Mwambale Obuwombeefu
1 Omusumba omuto yeesiga Yakuwa era awangula omulwanyi nnamige. (1 Sam. 17:45-47) Omusajja omugagga agumiikiriza embeera enzibu. (Yobu 1:20-22; 2:9, 10) Omwana wa Katonda agamba nti by’ayigiriza si bibye wabula nti bya Kitaawe eyamutuma. (Yok. 7:15-18; 8:28) Abantu bano bonna baayoleka obuwombeefu. Mu ngeri y’emu leero, obuwombeefu bwetaagisa nnyo mu buli mbeera yonna gye twolekagana nayo.—Bak. 3:12.
2 Nga Tubuulira: Ng’Abakristaayo, n’obuwombeefu tubuulira abantu aba buli ngeri amawulire amalungi, nga tetubasosola olwa langi yaabwe, ebika byabwe, oba ebifo gye babeera. (1 Kol. 9:22, 23) Singa abamu batukambuwalira oba ne bagaana amawulire g’Obwakabaka, naffe tetubakambuwalira, wabula n’obugumiikiriza tunoonya abo abaagala okuyiga amazima. (Mat. 10:11, 14) Mu kifo ky’okugezaako okuwuniikiriza abalala olw’amagezi oba obuyigirize bye tulina, essira tuliteeka ku Kigambo kya Katonda nga tumanyi nti kye kijja okutuuka ku mitima gy’abantu so si ebyo bye tuyinza okwogera. (1 Kol. 2:1-5; Beb. 4:12) Nga tukoppa Yesu, ettendo lyonna tuliwa Yakuwa.—Mak. 10:17, 18.
3 Mu Kibiina: Abakristaayo nabo balina ‘okwoleka obuwombeefu nga bakolagana ne bannaabwe.’ (1 Peet. 5:5) Singa tutwala abalala nti batusinga, tujja kunoonya engeri y’okuweerezaamu baganda baffe mu kifo ky’okubasuubira okutuweereza. (Yok. 13:12-17; Fir. 2:3, 4) Tetwetwala kuba ba waggulu nnyo nti tetusobola kukola mirimu ng’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka.
4 Obuwombeefu butuyamba ‘okuzibiikirizagananga mu kwagala’ era ekyo kituyamba okuba n’emirembe n’obumu mu kibiina. (Bef. 4:1-3) Butuyamba okugondera abo abalondebwa okutwala obukulembeze. (Beb. 13:17) Butuleetera okukkiriza okubuulirira oba okukangavvula kwe tuyinza okufuna. (Zab. 141:5) Era obuwombeefu butuleetera okwesigama ku Yakuwa nga tutuukiriza obuvunaanyizibwa obutuweereddwa mu kibiina. (1 Peet. 4:11) Okufaananako Dawudi, tukitegeera nti okutuuka ku buwanguzi kyesigamye ku mikisa gya Yakuwa so si ku busobozi bwaffe.—1 Sam. 17:37.
5 Mu Maaso ga Katonda Waffe: N’ekisinga byonna, twetaaga ‘okwewombeeka wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi.’ (1 Peet. 5:6) Singa twolekagana n’embeera egezesa, tuyinza okwagala obuweerero obunaaleetebwa Obwakabaka bwa Katonda. Kyokka, n’obuwombeefu tugumiikiriza, ne tulindirira okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Yakuwa mu kiseera kye ekigereke. (Yak. 5:7-11) Nga bwe kyali eri Yobu, omusajja omwesigwa, naffe twagala nnyo ‘erinnya lya Yakuwa lyeyongere okutenderezebwa.’—Yobu 1:21.
6 Nnabbi Danyeri ‘yeewombeeka mu maaso ga Katonda we’ era Katonda yamusiima n’amuwa enkizo nnyingi ez’obuweereza. (Dan. 10:11, 12) Mu ngeri y’emu, naffe ka twambalenga obuwombeefu, nga tumanyi nti “obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.”—Nge. 22:4.