LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/03 lup. 8
  • ‘Muweereze Yakuwa n’Essanyu’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Muweereze Yakuwa n’Essanyu’
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Yongera ku Ssanyu ly’Ofuna Okuva mu Kubuulira
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Essanyu—Ngeri Gye Tufuna Okuva eri Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 10/03 lup. 8

‘Muweereze Yakuwa n’Essanyu’

1. Kiki ekireetera abaweereza ba Yakuwa essanyu ery’ensuso?

1 Omutume Pawulo yawandiika nti: ‘Musanyukirenga Mukama, nate njogera nti, musanyukenga!’ (Baf. 4:4) Enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi n’okuyamba abo abalinga endiga okuweereza Yakuwa, nsibuko ya ssanyu ery’ensuso. (Luk. 10:17; Bik. 15:3; 1 Bas. 2:19) Kyokka, singa twesanga nti emirundi egimu tubulwa essanyu mu buweereza bwaffe, kiki kye tuyinza okukola?

2. Nsonga ki etuleetera essanyu mu mulimu gwaffe?

2 Omulimu Ogwatuweebwa Katonda: Kijjukire nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira gwatuweebwa Yakuwa. Nga tulina enkizo ya maanyi ‘okukolera awamu ne Katonda’ nga tubuulira obubaka obw’Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa! (1 Kol. 3:9) Yesu Kristo akolera wamu naffe omulimu guno ogutagenda kuddibwamu. (Mat. 28:18-20) Bamalayika nabo bakolera wamu naffe mu makungula ag’eby’omwoyo ag’omu kiseera kyaffe. (Bik. 8:26; Kub. 14:6) Ebyawandiikibwa awamu n’obuwanguzi abantu ba Katonda bwe batuuseko, bujulizi obwenkukunala obulaga nti Yakuwa y’ali emabega w’omulimu guno. N’olwekyo, bwe tubuulira, ‘tuba tutumiddwa Katonda, nga tuli wamu ne Kristo, era ng’eriiso lya Katonda litulaba.’ (2 Kol. 2:17) Eno nga nsonga nnungi nnyo etuleetera okuba abasanyufu!

3. Okusaba kukulu kwenkana wa bwe tuba ab’okusigala nga tuli basanyufu mu buweereza bwaffe?

3 Okusaba kukulu nnyo, bwe tuba ab’okusigala nga tuli basanyufu mu buweereza bwaffe eri Katonda. (Bag. 5:22) Okuva bwe tutasobola kukola mulimu gwa Katonda ku bwaffe, tulina okunyiikiriranga okusaba omwoyo gwe, gw’awa abo bonna abamusaba. (Luk. 11:13; 2 Kol. 4:1, 7; Bef. 6:18-20) Okusaba okufuna obulagirizi mu buweereza bwaffe, kijja kutuyamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu bwe tusanga abatayagala bubaka bwaffe. Kino kijja kutusobozesa okweyongera okuba abavumu era abasanyufu nga tubuulira.​—Bik. 4:29-31; 5:40-42; 13:50-52.

4. Okweteekateeka obulungi kutuyamba kutya okwongera ku ssanyu lyaffe mu kubuulira, era ngeri ki ezimu ze tusobola okukozesa okweteekateeka?

4 Teekateeka Bulungi: Engeri emu ennungi etusobozesa okwongera ku ssanyu lyaffe mu buweereza kwe kweteekateeka obulungi. (1 Peet. 3:15) Okweteekateeka tekwetaagisa biseera biwanvu. Kyetaagisa eddakiika ntono nnyo okwejjukanya ennyanjula ezikwata ku kugaba magazini oba ezo ezituukagana n’akatabo k’oteekateeka okugaba. Okufuna ennyanjula esaanira, oyinza okukebera mu katabo Reasoning oba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ababuulizi abamu bakisanze nga kya muganyulo okuwandiika ennyanjula ezimu ku kapapula oba mu katabo. Ebiseera ebimu bakatunulako okwejjukanya bye baawandiika. Kino kibayamba obutaba na kiwuggwe ne basobola okubuulira n’obuvumu.

5. Essanyu liyinza kutuganyula litya awamu n’abalala?

5 Essanyu livaamu emiganyulo mingi. Okuba omusanyufu kireetera obubaka bwaffe okusikiriza. Litusobozesa okuba abagumiikiriza. (Nek. 8:10; Beb. 12:2) N’okusinga byonna obuweereza bwaffe obw’essanyu bugulumiza Yakuwa. N’olwekyo, ka ‘tuweereze Yakuwa n’essanyu.’​—Zab. 100:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share