Buulira n’Obunyiikivu!
1 Yesu yali akimanyi nti ekiseera kye yalina okutuukiririzaamu omulimu gwa Kitaawe kyali kitono. (Yok. 9:4) N’olwekyo, yabuulira n’obunyiikivu era n’atendeka abayigirizwa be okubuulira mu ngeri y’emu. (Luk. 4:42-44; 8:1; 10:2-4) Okwefunira ebintu si kye kyali ekiruubirirwa kye. (Mat. 8:20) N’olw’ensonga eyo, yali asobola okumaliriza omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde.—Yok. 17:4.
2 Ebiseera Bitono: Ebiseera bye tusigazizza okubuulira amawulire amalungi ‘mu nsi yonna etuulibwamu’ n’abyo bitono. (Mat. 24:14) Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti tuli wala nnyo mu nnaku ez’enkomerero. Mu kiseera ekitali kya wala nnyo, abo ‘abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu: bajja kubonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n’emirembe.’ (2 Bas. 1:6-9) Olunaku olw’okuzikiriza ababi lujja kugwa bugwi. (Luk. 21:34, 35; 1 Bas. 5:2, 3) Abantu basaanidde okumanya nti obulamu bwabwe buli mu katyabaga. Buvunaanyizibwa bwaffe okubayamba okutuukanya obulamu bwabwe n’ebyo Yakuwa by’ayagala ng’ekiseera kikyaliwo.—Zef. 2:2, 3.
3 Okukola Kyonna kye Tusobola: Olw’okuba bamanyi nti “ebiro biyimpawadde,” abaweereza ba Katonda bateeka omulimu gw’okubuulira mu kifo ekisooka. (1 Kol. 7:29-31; Mat. 6:33) Abamu basazeewo obutakozesa mikisa gye bafunye egyandibasobozesezza okugaggawala oba okuluubirira ebintu ebirala, basobole okwongera ku biseera bye bamala mu kubuulira. (Mak. 10:29, 30) Abalala ‘beeyongera okukola omulimu gwa Mukama waffe’ wadde nga boolekagana n’ebizibu. (1 Kol. 15:58) Bangi bamaze ebbanga ddene nga babuulira amawulire amalungi awatali kuddirira. (Beb.10:23) Okwefiiriza ng’okwo olw’okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, Yakuwa akutwala nga kwa muwendo.—Beb. 6:10.
4 Bwe tukulembeza ebikwata ku kusinza Yakuwa, nga mu bino muzingirwamu okubuulira, kituyamba okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe. Ate era kituyamba obutawugulibwa nsi ya Setaani n’okusigala nga tuli bamalirivu okukuuma empisa entukuvu. (2 Peet. 3:11-14) Mazima ddala bwe tubuulira n’obunyiikivu, kiyinza okuwonyawo obulamu bwaffe era n’obw’abo abatuwuliriza.—1 Tim. 4:16.