Oluyimba 114
Ekitabo kya Katonda—Kya Bugagga
1. Waliwo ekitabo ekireeta,
Eri bonna essuubi n’essanyu.
Kirimu obubaka obw’amaanyi;
Buzibula ’maaso, bwa bulamu.
Ekitabo ekyo ye Baibuli.
Katonda yaluŋŋamya ’bantu be
Abamwagala ne bakiwandiika.
Yabawa amaanyi g’omwoyo gwe.
2. Baawandiika ebintu ebituufu,
Obutonde ’ngeri gye bwajjawo.
Boogera ne ku muntu eyasooka
Ng’olusuku bwe lwamuggibwako.
Boogera ne ku malayika omu
Oyo eyasoomooza Katonda.
Kyavaako ekibi n’ennaku nnyingi,
Naye Yakuwa anaabikomya.
3. Leero tuli mu kiseera kya ssanyu.
Mukama waffe Kristo afuga.
Olunaku luno lwa bulokozi
Eri abagondera Yakuwa.
Bino bisangibwa mu kitabo kye;
Kino kijjulo ekitukuvu.
Kiwa ’bantu emirembe gya nsusso;
Ka kisomebwenga buli muntu.
(Era laba 2 Tim. 3:16; 2 Peet. 1:21.)