Ebinaatuyamba Okubuulira n’Obunyiikivu
Kikulu nnyo okulowooza ku bukulu bw’ebiseera bye tulimu kubanga kijja kutusobozesa okuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno ezikirizibwa. Amagezi gano wammanga gajja kutuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu.
Buli lunaku saba Obwakabaka bwa Katonda bujje.—Mat. 6:10.
Kuuma omutima gwo ng’osoma Bayibuli buli lunaku.—Beb. 3:12.
Kozesa bulungi ebiseera byo.—Bef. 5:15, 16; Baf. 1:10.
Beera n’eriiso eriraba ‘awamu.’ Totwalirizibwa bintu bya nsi.—Mat. 6:22, 25; 2 Tim. 4:10.
Beera bulindaala nga weetegereza engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye butuukiriramu.—Mak. 13:35-37.
Okulowooza ku bukulu bw’ebiseera bye tulimu kijja kutukubiriza okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira!—Yok. 4:34, 35.