo abantu abalala. Bwe tuba abanyiikivu mu ngeri eyo, kijja kutusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi era n’obutavunaanibwa musaayi gw’abantu.—Bik. 20:26.
3. Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera nga tuli mu buweereza?
3 Wadde nga baali baziyizibwa nnyo, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ‘bajjuza Yerusaalemi okuyigiriza kwabwe.’ (Bik. 5:28) Naffe tuli bamalirivu ‘okuwa obujulirwa mu bujjuvu’? (Bik. 10:42) Bwe tubeera mu buweereza bw’ennimiro, tukozesa bulungi ebiseera? Bwe tuba tulindirira bannaffe nga bakola okuddiŋŋana, twogerako n’abo ababa bayitawo?
4. Okubuulira n’obunyiikivu kituyamba kitya okuba obulindaala?
4 Kitusobozesa Okweyongera Okuba Obulindaala: Ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno egenda esembera, tulina okusigala nga tutunula, era nga tuli bulindaala. (1 Bas. 5:1-6) Bwe twogera ku ssuubi ly’Obwakabaka entakera, kituyamba obuteemalira nnyo ku bintu ebiri mu nteekateeka y’ebintu eno. (Luk. 21:34-36) Ate era bwe tukuumira olunaku lwa Yakuwa ‘mu birowoozo byaffe,’ tweyongera okunyiikirira omulimu gw’okubuulira oguwonya obulamu.—2 Peet. 3:11, 12.
5. Okuwa obulamu ekitiibwa kitusobozesa kitya okuba abanyiikivu mu buweereza?
5 Bwe tubuulira n’obunyiikivu, twoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku bulamu: “Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9; Ez. 33:11) Ka tubeere bamalirivu okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka mu kitundu kyaffe, tusobole okuleetera Yakuwa ettendo!—Zab. 109:30.