Obulagirizi eri Abo Abakubiriza Ebitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza
Okutandika ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi guno, ebigambo ebikozesebwa okunnyonnyola ebitundu ebibeera ku programu y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza bikyusiddwamuko. Enkyukakyuka eno eragibwa bulungi wammanga era ng’ebiragiddwa byongera okututangaaza ku ebyo ebyayogerwako mu kitundu ekigamba nti, “Engeri y’Okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2009.
◼ Okwogera: Eno eba mboozi eri ekibiina. Omwogezi asaanidde okussa essira ku ebyo ebiganyula ekibiina.
◼ Okubuuza Ebibuuzo n’Okuddamu: Okufaananako olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, ekitundu kino kyanjulwa era ne kifundikirwa n’ebigambo bitonotono, era ng’ebibuuzo bibuuzibwa ku buli katundu. Ng’oggyeko okubuuza ebibuuzo, akubiriza tekimwetaagisa kwogera nnyo. Ebiseera bwe bibaawo, ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu biyinza okusomebwa. Obutundu tebulina kusomebwa okuggyako ng’oyo akubiriza aweereddwa obulagirizi okukikola.
◼ Okukubaganya Ebirowoozo: Eno eba mboozi kyokka nga n’abawuliriza nabo babaako kye boogera. Omwogezi talina kuba ng’awa buwi mboozi ate ku ludda olulala tasaanidde kukola gwa kubuuza bubuuza bibuuzo.
◼ Okulaga Ebyokulabirako n’Okubuuza Ebibuuzo: Ow’oluganda aweereddwa ekitundu eky’okulaga ebyokulabirako y’avunaanyizibwa okufuna abo abanaalaga ekyokulabirako; tekimwetaagisa ye kennyini okulaga ekyokulabirako ekyo. Abo b’alonda basaanidde okuba nga basobola okukikola obulungi, nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi, era asaanidde okukola nabo enteekateeka ng’ekyabulayo ekiseera kiwanvu bwe kiba kisoboka. Wadde ng’ababuulizi abapya abamu oba abo abatalina bumanyirivu bayinza okukozesebwa nga bannyinimu, tekiba kirungi kubakozesa okulaga ebyokulabirako ku ngeri omulimu gwaffe gye gulina okukolebwamu olw’okuba oyagala okubawa akakisa ak’okubeera ku pulatifoomu. Abo abalaga ekyokulabirako tebasaanidde kukuba bawuliriza mugongo. Abo ababuuzibwa ebibuuzo basaanidde okubiddamu nga bali ku pulatifoomu so si nga batudde mu bifo byabwe. Walina okubaawo okwegezaamu ng’ekyokulabirako tekinnalagibwa oba ng’ow’oluganda tannabuuzibwa bibuuzo mu maaso g’ekibiina. Ow’oluganda bw’aba afunza mu ebyo ebiri mu kitundu kye olw’obudde okubeera obutono, mu by’asazaamu talina kusazaamu kubuuza bibuuzo oba byakulabirako eby’okulagibwa. Abaweereza mu kibiina basaanidde okwebuuza ku mukwanaganya w’akakiiko k’abakadde oba omukadde omulala nga tebannalonda abo abanaakozesebwa.
Ekitundu bwe kibaako obulagirizi obw’enjawulo, busaanidde okugobererwa. Ab’oluganda bwe banaakubiriza ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza nga bagoberera obulagirizi obuweereddwa waggulu, Enkuŋŋaana z’Obuweereza zijja kukubirizibwanga “mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.”—1 Kol. 14:40.