Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina—Ensonga Lwaki Lwetaagisa
1. Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina kwatandika kutya?
1 Mu 1895, obubinja bw’Abayizi ba Baibuli, ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bamanyiddwa mu kiseera ekyo, bwayitibwanga Dawn Circles for Bible Study. Emizingo egiyitibwa Millennial Dawn gye gy’akozesebwanga mu nkuŋŋaana ezo ez’okusoma ekitabo. Oluvannyuma, obubinja obwo bwatandika okuyitibwa Berean Circles for Bible Study. (Bik. 17:11) Emirundi mingi akabinja ak’abantu batonotono baakuŋŋaaniranga mu maka g’omuntu omu mu biseera eby’akawungeezi. Enkuŋŋaana zino ye yali entandikwa y’olukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina.
2. Tuyinza tutya ‘okuzziŋŋanamu amaanyi’ nga tuli gye tusomera ekitabo?
2 Obuyambi n’Okuzzibwamu Amaanyi: Okuva ebibinja omusomerwa ekitabo gye bibaamu abantu abatono, ababaawo basobola bulungi okwoleka okukkiriza kwabwe nga babaako bye baddamu. Kino kiviirako ‘okuzziŋŋanamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwa buli omu.’—Bar. 1:12.
3, 4. Enteekateeka ey’okusoma ekitabo etuyamba etya okutuukiriza obuweereza bwaffe?
3 Bwe twetegereza engeri omulabirizi akubiriza ekitabo gy’ayigirizaamu kiyinza okutuyamba ‘okukozesa obulungi ekigambo ky’amazima.’ (2 Tim. 2:15) Weetegereze engeri gy’aggumizaamu Ebyawandiikibwa ebyesigamiziddwako ekitundu ekisomebwa. Okusinziira ku kitabo ekiba kisomebwa, oyo akubiriza okusoma ekitabo ayinza okuggumiza ensonga enkulu nga yeeyambisa Baibuli yokka mu kwejjukanya. Ekyokulabirako kye ekirungi kiyinza okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu mu buweereza obw’Ekikristaayo.—1 Kol. 11:1.
4 Ng’oggyeko okukubiriza okusoma ekitabo, omulabirizi awoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira. Ng’akolaganira wamu n’omulabirizi w’obuweereza, akola enteekateeka ezeetaagisa ez’obuweereza bw’ennimiro. Afuba okuyamba bonna abali mu kibinja kye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’Ekikristaayo obw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20; 1 Kol. 9:16.
5. Buyambi ki bwe tufuna okuyitira mu nteekateeka ey’okusoma ekitabo?
5 Omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo afaayo ku mbeera ey’eby’omwoyo eya buli omu ali mu kibinja kye. Kino akiraga nga bali mu nkuŋŋaana z’ekibiina era ng’akolera wamu nabo mu buweereza obw’ennimiro. Ate era bw’akyalira ab’oluganda, yeeyambisa akakisa ako okubazzaamu amaanyi mu by’omwoyo. Tewali yandikaluubiriddwa kutuukirira mulabirizi akubiriza okusoma ekitabo okusobola okufuna obuyambi obw’eby’omwoyo buli lw’aba abwetaaga.—Is. 32:1, 2.
6. (a) Baganda baffe abali mu nsi ezimu baziddwamu batya amaanyi bwe bakuŋŋaanye mu bubinja obutonotono? (b) Oganyuddwa otya mu nteekateeka ey’okusoma ekitabo?
6 Muzziŋŋaneemu Amaanyi: Mu nsi omulimu gw’abantu ba Katonda gye guwereddwa, ab’oluganda batera okukuŋŋaana mu bubinja obutonotono. Ow’oluganda omu yagamba: “Wadde ng’omulimu gwaffe gwali guwereddwa, twateranga okukuŋŋaana buli wiiki mu bubinja obwabangamu abantu 10 oba 15 buli lwe kyasobokanga. Nga tuli mu nkuŋŋaana twazzibwangamu amaanyi mu by’omwoyo okuva mu ebyo bye twayiganga mu Baibuli era n’okubeeranga awamu n’abalala oluvannyuma lw’okusoma. Buli omu yategeezanga abalala by’ayiseemu era ekyo kyatuyamba okumanya nti ffenna tuli mu buzibu bwe bumu.” (1 Peet. 5:9) Ka naffe tuzzeemu abalala amaanyi nga tuwagira enteekateeka ey’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina mu bujjuvu.—Bef. 4:16.