LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/03 lup. 1
  • Okubuulirira Awamu n’Abalala Kireeta Essanyu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubuulirira Awamu n’Abalala Kireeta Essanyu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Engeri y’Okuganyulwa mu Kibinja Kyo eky’Obuweereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 7/03 lup. 1

Okubuulirira Awamu n’Abalala Kireeta Essanyu

1 Bwe yali ng’atuma abayigirizwa be 70 okubuulira, Yesu yabawa obulagirizi obukwata ku bye bandyogedde, n’abategeka babiri babiri, era n’abategeeza n’ekitundu eky’okubuuliramu. Kino kyabaleetera okufuna essanyu. (Luk. 10:1-17) Mu ngeri y’emu leero, okubuulirira awamu n’abalala kitusobozesa okweteekateeka obulungi, era ne kituzzaamu amaanyi okukola omulimu gw’okubuulira.

2 Abakadde Be Batwala Obukulembeze: Abakadde bakola omulimu gwa maanyi nnyo okuyamba bonna okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa. Omulabirizi w’obuweereza y’awoma omutwe mu kukola entegeka ez’okubuulira okw’omu wiiki wakati. Buli mulabirizi akubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina avunaanyizibwa okukolera ekibinja kye enteekateeka ez’okubuulira, naddala ku wiikendi. Emirundi egimu ekibiina kyonna bwe kikuŋŋaanira awamu okugenda mu nnimiro, gamba ng’oluvannyuma lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, buli mulabirizi akubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina yandikoledde ab’omu kibinja kye enteekateeka ez’okubuulira.

3 ‘Mu Ngeri Ennungi era Entegeke’: Oyo akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda mu nnimiro alina okutandikira mu budde era n’akakasa nti takozesa ddakiika zisukka 10 oba 15. Kyandibadde kirungi agabanyemu abagenda okubuulira era abategeeze ekitundu eky’okubuuliramu nga tannafundikira na kusaba, (okuggyako nga omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina yagenda okukikolako). Kino kiyamba ababuulizi obuteekuŋŋaanyiza wamu mu kitundu eky’okubuuliramu, ekintu ekiyinza okulabisa obubi omulimu gwaffe. Era kino kikwatagana n’okubuulirira kwa Pawulo: ‘Ebintu byonna mubikolenga mu ngeri ennungi era entegeka.’ (1 Kol. 14:40) Abo bonna ababeerawo mu nkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro balina okuwagira entegeka eno nga batuuka mu budde, nga bakolaganira wamu n’oyo atwala obukulembeze, era nga bagenda bunnambiro mu bitundu bye baweereddwa okubuuliramu ng’olukuŋŋaana olwo luwedde.

4 Tubeera Bumu: Entegeka ez’okubuulirira awamu n’abalala zituwa omukisa okumanya bannaffe mu kibiina. Wadde tekigaanibwa kukola ntegeka nga bukyali n’omuntu gw’oyagala okubuulira naye, kyandibadde kya muganyulo okubaawo mu lukuŋŋaana lw’ennimiro nga tolina ntegeka yonna gy’okoze. Tuyinza okugambibwa okukola n’omuntu gwe tutamanyi bulungi, ne kitusobozesa ‘okugaziwa’ mu kwagala kwaffe.​—2 Kol. 6:11-13.

5 Okubuulirira awamu n’abalala kituzzaamu amaanyi era kituleetera okuba obumu ‘ng’abakolera awamu mu mazima.’ (3 Yok. 8) Kale ka twenyigire mu bujjuvu mu kubuulirira awamu n’abalala!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share