Okusiima okw’Amaanyi!
1 Amaka Amakristaayo buli wamu gasiimye nnyo vidiyo Young People Ask—How Can I Make Real Friends? Taata omu mu Amereka yagamba nti, oluvannyuma lwa batabani be okulaba vidiyo eno, baatuula wansi ne basiriikiriramu kubanga byonna ebyagirimu byali bituukana bulungi n’embeera zaabwe! Alipoota emu okuva mu Malawi egamba nti ebiri mu vidiyo eyo era byatuukana bulungi nnyo n’embeera za baganda baffe ne bannyinaffe abato ab’omu nsi eyo, kubanga boolekagana n’okupikirizibwa kwe kumu okuva eri bannaabwe ku masomero. Taata omu mu Bugirimaani, yayogera bw’ati ku vidiyo eyo: “Ngitwala ng’okuddamu eri okusaba kwange.” Omuvubuka omu yagamba: “Mwebale okunzijukiza nti Yakuwa anfaako.” Omukadde omu mu New Zealand yagamba: “Yakomyawo omu ku batiini baffe mu kkubo ery’obulamu.” Omufumbo omu yagiraba n’agamba: “Nga njagala nnyo buli muvubuka ali mu mazima okulaba vidiyo eno, emuyambe okufuula amazima agage!” Ab’omu maka, lwaki temuddamu kugiraba? Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
2 Ennyanjula: Ow’omukwano ow’amazima y’ani?—Nge. 18:24.
3 Ebiziyiza Omukwano: Oyinza otya okuvvuunuka ekizibu ky’okwewulira nti teri akufaako? (Baf. 2:4) Lwaki olina okulongoosa engeri zo, era ani ayinza okukuyamba okukola ekyo? Biki ebinaakusobozesa okukola emikwano emirala, era emikwano gino giyinza kusangibwa wa?—2 Kol. 6:13.
4 Omukwano ne Katonda: Oyinza otya okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, era lwaki kino kigwana? (Zab. 34:8) Ani ayinza okukuyamba okunyweza omukwano gwo ne Katonda?
5 Emikwano Emikyamu: Emikwano emibi gye giruwa? (1 Kol. 15:33) Emikwano emibi giyinza gitya okusuula omuntu mu katyabaga ak’eby’omwoyo? Olugero lwa Baibuli olukwata ku Dina lutuyigiriza ki?—Lub. 34:1, 2, 7, 19.
6 Omuzannyo Ogulaga Ebibaawo Ennaku Zino: Ekiwuubaalo kyayisa kitya Tara? Yeekwasa nsonga ki okukolagana n’abavubuka b’ensi? Mitawaana ki gye baamusuulamu? Lwaki bazadde be baalemererwa okulaba akabi ke yalimu, naye ndowooza ki eyabasobozesa okumuyamba mu by’omwoyo? Mwannyinaffe akola nga payoniya yalaga atya nti yali mukwano gwa Tara owa nnamaddala? Lwaki Abakristaayo bateekwa okutwala amagezi agali mu Engero 13:20 ne Yeremiya 17:9? Kya kuyiga ki ekikulu Tara kye yafuna?
7 Okuwumbawumbako: Biki by’oyize okuva mu vidiyo eno? Oyinza kugikozesa otya okuyamba abalala?—Zab. 71:17.