LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/15 lup. 3-6
  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Ganyulwa mu Nkuŋŋaana z’Okugenda mu Nnimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Ebinaatuyamba Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Lukuŋŋaana lw’Okugenda Okubuulira
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 3/15 lup. 3-6

Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo

1. Enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zituganyula zitya?

1 Lumu, Yesu yakola olukuŋŋaana n’abayigirizwa be 70 nga tebannagenda kubuulira. (Luk. 10:1-11) Yabazzaamu amaanyi ng’abajjukiza nti tebandibadde bokka wabula bandibadde bakolera wamu ne Yakuwa, “Nnannyini makungula.” Yabawa n’obulagirizi obwandibayambye okukola obulungi omulimu ogwo era n’abatuma “babiri babiri.” Ne leero, enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zituzzaamu amaanyi era zitubangula.

2. Olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira lusaanidde kumala ddakiika mmeka?

2 Mu kiseera kino, enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zimala eddakiika 10 oba 15, era nga zizingiramu okugaba ababuulizi, okubawa ekitundu eky’okubuuliramu, n’okusaba. Enkola eno ekyusiddwamu. Okutandika ne Apuli, olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira lujja kumalanga eddakiika ttaano oba musanvu. Naye bwe luba lwa kubaawo ng’enkuŋŋaana ziwedde, luyinza n’obutaweza ddakiika ezo kubanga ab’oluganda baba bamaze okuyigirizibwa ebintu bingi. Obutakozesa biseera bingi mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira kitusobozesa ffenna okumala ebiseera ebiwerako mu buweereza. Okugatta ku ekyo, bapayoniya oba ababuulizi bwe baba baatandise dda okubuulira ng’olukuŋŋaana terunnatandika, tebataataganyizibwa nnyo olukuŋŋaana bwe lumala eddakiika ntono.

3. Enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zirina kutegekebwa zitya zisobole okuganyula ababuulizi?

3 Enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zirina okutegekebwa obulungi zisobole okuganyula ababuulizi. Mu bibiina bingi, kiba kirungi ebibinja by’obuweereza ne bikuŋŋaanira mu bifo eby’enjawulo mu kifo ky’okukuŋŋaanira mu kifo kimu. Bwe kiba bwe kityo, ababuulizi kibanguyira okutuuka mu bifo gye bakuŋŋaanira ne mu bitundu bye babuuliramu. Ate era oyo aba akubirizza kimwanguyira okugaba ababuulizi, n’abalabirizi b’ebibinja kibasobozesa okuyamba buli mubuulizi. Ku nsonga eyo, abakadde basaanidde okusalawo nga basinziira ku mbeera y’omu kitundu kyammwe. Nga temunnafundikira lukuŋŋaana olwo na kusaba, buli mubuulizi asaanidde okuba ng’ategedde gw’anaabuulira naye n’ekitundu kye mugenda okubuuliramu.

4. Lwaki tetusaanidde kulowooza nti enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira si za mugaso nnyo?

4 Za Muganyulo Nnyo ng’Enkuŋŋaana Endala: Okuva bwe kiri nti enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zitegekebwa kuyamba abo ababa bagenda okubuulira, abamu mu kibiina bayinza obutasobola kuzibaaamu. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kulowooza nti zo si za mugaso nnyo. Okufaananako enkuŋŋaana zaffe endala, enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira kirabo okuva eri Yakuwa ekituyamba okukubiriza abalala okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi. (Beb. 10:24, 25) N’olwekyo, kikulu abo abakubiriza enkuŋŋaana ezo okuteekateeka obulungi kibasobozese okuweesa Yakuwa ekitiibwa n’okuganyula ababuulizi. Okuggyako nga ddala tekisoboka, ababuulizi bonna abagenda okubuulira basaanidde okubaawo mu lukuŋŋaana olwo.

Tetusaanidde kulowooza nti enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zo si za mugaso nnyo

5. (a) Omulabirizi w’obuweereza alina buvunaanyizibwa ki mu kuteekateeka enkuŋŋaana z’obuweereza? (b) Mwannyinaffe asaanidde kukubiriza atya olukuŋŋaana lw’obuweereza?

5 Anaakubiriza Asaanidde Okuteekateeka Obulungi: Ow’oluganda bw’aba wa kuteekateeka bulungi ekitundu mu nkuŋŋaana zaffe, kiba kirungi okumuwa obuvunaanyizibwa obwo nga bukyali. Bwe kityo bwe kirina okuba ne mu kwetegekera olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Ebibinja by’obuweereza bwe biba n’olukuŋŋaana olwo mu bifo eby’enjawulo, abalabirizi b’ebibinja oba abo ababayambako be balukubiriza. Naye ebibinja by’obuweereza bwe biba bya kukuŋŋaanira mu kifo kimu, omulabirizi w’obuweereza y’asaanidde okulonda oyo anaakubiriza olukuŋŋaana. Abalabirizi b’obuweereza abamu bakola enteekateeka erina okugobererwa ne bagiwa abo abanaakubiriza era ne bagiteeka n’awatimbibwa amabaluwa. Omulabirizi w’obuweereza bw’aba alonda abanaakubiriza asaanidde okulonda abo abayigiriza obulungi era abakola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Bwe waba nga tewali mukadde, muweereza, oba wa luganda mubatize atuukiriza ebisaanyizo, omulabirizi w’obuweereza ayinza okulonda mwannyinaffe omubatize ayigiriza obulungi n’akubiriza olukuŋŋaana olwo.—Laba ebiri wansi w’omutwe, “Mwannyinaffe bw’Aba nga y’Agenda Okukubiriza.”

6. Lwaki oyo akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira asaanidde okutegeka obulungi?

6 Bwe tuweebwa ekitundu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda oba mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, tetutera kulinda ng’ebulayo ekiseera kitono enkuŋŋaana zitandike ne tulyoka tulowooza ku kye tunaayogera. Bangi ku ffe tugitwala nga nkizo era tutegeka bulungi. Bwe tutyo bwe tusaanidde okukola bwe tuweebwa enkizo okukubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Olw’okuba kati olukuŋŋaana olwo lujja kuba lumpiko, kyetaagisa okutegeka obulungi okusobola okukuuma ebiseera n’okuganyula ab’oluganda. Okutegeka obulungi kizingiramu n’okufuna ekitundu eky’okubuuliramu nga bukyali.

7. Ebimu ku ebyo oyo anaakubiriza olukuŋŋaana olwo by’ayinza okukozesa bye biruwa?

7 Bye Muyinza Okukubaganyaako Ebirowoozo: Olw’okuba embeera ziba za njawulo mu buli kitundu, omuddu omwesigwa tatubuulira ebyo byennyini bye tulina okwogerako mu buli lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Muyinza okukozesa ekimu ku ebyo ebiri mu kasanduuko akalina omutwe, “Mu Lukuŋŋaana lw’Okugenda Okubuulira, Muyinza Okukubaganya Ebirowoozo ku Bino.” Okutwalira awamu, olukuŋŋaana olwo lulina kuba lwa kukubaganya birowoozo. Emirundi egimu, ekyokulabirako ekitegekeddwa obulungi kiyinza okulagibwa oba muyinza okulaba vidiyo etuukirawo okuva ku jw.org. Oyo anaakubiriza olukuŋŋaana lw’okubuulira asaanidde okweteekateeka ng’alowooza ku ebyo ebinazzaamu ab’oluganda amaanyi era ebinaabayamba mu buweereza ku lunaku olwo.

Oyo anaakubiriza olukuŋŋaana lw’okubuulira asaanidde okweteekateeka ng’alowooza ku ebyo ebinazzaamu ab’oluganda amaanyi era ebinaabayamba mu buweereza ku lunaku olwo

8. Biki ebiyinza okuba eby’omuganyulo okwogerako mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira ku Lwomukaaga ne ku Ssande?

8 Ku Lwomukaaga, ababuulizi bangi batera okugaba magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Awake! Olw’okuba bangi ku abo ababuulira ku Lwomukaaga tebafuna kakisa kubuulira wakati mu wiiki, bayinza obutajjukira nnyanjula gye baba beegezezzaamu mu Kusinza kw’Amaka. N’olwekyo kiyinza okuba eky’omuganyulo singa oyo anaakubiriza ajjukiza ababuulizi ebyo ebiri mu emu ku nnyanjula eziri ku lupapula olusembayo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ate era muyinza okwogera ku ngeri gye muyinza okukwataganyaamu ennyanjula yammwe n’ekyo ekibaddewo mu mawulire oba olunaku olukulu, oba engeri gye muyinza okulekawo kye munaayogerako ku mulundi omulala omuntu bw’aba akkirizza magazini. Bwe kiba nti abamu ku babuulizi baatandika dda okugaba magazini ezo, akubiriza ayinza okubasaba ne boogera mu bufunze ennyanjula ze babadde bakozesa oba ebirungi ebivuddemu. Ku Ssande, anaakubiriza ayinza okukola kye kimu ng’akozesa ebitabo ebigabibwa omwezi ogwo. Olw’okuba obutabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli gamba nga Amawulire Amalungi, Wuliriza Katonda, ne Baibuli Ky’Eyigiriza tuyinza okubugaba ekiseera kyonna, akubiriza ayinza okwogera mu bufunze ku ngeri y’okugabamu akamu ku bwo.

9. Ku wiikendi, biki ebiyinza okwogerwako mu lukuŋŋaana lw’okubuulira bwe muba nga muli mu kaweefube ow’enjawulo?

9 Bwe muba nga muli mu kaweefube ow’okugaba akapapula akayita abantu oba tulakiti ku wiikendi, anaakubiriza ayinza okwogera ku ngeri gye muyinza okugabirako magazini, oba ku kye muyinza okukola ng’omuntu asiimye obubaka bwaffe. Muyinza n’okusalawo okwogera ku birungi ebivuddemu abamu bwe beenyigidde mu kaweefube ng’oyo.

10, 11. Lwaki ababuulizi basaanidde okweteekateeka obulungi nga tebannagenda mu lukuŋŋaana lw’okubuulira?

10 Ababuulizi Nabo Basaanidde Okweteekateeka: Ababuulizi nabo basaanidde okweteekerateekera obuweereza nga bukyali, oboolyawo nga bali mu kusinza kw’amaka, basobole okuzzaamu babuulizi bannaabwe amaanyi. Okweteekateeka obulungi era kizingiramu okufuna magazini n’ebitabo ebirala nga tetunnagenda mu lukuŋŋaana olwo tuleme kulwisa balala ng’olukuŋŋaana luwedde.

11 Kikulu nnyo okutuuka awanaabeera olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira nga bukyali. Kya lwatu, bulijjo tufuba okutuuka mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna nga bukyali. Kyokka kitaataaganya nnyo abalala bwe tutuuka ekikeerezi mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Mu ngeri ki? Ow’oluganda akubiriza alowooza ku bintu bingi nga tannagaba babuulizi. Ababuulizi bwe baba batono, ayinza okusalawo bonna babuulire mu kitundu ekitannaggwa. Bwe kiba nti ekitundu kye bagenda okubuuliramu kiri walako, ababuulizi abatazze na mmotoka ayinza okubagaba n’abo abazze n’emmotoka. Ekitundu bwe kiba nga kirimu obumenyi bw’amateeka bungi, ayinza okusaba ab’oluganda bakole ne bannyinnaffe oba bakolere kumpi nabo. Ababuulizi abaliko obulemu ayinza okubawa ekitundu ekitaliimu busozi oba ekitaliimu nnyumba zeetaagisa kulinnya madaala mangi. Ababuulizi abapya ayinza okubagaba n’abo abalina obumanyirivu. Kyokka ababuulizi bwe batuuka ekikeerezi, kiba kyetaagisa okukola enkyukakyuka okusobola okubafunira abo be banaakola nabo. Kyo kituufu nti oluusi wayinza okubaawo embeera eteebeereka n’etuviirako okutuuka ekikeerezi. Naye bwe tuba nga buli kiseera tutuuka kikeerezi, kiyinza okulaga nti enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira tetukyazitwala nga za muwendo oba nti tetwetegeka nga bukyali.

12. Bw’oba ng’otera okulonda gw’onoobuulira naye, biki by’osaanidde okulowoozaako?

12 Omubuulizi bw’ajja mu lukuŋŋaana olwo ayinza okusalawo okubuulira n’oyo gwe yakoze naye enteekateeka oba ayinza okuweebwa gw’anaabuulira naye. Bw’oba ng’otera okulonda gw’onoobuulira naye, kiba kirungi ‘n’ogaziwa mu mutima gwo’ n’obuulira n’ababuulizi ab’enjawulo mu kifo ky’okubuulira ne mikwano gyo bokka. (2 Kol. 6:11-13) Emirundi egimu, oyinza okubuulirako n’omubuulizi omupya osobole okumuyamba okulongoosa mu ngeri gy’ayigirizaamu. (1 Kol. 10:24; 1 Tim. 4:13, 15) Wuliriza bulungi nga babawa obulagirizi nga mw’otwalidde n’obwo obukwata ku we mulina okutandikira okubuulira. Olukuŋŋaana bwe luggwa, weewale okukyusa enteekateeka eziba zikoleddwa era genderawo mu kitundu kye mugenda okubuuliramu.

13. Ffenna bwe tweteekateeka obulungi, enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zituganyula zitya?

13 Abayigirizwa 70 Yesu be yatuma okugenda okubuulira ‘baakomawo nga basanyufu.’ (Luk. 10:17) Tewali kubuusabuusa nti ekyabayamba lwe lukuŋŋaana Yesu mwe yabaweera obulagirizi nga tebannatandika kubuulira. Ne leero, enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira zituyamba nnyo. Ffenna bwe tweteekateeka obulungi, enkuŋŋaana ezo zituzzaamu amaanyi era zitubangula ne tusobola okuwa “obujulirwa eri amawanga gonna.”—Mat. 24:14.

Mwannyinaffe bw’Aba nga y’Agenda Okukubiriza

Mwannyinaffe asaanidde okubikka ku mutwe gwe era kiba kirungi n’akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira ng’atudde. Asaanidde okwogera ku nsonga ng’ezo ow’oluganda ze yandyogeddeko. Kiba kirungi n’akubaganya n’ababuulizi ebirowoozo mu kifo ky’okubalagira eky’okukola. Bw’alonda mwannyinaffe omubatize okubakiikirira mu kusaba, naye asaanidde okubikka ku mutwe gwe. Ow’oluganda omubatize bw’atuuka ng’olukuŋŋaana lutandise, kiba kirungi mwannyinaffe n’amusaba alumalirize. Omulabirizi w’obuweereza ayinza okulowooza ku mbeera eziyinza okubaawo n’awa obulagirizi obutuukirawo. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omubatize akyali omuto ayinza okubaawo mu lukuŋŋaana naye nga waliwo mwannyinaffe eyalondebwa okulukubiriza. Bwe kiba nti abakadde baasalawo nti ow’oluganda oyo tannatuukiriza bisaanyizo bya kukubiriza lukuŋŋaana olwo, mwannyinaffe oyo y’asaanidde okulukubiriza. Mu mbeera ng’eyo, omulabirizi w’obuweereza asaanidde okutegeeza ababuulizi abali mu kibinja ekyo nti mwannyinaffe y’ajja okukubiriza olukuŋŋaana olwo naye nti ow’oluganda omuto y’ajja okusaba, singa abakadde baba balabye nti atuukiriza ebisaanyizo. Oba wayinza okubaawo ow’oluganda omukulu mu myaka naye nga takkirizibwa kukubiriza lukuŋŋaana olwo oba okusaba olw’ensonga ezimanyiddwa abakadde bokka. Nga teboogedde nsonga ezo, abakadde basaanidde okutegeeza mwannyinaffe nti y’asaanidde okulukubiriza, n’okusaba. Ate era abakadde bayinza okutegeeza ow’oluganda oyo olunaku mwannyinaffe lw’anaakubirizanga olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira.

Mu Lukuŋŋaana lw’Okugenda Okubuulira, Muyinza Okukubaganya Ebirowoozo ku Bino:

  • Emu ku nnyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

  • Vidiyo ekwata ku kubuulira eri ku jw.org.

  • Amagezi agatuyamba okuba n’ennyanjula ennungi, okukola enteekateeka ey’okuddira omuntu, n’okugamba omuntu okubaako ky’awaayo bw’aba atutte ekitabo.

  • Ekyawandiikibwa ekizzaamu amaanyi ekikwata ku kubuulira.

  • Ekyokulabirako eky’omu kitundu kyammwe oba ekiri mu bitabo byaffe ekikwata ku kubuulira.

  • Amagezi agali mu kitundu ekimu mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

  • Amagezi ge twafuna mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza gye buvuddeko.

  • Ekitundu ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ekikwata ku kubuulira.

  • Amagezi agali mu bitabo gamba nga Essomero ly’Omulimu ne “Come Be My Follower.”

  • Ekitundu ekiri ku jw.org ekisobola okukozesebwa mu buweereza.

  • Ekitundu ekiri mu Bayibuli ya New World Translation eya 2013 ekisobola okukozesebwa mu buweereza.

  • Engeri y’okutandika okubuulira abantu b’oyinza okusanga mu kitundu kyammwe gamba ng’ab’eddiini y’Abahindu, ey’Ababbuda, abo abatakkiririza mu Katonda, oba abo abagamba nti ebintu byajja bifuukafuuka.

  • Engeri y’okuddamu abo abatayagala kutuwuliriza.

  • Engeri gy’oyinza okuyambamu mubuulizi munno ng’alina gw’abuulira.

  • Ky’oyinza okukola ng’osanze omuntu ayogera olulimi lw’otomanyi.

  • Engeri y’okulongoosaamu mu bimu ku ebyo bye tukola mu buweereza gamba ng’okunoonya abantu aboogera olulimi lw’ekibiina kyammwe, okubuulira ng’okozesa essimu oba obugaali n’emmeeza okuli ebitabo, okuddiŋŋana, oba okuyigiriza abayizi ba Bayibuli.

  • Obulagirizi obukwata ku kuba abeegendereza, okweyisa obulungi, okuba n’endowooza ennuŋŋamu, okutuukagana n’embeera yonna, n’ebirala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share