Langirira Amawulire g’Obwakabaka
1 “Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.” (Luk. 4:43) Mu bigambo ebyo, Yesu yalaga nti omutwe gw’obuweereza bwe gwali Obwakabaka bwa Katonda. N’obubaka bwe tubuulira leero, nabwo bwetooloolera ku Bwakabaka, nga bwe kyalagulwa mu Matayo 24:14: “N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” Mazima ki agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda abantu ge beetaaga okuwulira?
2 Obwakabaka bwa Katonda kati bufuga mu ggulu era mangu ddala bujja kuggyawo obufuzi bw’abantu. Omulyolyomi yamala dda okugobebwa mu ggulu, era embeera z’ebintu zino ennyonoonefu ziri mu nnaku zaazo ez’oluvannyuma. (Kub. 12:10, 12) Enteekateeka ya Setaani ennyonoonefu ejja kusaanyizibwawo, naye bwo Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaawo emirembe gyonna.—Dan. 2:44; Beb. 12:28.
3 Obwakabaka bujja kukola ku byetaago byonna eby’abantu abawulize. Bujja kumalawo okubonaabona okuleetebwa entalo, obumenyi bw’amateeka, okunyigirizibwa n’obwavu. (Zab. 46:8, 9; 72:12-14) Wajja kubaawo emmere emala buli omu. (Zab. 72:16; Is. 25:6) Obulwadde n’obulema bijja kuba tebikyaliwo. (Is. 33:24; 35:5, 6) Ng’abantu bagenda bafuuka abatuukiridde, ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda, era abantu bajja kubeera bumu.—Is. 11:6-9.
4 Engeri gye tweyisaamu kati eraga nti twagala okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Amawulire g’Obwakabaka gandibaddeko kye gakola ku bulamu bwaffe bwonna, nga mw’otwalidde n’ebiruubirirwa byaffe n’ebyo bye tutwala ng’ebikulu. Ng’ekyokulabirako, wadde tulina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaffe, tetulina kuleka byetaago byaffe eby’omubiri kutulemesa kukulembeza Bwakabaka. (Mat. 13:22; 1 Tim. 5:8) Mu kifo ky’ekyo, tuteekwa okugoberera okubuulirira kwa Yesu: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna [ebyetaagibwa mu bulamu] mulibyongerwako.”—Mat. 6:33.
5 Kikulu nnyo abantu okuwulira era n’okukkiriza amawulire g’Obwakabaka ng’ekiseera kikyaliwo. N’olwekyo, ka tufube okubayamba ‘okukkiriza amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.’—Bik. 19:8.