LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/02 lup. 4
  • Essanyu Eriri mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Essanyu Eriri mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • “Osobola Okufuuka Payoniya Omulungi!”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Yakuwa k’Awe “Enteekateeka Zo Zonna Omukisa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 4/02 lup. 4

Essanyu Eriri mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna

1 Ng’omuvubuka, oteekwa okuba nga wali olowoozezzaako ku biseera byo eby’omu maaso. Engero 21:5 lutugamba nti “ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta bulungi bwereere.” Kijja kuba kya muganyulo gy’oli bw’onoolowooza ennyo ku biruubirirwa byo mu bulamu. Bw’oba ng’okola enteekateeka ez’ebiseera byo eby’omu maaso, lowooza ku buweereza obw’ekiseera kyonna. Lwaki?

2 Singa obuuza ku bantu abakulu abaaweerezaako nga bapayoniya mu myaka gyabwe egy’obuvubuka kiki kye gibajjukiza, bonna bajja kwogera kye kimu nti: “Egyo gye myaka egyasingayo okuba emirungi mu bulamu bwange!” Ow’oluganda eyafuna essanyu mu buweereza obw’ekiseera kyonna okuviira ddala mu buvubuka bwe, yayogera bw’ati mu biseera bye eby’obukadde: “Kireeta okumatira kwa maanyi bw’ojjukira ebiseera eby’obuvubuka bwo n’oba ng’osobola okugamba nti nnawuliriza okubuulirira okw’amagezi: “Jjukira kati, Omutonzi wo ow’Ekitalo mu nnaku ez’obuvubuka bwo.” (Mub. 12:1, NW) Okusobola okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu myaka egy’obuvubuka bwo, kikwetaagisa ggwe ne bazadde bo okukola enteekateeka ennungi kati.

3 Abazadde, Mukubirize Abaana Bammwe Okuweereza Ekiseera Kyonna: Nga Taata afaayo, Yakuwa akulaga ekkubo ery’okutambuliramu. (Is. 30:21) Ng’awa obulagirizi ng’obwo, abateerawo mmwe abazadde Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi. Mu kifo ky’okulekera abaana bammwe beesalirewo ekkubo eribasingira obulungi, mubatendeke n’amagezi mu kkubo lye balina okutambuliramu basobole okufuna omukisa gwa Yakuwa. Olwo nno, bwe banaakula, engeri gye mubatendeseemu ejja kubayamba “okwawulanga obulungi n’obubi.” (Beb. 5:14) Abakulu bakimanyi bulungi nti tebayinza kwesiga kutegeera kwabwe; bateekwa okwesigama ku Yakuwa okuluŋŋamya eŋŋendo zaabwe. (Nge. 3:5, 6) Ate bo abavubuka abatalina bumanyirivu bumala mu bulamu, tebeetaaga obulagirizi obwo n’okusingawo?

4 Abazadde, ng’abaana bammwe basemberedde emyaka egya kabuvubuka, oba nga bakyali bato n’okusingako awo, mwogere nabo ku mirimu gye baluubirira okukola. Abasomesa wamu ne bayizi bannaabwe, bajja kugezaako okubayingizaamu omwoyo gw’ensi ogw’okuluubirira ennyo ebintu. Yamba abaana bo okulonda emisomo eginaabayamba okweyimirizaawo, awatali kusuula muguluka ebikwata ku Bwakabaka. (1 Tim. 6:6-11) Emirundi mingi, okusoma okutuuka mu sekendule, ng’ogasseeko n’okutendekebwa mu mirimu gy’emikono, kiyinza okuba nga kye kyokka ekyetaagisa omuntu okusobola okweyimirizaawo ng’akola nga payoniya ow’ekiseera kyonna.

5 Kubiriza abavubuka okulowooza ku kirabo eky’okubeera obwannamunigina. Singa oluvannyuma basalawo okuwasa oba okufumbirwa, bajja kuba basobola bulungi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’obufumbo. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2001 akatundu 19 mu lupapula olw’omunda, wansi w’omutwe “Oli Mwetegefu Okuyamba?”) Ng’oyogera ku bulungi bw’obwapayoniya, okuweereza obwetaavu gye businga obungi, obuweereza bwa Beseri, n’obuminsani, kubiriza abato okwagala okukozesa obulamu bwabwe mu ngeri esanyusa Yakuwa, era ejja okuganyula abalala n’okubaleetera essanyu.

6 Abavubuka, Mukulembeze Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna: Abavubuka temulina kukoma ku kwebuuza bwebuuza omulimu gw’obwapayoniya bwe gufaanana. Osobola okugugezaako ng’okola nga payoniya omuwagizi buli lwe kisoboka mu mwaka gwonna, era ne mu kiseera eky’oluwummula. Olwo nno, ojja kutegeera essanyu eriri mu bwapayoniya! Osobola okukola enteekateeka okuweereza nga payoniya mu mwaka guno ogw’obuweereza?

7 Bw’oba ng’oli mulenzi muto mu kibiina kya Yakuwa, luubirira okubeera omuweereza. (1 Tim. 3:8-10, 12) Ate era, kirowoozeeko obanga onoosaba okuweereza ku Beseri oba okugenda mu Ssomero Eritendeka mu Mirimu gy’Ekibiina bw’oliba ng’owezezza emyaka egyetaagisa. Ojja kuyiga ebintu bingi eby’omuganyulo mu kuweereza nga payoniya, gamba ng’okubeera n’enteekateeka ennungi, okukolagana obulungi n’abalala, era n’okubeera omuntu ow’obuvunaanyizibwa. Ebyo byonna bijja kukusobozesa okweteekerateekera enkizo ez’obuweereza ezisingawo gye bujja.

8 Ekintu ekikulu ennyo bw’oba ow’okutuuka ku buwanguzi mu buweereza obw’ekiseera kyonna, kwe kubeera omunyiikivu. Omutume Pawulo yatukubiriza okuba n’endowooza eyo, era n’alaga emikisa egiyinza okuvaamu: “Buli kye mukola, mukikolenga n’emmeeme yonna ku bwa Yakuwa, . . . kubanga mumanyi nga Yakuwa y’alibawa empeera.” (Bak. 3:23, 24, NW) Yakuwa ka abawe essanyu lingi nnyo mu buweereza obw’ekiseera kyonna!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share