Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Tuyinza tutya okukakasa nti buli kitundu mu lukuŋŋaana lw’ekibiina kikolebwa mu budde?
Ebiseera bidduka nnyo bwe tuba tulina obubaka obulungi bwe tutegeeza mikwano gyaffe. N’olw’ensonga eyo, kiyinza okuba ekizibu okukubiriza ebitundu by’olukuŋŋaana mu biseera ebiragiddwa. Kiki ekiyinza okutuyamba?
Tandikira mu budde. Ekibiina bwe kikuŋŋaana awamu, kiyinza okuba eky’omuganyulo okutegeeza abawuliriza okutuula mu bifo byabwe ng’ekyabulayo eddakiika emu oba bbiri olukuŋŋaana lusobole okutandika mu biseera byennyini era mu ngeri entegeke obulungi. (Mub. 3:1) Enkuŋŋaana omubeera abantu abatono, gamba ng’olukuŋŋaana olw’okugenda mu buweereza bw’ennimiro, terulina kulwawo kutandika olw’okulinda abo abayinza okutuuka ekikeerezi.
Teekateeka bulungi. Ekintu ekikulu ekiyinza okutuyamba okukuuma obudde kwe kuteekateeka nga bukyali. Manya ekigendererwa ky’emboozi yo. Tegeera ensonga enkulu era oziggumize. Tolandagga mu nsonga ezitali nkulu. Emboozi giwe mu ngeri ennyangu. Singa ekitundu ky’okolako kibaamu okulaga ebyokulabirako oba okubuuza ebibuuzo, mwegezeemu nga bukyali. Nga bwe kiba kisobose, mwegezeemu ng’eno bwe mupima ebiseera.
Gabanyamu by’oteeseteese. K’obeere ng’owa mboozi oba ng’okubaganya birowoozo n’abakuwuliriza, kiyinza okuba eky’omuganyulo okugabanyamu by’oteeseteese. Salawo ebiseera by’onoomala ku buli kitundu, era birage ku kiwandiiko kyo. Kuuma ebiseera ku buli kitundu ng’owa emboozi yo. Bw’oba okubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza, toleka bantu bangi kuddamu mu nnyanjula ne weesanga nti oluvannyuma olina okwanguyiriza mu bitundu omuli ensonga enkulu. Abo abakubiriza okusoma Omunaala gw’Omukuumi balina okulekayo ebiseera ebimala eby’okwekenneenya akasanduuko k’ebibuuzo ku nkomerero. Balina okwegendereza ne batayingirira biseera eby’oluyimba olufundikira n’okusaba.
Fundikira mu budde. Singa olukuŋŋaana lubaamu ebitundu ebiwerako, gamba nga mu Lukuŋŋaana olw’Obuweereza, buli mwogezi alina okumanya ddi ekitundu kye lwe kirina okutandika era ne lwe kirina okufundikirwa. Kiki ekiyinza okukolebwa singa kirabika nti olukuŋŋaana terujja kuggwa mu biseera? Omu ku b’oluganda oba n’okusingawo ayinza okukozesa ebiseera ebitono ng’assa essira ku nsonga enkulu. Okusobola okukola ekyo kabonero akalaga nti oli muyigiriza mulungi.
Naffe abawuliriza tuyinza okuyamba ow’oluganda akubiriza nga tuddamu mu bimpimpi era nga tutuuka ku nsonga. N’olwekyo, ffenna tusobola okusobozesa enkuŋŋaana zaffe okubaawo ‘mu ngeri entegeke obulungi.’—1 Kol. 14:40.