Engeri Enteekateeka y’Okusoma Ekitabo kw’Ekibiina gy’Etuyambamu
1. Enkuŋŋaana zaffe etaano eza buli wiiki zituyamba zitya?
1 Buli lumu ku nkuŋŋaana etaano ze tuba nazo buli wiiki lukubirizibwa mu ngeri ya njawulo era luba n’ekigendererwa kya njawulo. Kyokka, zonna nkulu nnyo era zituyamba ‘okukubirizigana okuba n’okwagala era n’ebikolwa ebirungi.’ (Beb. 10:24, 25) Ebimu ku bintu ebikulu era eby’omuganyulo mu nteekateeka y’Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo kw’Ekibiina, bye biruwa?
2. Miganyulo ki egiri mu kukuŋŋaanira mu kibinja ekitonotono eky’okusoma ekitabo?
2 Etuyamba Okukulaakulaana mu by’Omwoyo: Okutwalira awamu, abantu ababeera mu lukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo baba batono nnyo bw’obageraageranya n’abo ababeerawo mu nkuŋŋaana endala ez’ekibiina. N’olw’ensonga eyo, kiba kyangu okufuna emikwano egiyinza okutuyamba mu by’omwoyo. (Nge. 18:24) Ofubye okumanya buli omu ku abo abali mu kibinja gy’osomera ekitabo, oboolyawo ng’osaba buli omu ku bo okubuulirako awamu naawe? Ate era olukuŋŋaana olwo lusobozesa omulabirizi alukubiriza okumanya embeera ya buli omu ku abo abali mu kibinja kye era n’okumuzzaamu amaanyi.—Nge. 27:23.
3. Lwaki abayizi ba Baibuli banguyirwa okujja mu lukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo era n’okubaako bye baddamu?
3 Oyita abayizi bo aba Baibuli okubaawo awamu naawe mu lukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo? Abantu abaagala amazima abatya okugenda mu nkuŋŋaana zaffe endala ez’ekibiina bayinza okwanguyirwa okujja mu luno, naddala bwe luba nga luli mu maka g’ow’oluganda. Abato n’abappya ababa mu lukuŋŋaana olwo banguyirwa okubaako bye baddamu. Era okuva bwe kiri nti olukuŋŋaana luno lubaamu abantu batono, tufuna emikisa mingi okubaako bye tuddamu bwe kityo ne tutendereza Yakuwa.—Zab. 111:1.
4. Miganyulo ki emirala egiri mu nteekateeka y’olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo?
4 Okutwalira awamu, olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo luba mu bifo ebiri okumpi n’ababuulizi. Wadde nga tekisoboka buli omu okubeera mu lukuŋŋaana olw’okusoma ekitabo oluli okumpi ne gy’abeera, kiyinza obutatwetaagisa kutambula lugendo luwanvu nnyo nga bwe kiba nga tugenda mu nkuŋŋaana endala ez’ekibiina. Ate era ekifo we tukuŋŋaanira okusoma ekitabo kiyinza okukozesebwa ng’ekifo we tusisinkanira okugenda mu buweereza bw’ennimiro.
5. Omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo ayinza kutuyamba atya mu buweereza?
5 Etuyamba mu Buweereza: Omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo ayagala okuyamba buli omu okubuulira obutayosa n’okufuna ebibala n’essanyu mu buweereza. N’olw’ekyo, afuba nnyo okubuulirako na buli mubuulizi ali mu kibinja kye, ng’amuyamba mu ngeri ezitali zimu ez’obuweereza. Singa wabaawo engeri emu ey’obuweereza ekuzibuwalira, gamba nga okuddiŋŋana, tegeeza oyo akubiriza okusoma ekitabo mu kibinja gy’okuŋŋaanira. Oboolyawo ayinza okukukolera enteekateeka n’obuulirako wamu n’omubuulizi ow’omu kibinja kyo alina obumanyirivu. Obusobozi bwo obw’okuyigiriza bujja kweyongera bw’oneetegereza engeri omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo gy’ayigirizaamu mu olukuŋŋaana olwo.—1 Kol. 4:17.
6. Lwaki twandifubye nnyo okuganyulwa mu nteekateeka y’okusoma ekitabo?
6 Awatali kubuusabuusa, Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina nteekateeka ya kwagala. Enteekateeka eno Yakuwa gy’atuteereddewo etuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo mu biseera bino ebizibu.—Zab. 26:12.