Kozesa Ekitundu “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda”—Okutandika Okubuulira Abantu
1. Kitundu ki ekipya ekinaatuyamba mu buweereza?
1 Bayibuli yaffe empya erina ekitundu ekiri ku ntandikwa ekirina omutwe, “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda.” Tuyinza tutya okukozesa ekitundu kino okutegeka ennyanjula ez’okukozesa mu buweereza? Olw’okuba ekitundu ekyo kirimu ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebituyamba okufuna eby’okuddamu nga bwe kiri mu katabo Reasoning, tusobola okukikozesa okutandika okubuulira abantu.
2. Tuyinza tutya okukozesa ekitundu “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda” nga tubuulira?
2 Oyinza okukozesa ekibuuzo 8 ng’ogamba nti: “Tubakyaliddeko olw’okuba abantu bangi beebuuza ekibuuzo kino, ‘Katonda y’aleetera abantu okubonaabona?’ [Mu bitundu ebimu kiba kirungi okulaga omuntu ekibuuzo ekyo butereevu.] Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ngeri ematiza.” Musome butereevu mu Bayibuli waakiri ekyawandiikibwa kimu era mukikubaganyeeko ebirowoozo. Omuntu bw’asiima, mulage ebibuuzo 20 ebiri ku ntandikwa ya Bayibuli yaffe empya era omusabe alondeko kimu kye munaakubaganyaako ebirowoozo ku mulundi omulala. Oba oyinza okumuwa ekimu ku bitabo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli ekyongera okunnyonnyola ensonga gye muba mwogeddeko.
3. Tuyinza tutya okukozesa ekitundu ekipya okutandika okubuulira abantu abali mu ddiini ezitali za Kikristaayo?
3 Ekibuuzo 4 ne 13 okutuuka ku 17 biyinza okukozesebwa naddala mu bitundu ebirimu abantu abali mu ddiini ezitali za Kikristaayo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukozesa ebiri wansi w’ekibuuzo 17 ng’ogamba nti: “Tubakyaliddeko katono nga twogera ku nsonga eziganyula amaka. Naawe okiraba nti amaka galimu ebizibu bingi leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abafumbo bangi baganyuddwa olw’okukolera ku magezi gano: ‘Omukazi asseemu nnyo bbaawe ekitiibwa.’ [Tekyetaagisa kumugamba nti ebigambo ebyo biri mu Abeefeso 5:33. Bw’oba oyogera na mukyala, oyinza okujuliza ebigambo ebiri mu Abeefeso 5:28.] Naawe olowooza okukolera ku magezi ago kiyinza okuganyula abafumbo?”
4. Biki by’oyinza okukola ng’omaze okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ali mu ddiini etali ya Kikristaayo?
4 Bwe mumala okukubaganya ebiroowozo, kola naye enteekateeka okuddayo okumukyalira. Bw’oba ozzeeyo oyinza okukozesa amagezi agali mu kimu ku byawandiikibwa ebirala ebiri wansi w’ekibuuzo kye wakozesa. Oluvannyuma lw’ekiseera, bwe kiba kituukirawo mutegeeze nti amagezi amalungi g’obadde omuwa gava mu Bayibuli. Ng’osinziira ku bye muzze muyiga n’engeri omuntu oyo gy’atwalamu Bayibuli, oyinza okumuwa akatabo akanaamusikiriza.—Laba olupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ddesemba 2013.