LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 2/03 lup. 5
  • Obuyambi mu Kiseera Ekituufu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obuyambi mu Kiseera Ekituufu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Laba Ebirala
  • Teweerabira Abo Abanafuye mu by’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • “Mudde Gye Ndi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Bayambe Okudda Awatali Kulwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 2/03 lup. 5

Obuyambi mu Kiseera Ekituufu

1 Olw’okuba omutume Peetero yali afaayo nnyo ku bakkiriza banne, bwe yalaba nga waliwo obwetaavu bw’okubagumya, yabajjukiza ensonga ezimu mu ngeri y’okwagala era n’abazaamu amaanyi. (2 Peet. 1:12, 13; 3:1) Yakubiriza abo abaali bafunye okukkiriza okweyongera okukulaakulanya engeri zaabwe ez’eby’omwoyo baleme okubeera ‘abagayaavu era abatabala ku bikwata ku kutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.’ (2 Peet. 1:1, 5-8) Ekigendererwa kya Peetero kyali okubayamba okukakasa okuyitibwa n’okulondebwa kwabwe okuva eri Yakuwa, basobole ‘okusangibwa mu mirembe nga tebalina bbala newakubadde omusango.’ (2 Peet. 1:10, 11; 3:14) Okubazzaamu amaanyi mu ngeri eyo bwali buyambi mu kiseera ekituufu eri bakkiriza banne.

2 Leero, abalabirizi Abakristaayo bafaayo ku bantu ba Katonda mu ngeri y’emu. Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ abaweereza ba Yakuwa bangi balina okugumiikiriza embeera ezigezesa. (2 Tim. 3:1) Olw’okubeera n’ebizibu by’eby’enfuna, eby’omu maka, oba ebya kinnoomu, abamu bayinza okwewulira nga Dawudi: “Obubi obutabalika bunneetoolodde, obutali butuukirivu bwange buntuseeko n’okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu; businga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.” (Zab. 40:12) Okunyigirizibwa kuyinza okuba okw’amaanyi ne kuleetera abamu okulagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe obukulu obw’eby’omwoyo, era ne balekera awo okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo. Kyokka, wadde nga balina ebizibu ng’ebyo, ‘tebeerabidde mateeka ga Yakuwa.’ (Zab. 119:176) Kati kye kiseera ekituufu abakadde okuwa abalinga abo obuyambi obwetaagisa.​—Is. 32:1, 2.

3 Okusobola okuwa obuyambi ng’obwo, abakadde bakubiriziddwa okufuba mu ngeri ey’enjawulo okuyamba abo kati abatakyabuulira. Kaweefube ow’okutuukirizaamu kino kati agenda mu maaso, era ajja kutuukira ddala ku nkomerero y’omwezi gwa Maaki. Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina basabibwa okukyalira abo abatakyabuulira okubawa obuyambi obw’eby’omwoyo nga balina ekigendererwa eky’okubayamba okuddamu okubuulira n’ekibiina. Bwe kiba kyetaagisa, enteekateeka ziyinza okukolebwa okusoma nabo Baibuli. Ababuulizi abalala bayinza okusabibwa okuyambako. Singa osabibwa okuyambako, obuyamba bwo buyinza okuba obw’omuganyulo, naddala singa ozzaamu abalala amaanyi mu ngeri ey’ekisa era ey’amagezi.

4 Omubuulizi bw’addamu okwenyigira mu kubuulira, eyo ebeera nsonga etuleetera ffenna okusanyuka. (Luk. 15:6) Okufuba kwaffe okuzzaamu amaanyi abo abanafuye kujja kuba nga “ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu.”​—Nge. 25:11, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza