Yamba Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina
1 Buli omu ku ffe afuna emiganyulo mingi nnyo mu kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Omwezi oguwedde twakubaganya ebirowoozo ku ngeri Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina gy’atuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe. Naye kiki kye tuyinza okukola okumuyamba tusobole okufuna emiganyulo ffe ffennyini era n’abalala?
2 Beerawo Buki Wiiki: Olw’okubanga ebibinja by’okusoma ekitabo biba bitonotono, okubeerawo kwo kuba kukulu nnyo. Kifuule ekiruubirirwa kyo okubeerawo buli wiiki. Era oyinza okumuyamba bw’otuuka nga bukyali kubanga ekyo kisobozesa omulabirizi okutandika olukuŋŋaana nga bwe kisaanira.—1 Kol. 14:40.
3 Eby’Okuddamu Ebizimba: Engeri endala gy’oyinza okumuyambamu, kwe kutegeka obulungi era n’okuddamu mu ngeri ezimba. Kiba kirungi singa oyogera ku nsonga emu yokka kubanga ekyo kiyinza okukubiriza abalala okubaako ne bye baddamu. Weewale okwogera ku buli nsonga eri mu katundu. Singa ensonga eri mu kuyiga okwo ekutuuka ku mutima, gyogereko nga muli mmwenna.—1 Peet. 4:10.
4 Singa obeera n’enkizo ey’okusoma ebitundu, fuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Okusoma obulungi kulina kinene kye kukola mu kufuula okuyiga okwo okuba okunyuvu.—1 Tim. 4:13.
5 Okubuulira okw’Awamu: Enkuŋŋaana z’obuweereza zibeera mu bifo ebitali bimu awasomerwa ekitabo era bw’owagira enteekateeka eno, kisobozesa omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo okutuukiriza obuweereza bwe. Enteekateeka ezo zitwale okuba omukisa ogukusobozesa okweyongera okumanya baganda bo n’okubazzaamu amaanyi.
6 Lipoota z’Obuweereza bw’Ennimiro: Engeri endala gy’oyinza okuyambamu omulabirizi, kwe kuwaayo lipoota yo ey’obuweereza bw’ennimiro mu bwangu ku buli nkomerero ya mwezi. Lipoota yo oyinza okugimuwa butereevu oba okugiteeka mu kasanduuko akali mu Kizimbe ky’Obwakabaka omuteekebwa lipoota z’obuweereza. Omuwandiisi w’ekibiina ajja kuggya lipoota z’obuweereza bw’ennimiro mu kasanduuko ezinaaba zikuŋŋaanyiziddwa abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina.
7 Ojja kusiimibwa nnyo singa onookolagana obulungi n’Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina. N’ekisinga byonna, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja ‘kuwa omukisa omwoyo omulungi gw’olaga.’—Baf. 4:23.