LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/03 lup. 1
  • Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Ennyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Ennyo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Engeri Ezituleetera Okubeerangawo mu Nkuŋŋaana Zaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • “Mukolenga Bwe Mutyo Okunjijukiranga Nze” Okufa kwa Yesu Kujja Kujjukirwa nga Apuli 2
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Yamba Abalala Okuganyulwa mu Kinunulo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Nyiikira Okukola Ebirungi!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 3/03 lup. 1

Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Ennyo

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kijja Kujjukirwa nga Apuli 16

1 Tweyongera okwesunga nga Apuli 16, 2003 lugenda lusembera. Mu kiro ekyo tujja kujjukira okufa kwa Yesu, nga twegatta ku bukadde n’obukadde bw’abasinza banaffe okwetooloola ensi yonna mu kugulumiza erinnya lya Yakuwa. Yakuwa agwana okutenderezebwa olw’okutukolera enteekateeka ennungi ennyo ey’ekinunulo. Okuyitira mu kinunulo ekyo ajja kuwa abantu abawulize emikisa egy’ekitalo. Twegatta ku muwandiisi wa zabbuli ne tuyimba n’omutima gwaffe gwonna nti: ‘Yakuwa agwana okutenderezebwa ennyo.’​—Zab. 145:3.

2 Kino kiseera kya kufumiitiriza ku bulungi bwa Katonda n’ebbanja lye tulina ery’okumusiima olw’okutusindikira “Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku [bubwe].” (1 Yok. 4:9, 10) Okujjukira Eky’Ekiro kya Mukama Waffe, kireetera emitima gyaffe okutegeera nti, ‘Yakuwa wa kisa, ajjudde okusaasira era asonyiwa nnyo.’ (Zab. 145:8) Mazima ddala, ekinunulo ky’ekintu ekiraga okwagala kwa Yakuwa okukyasingiddeyo ddala eri olulyo lw’omuntu. (Yok. 3:16) Bwe tufumiitiriza ku kwagala kwa Katonda, era ne ku bwesigwa Yesu bwe yalaga, kituleetera okutendereza Yakuwa. Tujja kumutendereza emirembe n’emirembe olw’okwagala kwe okungi kwe yalaga mu kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Zab. 145:1, 2.

3 Yamba Abalala Okutendereza Yakuwa: Okusiima ekirabo kya Katonda eky’ekinunulo ekitageraageranyizika, kitukubiriza okwaniriza bangi okutwegattako mu kutendereza Yakuwa. Omuwandiisi wa Zabbuli yaluŋŋamizibwa okuwandiika bw’ati: “Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.” (Zab. 145:7) Omwaka oguwedde gwokka, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna baamala essaawa ezisukka mu kawumbi kalamba mu mulimu gw’okubuulira. Biki ebyava mu kufuba kwabwe? Okutwalira awamu, buli wiiki abantu abasukka mu 5,100 be baabatizibwa ng’akabonero akalaga okwewaayo kwabwe eri Yakuwa. Omuwendo gw’abantu 15,597,746 abaaliwo ku Kijjukizo, nga mw’otwalidde n’obukadde 9 abatannaba kutandika kutendereza Yakuwa ng’abalangirizi b’amawulire amalungi, gulaga nti waliwo obusobozi bw’okweyongerayongera! Ng’abalangirizi b’Obwakabaka tusiima enkizo yaffe ey’okulangirira amawulire amalungi n’okukyusa emitima gy’abalala okudda eri Yakuwa n’Omwana we era n’Obwakabaka.

4 Engeri ennungi ey’okukubirizaamu abalala okuwa Yakuwa ekitiibwa kwe kubayita okutwegattako nga tujjukira Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Okoze olukalala lw’abo b’oyagala okuyita awamu n’abo abayinza okwetaaga okujjukizibwa olunaku n’essaawa? Bonna abali ku lukalala olwo obayise? Bwe kitaba bwe kityo, fuba okubayita mu budde obusigaddeyo. Bayambe okutegeera obukulu bw’omukolo. Ku mukolo gw’Ekijjukizo weetegeke okwaniriza abagenyi, banjule eri abalala, era obeebaze okubeerawo.

5 Okubeerawo ku Kijjukizo kusobola okuleetera abappya okukulaakulana mu by’omwoyo. Omuyizi wa Baibuli omu alina obulwadde obumuleetera okutya okubeera mu bantu abangi, yajja ku Kijjukizo. Bwe baamubuuza kiki kye yali alowooza ku lukuŋŋaana olwo, yagamba: “Lwali lukuŋŋaana lwa njawulo, era nnalulimu.” Okuva olwo yatandika okubeerangawo mu nkuŋŋaana.

6 Oluvannyuma lw’Ekijjukizo: Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba abappya abaagala okufuuka abasinza ba Yakuwa? Abakadde bajja kwetegereza abappya abanaabeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, era bakole enteekateeka n’ababuulizi abalina ebisaanyizo babakyalire amangu ddala okusobola okuddamu okubajjukiza ebintu ebirungi bye banaaba bayize ne bye balabye. Abamu bayinza okwagala okutandika okuyiga Baibuli. Ate era balina okukubirizibwa okubeerangawo mu nkuŋŋaana eza buli wiiki, okuva okukuŋŋaana obutayosa bwe kwongera ku kumanya kwabwe okwa Baibuli.

7 Enteekateeka zikolebwa okuyamba abo aboosa okubuulira n’okujja mu nkuŋŋaana era n’abo abatakyabuulira okuddamu okukuŋŋaana obutayosa. Singa osabibwa abakadde okuyamba oyo atakyabuulira okuddamu okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, beera mwetegefu okukolaganira awamu nabo. Okulaga baganda baffe okufaayo ng’okwo, kutuukana n’okubuulirira kw’omutume Pawulo: “Bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.”​—Bag. 6:10.

8 Ka ffenna tufube mu ngeri ey’enjawulo tubeerewo ku mukolo gw’Ekijjukizo nga Apuli 16. Tetwandyagadde kusubwa mukolo guno ogusingayo obukulu ogw’okutendereza Yakuwa. Yee, ka tutendereze Yakuwa kati era n’emirembe gyonna olw’emirimu gye emikulu ennyo!​—Zab. 145:21.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share