Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 3
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 3
Oluyimba 79 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 15 ¶11-19 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyamateeka 14-18 (Ddak. 10)
Na. 1: Ekyamateeka 15:16–16:8 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Tukkiriza nti Waliwo Ekibi—rs-E lup. 373 ¶1–lup. 374 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Obufumbo Bulina Okuba obw’Ekitiibwa—td 17A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu.”—2 Tim. 4:2
Ddak. 10: Yamba Abato Okweteekerateekera Obuweereza. Kukubaganya birowoozo. Balage vidiyo Become Jehovah’s Friend—Let’s Go in Service. (Beera Mukwano gwa Yakuwa—Tugende Tubuulire. Genda ku mukutu jw.org, ku BIBLE TEACHINGS > CHILDREN.) Buuza abato ebibuuzo bino: Baani abalina ensawo mwe basitulira ebitabo nga bagenda okubuulira? Biki bye muteeka mu nsawo zammwe? Kiki Sophia kye yasooka okuteeka mu nsawo ye? Kiki ekirala kye yali yeetaaga? Bwe yamala okuteeka mu nsawo ye buli kye yali yeetaaga, mulimu ki omukulu Sophia ne maama we gwe baali bagenda okukola? Laga ekyokulabirako ng’omu ku bato agaba magazini. Vidiyo eyo bw’eba teeragibwe mu kibiina kyammwe, ebibuuzo ebyo bituukaganye n’ebyetaago by’abato abali mu kibiina kyammwe.
Ddak. 10: Engeri Abamu Gye Babuuliramu n’Obunyiikivu. Kitundu kya kukubirizibwa mukadde. Buuza ababuulizi babiri oba basatu abaakola enkyukakyuka ne batandika okuweereza nga bapayoniya oba ne bongera ku biseera bye bamala nga babuulira. Ng’ofundikira, yogera ku nteekateeka z’okubuulira ze mulina mu kibiina kyammwe, era okubirize bonna okukola enkyukakyuka ezeetaagisa basobole okubuulira n’obunyiikivu.
Ddak. 10: Amagezi Gano Gakuyambye Gatya? Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Saba ababuulizi boogere engeri amagezi agatuweebwa mu kitundu ekirina omutwe, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe” gye gabayambyemu. Ng’ofundikira kubiriza bonna okubuulira n’obunyiikivu nga bakolera ku magezi agatuweebwa mu kitundu ekyo.
Oluyimba 100 n’Okusaba