Vidiyo Eyeetaaga Okufumiitirizaako Ennyo
“Vidiyo eno ereetera omuntu okufumiitiriza!”
“Yantuukira ddala ku mutima!”
“Yankwatako nnyo!”
1 Bw’otyo naawe bwe wawulira oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eyitibwa Young People Ask—How Can I Make Real Friends? Emyaka mitono emabega, ow’oluganda omu omuvubuka yafuna ebizibu olw’okuba yalina emikwano emibi. Emikwano egyo gyamuleetera okuggwaamu amaanyi mu by’omwoyo era n’afiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. Mu kiseera ekyo vidiyo eyitibwa Real Friends we yafulumizibwa. Yawandiika bw’ati: “Buli lwe nnalabanga vidiyo eyo, ng’amaziga gankulukuta. Nneebaza Yakuwa olw’okumpa obuyambi mu kiseera kye nnali mbwetaagiramu.” Vidiyo yamuyamba okukyusa enneeyisa ye n’okufuna emikwano emirungi. Yayongerezaako nti: “Tewali kubuusabuusa nti mumanyi bulungi ebizibu ebitawaanya abavubuka.” Abazadde n’abavubuka, lwaki temuddamu ne mulaba vidiyo eno mu kusoma kwammwe okw’amaka okunaddako? Buli kitundu lwe kiggwa, mugiyimirizeemu mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo ebiri mu butundu obuddako.
2 Ennyanjula: Ow’omukwano owa nnamaddala omutegeerera ku ki?—Nge. 18:24.
3 Ebitulemesa Okufuna Emikwano: Oyinza otya kuvvuunuka ekizibu ky’obutaba na mikwano? (Baf. 2:4) Lwaki olina okuba omwetegefu okulongoosa mu ngeri zo, era ani ayinza okukuyamba okukola ekyo? Kiki ekijja okukuyamba okufuna emikwano, era oyinza kugifuna wa?—2 Kol. 6:13.
4 Okuba Mukwano gwa Katonda: Oyinza otya okufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa, era lwaki ekyo kyetaagisa okufuba? (Zab. 34:8) Ani ayinza okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne Katonda?
5 Emikwano Emibi: Emikwano emibi gye giruwa? (1 Kol. 15:33) Emikwano emibi giyinza gitya okwonoona omuntu mu by’omwoyo? Bye tusoma ku Dina mu Baibuli bituyigiriza ki?—Lub. 34:1, 2, 7, 19.
6 Ekyokulabirako eky’Omu Kiseera Kino: Tara yawulira atya olw’obutaba na mikwano? Kiki kye yeekwasa nti kye kyamuleetera okukola omukwano n’abavubuka ab’ensi? Emikwano egyo gyamusuula mu mitawaana ki? Lwaki bazadde be baalemererwa okulaba akabi ke yalimu, naye oluvannyuma baalina ndowooza ki nga bamuyamba mu by’omwoyo? Payoniya yakiraga atya nti ye mukwano gwa Tara owa nnamaddala? Lwaki Abakristaayo basaanidde okugoberera ebigambo ebiri mu Engero 13:20 ne Yeremiya 17:9? Kintu ki ekikulu Tara kye yayiga?
7 Okufundikira: Biki by’oyize mu vidiyo eno? Oyinza otya okugikozesa okuyamba abalala?—Zab. 71:17.