Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 30
WIIKI ETANDIKA MAAKI 30
Oluyimba 57 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 22 ¶9-17 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Samwiri 14-15 (Ddak. 8)
Na. 1: 1 Samwiri 14:36-45 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Tusobola Okwogera n’Abantu Baffe Abaafa?—td-25C (Ddak. 5)
Na. 3: Obunnabbi bwa Bayibuli Obukwata ku Nnaku ez’Enkomerero Butuukirira—nwt-E lup. 17 ¶1 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Beera Mwetegefu Okukola Buli Mulimu Omulungi.’—Tit. 3:1.
Ddak. 15: Vidiyo Endala Eziri ku Mukutu Gwaffe ez’Okukozesa mu Buweereza. Kukubaganya birowoozo. Musooke mulabe vidiyo erina omutwe Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? era mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye muyinza okugikozesaamu mu buweereza. Oluvannyuma, mukole kye kimu ne ku vidiyo erina omutwe Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka? Laga ekyokulabirako.
Ddak. 15: “Kozesa Ekitundu ‘Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda’—Okutandika Okubuulira Abantu.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Saba abawuliriza boogere engeri endala gye tuyinza okukozesaamu ekitundu “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda” nga tubuulira. Laga ekyokulabirako.
Oluyimba 114 n’Okusaba