Yongera ku Ssanyu ly’Ofuna Okuva mu Kubuulira
1 Ofuna essanyu okuva mu kubuulira amawulire amalungi? Bwe tuteegendereza, ensi ennyonoonefu etwetoolodde eyinza okutuleetera okutya okubuulira, era ekyo ne kituviiramu okufiirwa essanyu lyaffe. Okubuulira mu kitundu omuli abantu abateefiirayo nakyo kiyinza okutumalamu amaanyi. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okwongera ku ssanyu lye tufuna okuva mu kubuulira?
2 Beera n’Endowooza Entuufu: Okubeera n’endowooza entuufu kiyambira ddala. Engeri emu gye tuyinza okufunamu endowooza entuufu, kwe kufumiitiriza ku nkizo ey’amaanyi ‘ey’okukolera awamu ne Katonda.’ (1 Kol. 3:9) Yesu naye ali naffe mu kutuukiriza omulimu guno. (Mat. 28:20) Era atuwagira n’eggye lya bamalayika. (Mat. 13:41, 49) N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti Katonda atuwa obulagirizi mu mulimu gwaffe. (Kub. 14:6, 7) Ka babe ng’abantu abamu batwala batya omulimu gwaffe, mu ggulu gusanyukirwa nnyo!
3 Teekateeka Bulungi: Okuteekateeka obulungi nakyo kyongera ku ssanyu lyaffe. Okweteekerateekera okubuulira tekyetaagisa kutwala budde bungi. Kitwala eddakiika ntono okuteekateeka eky’okwogerako okuva mu magazini ezaakafuluma oba mu bitabo eby’okugaba mu mwezi. Londayo ennyanjula emu okuva mu kitundu “Bye Tuyiza Okwogera nga Tugaba Magazini” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kebera mu lupapula olw’omunda olwa Jjanwali 2002, wansi w’omutwe “Ezimu ku Nnyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kubuulira.” Oba kebera mu katabo Reasoning okusobola okufuna ennyanjula ennungi. Bw’oba omanyi ebigambo ebiziyiza emboozi abantu bye batera okukozesa, teekateeka eky’okuddamu ekinaazingiramu bye boogedde naye ate nga kikwata ne ku mutwe ogusikiriza. Akatabo Reasoning kayamba nnyo mu nsonga eno. Bwe tuneeyambisa ebintu ebyo kijja kutuwa obuvumu bwe twetaaga okusobola okubuulira nga tulina essanyu.
4 Saba Nnyo: Okusaba kwetaagisa okusobola okufuna essanyu ery’olubeerera. Okuva bwe kiri nti tukola mulimu gwa Yakuwa, twetaaga okumusaba atuwe omwoyo gwe, nga n’ekimu ku bibala eby’omwoyo ogwo, lye ssanyu. (Bag. 5:22) Yakuwa era ajja kutuwa amaanyi okweyongera okubuulira. (Baf. 4:13) Okusaba kusobola okutuyamba okutunuulira obuweereza bwaffe mu ngeri entuufu singa tuba tufunye ebizibu. (Bik. 13:52; 1 Peet. 4:13, 14) Singa tutiisibwatiisibwa, okusaba kusobola okutuyamba okweyongera mu maaso nga tubuulira n’obuvumu wamu n’essanyu.—Bik. 4:31.
5 Fuba Okutuukirira Abantu Wonna We Bali: Kya lwatu, tufuna essanyu mu buweereza bwaffe nga tusisinkanye abantu ne tubabuulira. Okukyusa mu budde bw’obadde obuuliramu nnyumba ku nnyumba, gamba n’otandika okubuulira mu ssaawa ez’olweggulo oba akawungeezi, kiyinza okuvaamu ebibala ebisingawo. Buli lunaku, osanga abantu ng’otambula mu luguudo, ng’ogenda okugula ebintu, ng’oli mu takisi, oba ng’otambulatambula mu bifo ebiwummulirwamu abantu. Lwaki toteekateeka ngeri ya kutandikamu mboozi era otandiikirize okwogera n’abo b’olaba nti bandikwanguyidde? Era kyandiba nga ku mulimu gy’okolera oba ku ssomero gy’osomera olina b’onyumya nabo bulijjo. Osobola n’okufuna omukisa gw’okubuulira ng’oyogera ku nsonga emu esikiriza okuva mu Baibuli. Ezimu ku nnyanjula ze tuyinza okukozesa zisangibwa mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002. Buli emu ku ngeri ezo eyinza okwongera ku ssanyu lyaffe mu mulimu gw’okubuulira.
6 Nga kikulu nnyo okukuuma essanyu lyaffe okuva bwe kiri nti lituyamba okugumiikiriza! Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna empeera nnene nnyo ng’omulimu guno ogutajja kuddibwamu gufundikiddwa. Ekyo nakyo ku bwakyo kiyinza okwongera ku ssanyu lyaffe mu kubuulira.—Mat. 25:21.