Teekawo Ebiruubirirwa Eby’Eby’Omwoyo
1 Ng’ejja kuba nkizo y’amaanyi nnyo okutendereza Yakuwa emirembe n’emirembe! Okusobola okutuuka ku ekyo, tuyinza okuteekawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo kati era ne tufuba okulaba nti tubituukiriza. Kino kitusobozesa okukozesa amaanyi gaffe mu ngeri ey’amagezi. (1 Kol. 9:26) Biruubirirwa ki ebisoboka by’oyinza okussaawo?
2 Okuyiga Baibuli: Weeteekerateekera buli lukuŋŋaana lw’ekibiina? Bwe kiba bwe kityo, otwala obudde okunoonyereza n’okufumiitiriza ng’osoma? Ekyokulabirako, bw’oba oteekateeka Omunaala gw’Omukuumi n’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina, okoloboza bukoloboza ku by’okuddamu oba okebera ebyawandiikibwa ebiweereddwa n’ofumiitiriza ne ku ngeri gye binnyonnyoddwamu? Oyinza okukifuula ekiruubirirwa kyo okunoonyereza ku nsonga ezimu eziba mu kusoma kwa Baibuli okwa buli wiiki okw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda? Okunoonyereza okwo kutwala obudde n’amaanyi, naye kuvaamu emiganyulo mingi.—Nge. 2:4, 5.
3 Enkuŋŋaana z’Ekibiina: Ekiruubirirwa ekirala, kwe kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna ettaano obutayosa. Okutuuka nga bukyali okusobola okunyumyamu ne bakkiriza bannaffe n’okwenyigira mu luyimba oluggulawo n’okusaba, binyweza ekibiina. Tuyinza n’okufuba okubaako ne kye tuddamu mu buli lukuŋŋaana era ne tunyiikira okulongoosa mu bye tuddamu. Oyinza okulaga engeri ekyawandiikibwa ekiri mu katundu gye kikwataganamu n’ebyo ebiba byogerwako, oba oyinza okulaga engeri ebyo ebyogerwako gye biyinza okukozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.—Beb. 10:24, 25.
4 Obuweereza bw’Ennimiro: Obuweereza bwaffe bweyongera okuba obulungi bwe tuteekawo ebiruubirirwa. Olina essaawa z’oteeseteese okubuulira buli mwezi? Abamu ekyo kibayambye. Oyinza n’okulongoosa mu ngeri ezimu ez’obuweereza bwo, gamba ng’okweyambisa Baibuli mu kubuulira nnyumba ku nnyumba, okuddiŋŋana, okufuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli, oba okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu abayizi ba Baibuli?
5 Abazadde mukubiriza abaana bammwe okuteekawo ebiruubirirwa mu buweereza bwa Yakuwa? Mubayambe okutegeera nti okuweereza nga bapayoniya oba nga Ababeseri ngeri nnungi ez’okwolekamu okusiima kwabwe eri Yakuwa.—Mub. 12:1.
6 Bwe tunneekenneenya bye tukola, ne tuteekawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo, era ne tufuba okubituukiriza, tujja kufuna essanyu erisingawo mu buweereza bwaffe era tujja kuzzaamu n’abalala amaanyi.—Bar. 1:12.