Okubeerawo mu Nkuŋŋaana Obutayosa—Kikulu Nnyo
1 Amaka Amakristaayo gakitwala nti kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa. Kyokka eby’okukola ebingi leero mu bulamu bisobola okuleetawo obuzibu. Emirimu gy’awaka, egyo mwe tujja eky’okulya, oba eby’okukola ebituweereddwa ku ssomero bitandise okututwalako ebiseera bye tukozesa okusinza Yakuwa? Singa tutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira kijja kutuyamba okweyongera okukulembeza ebintu ebisinga obukulu.—1 Sam. 24:6; 26:11.
2 Omusajja omu Omuisiraeri mu bugenderevu yalemererwa okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira bwe yatyaba enku ku Ssabbiiti. Ayinza okuba yalowooza nti yali akikola okuyamba ab’omu maka ge oba nti kye yali akola kyali kintu kitono nnyo. Kyokka, okusinziira ku ngeri gye yasalamu omusango, Yakuwa yalaga nti kiba kikyamu nnyo okukolera emirimu mu kiseera eky’okusinza.—Kubal. 15:32-36.
3 Okwaŋŋanga Obuzibu Buno: Bangi bazibuwalirwa nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana olw’emirimu gye bakola okuyingirira ebiseera by’enkuŋŋaana. Abamu basobodde okuvvuunuka ekizibu kino nga boogerako ne bakama baabwe ku mirimu, nga bawaanyisiganya ne bakozi bannaabwe ebiseera bye bandibadde bakoleramu, nga banoonyayo omulimu omulala ogunaabasobozesa okubeerangawo mu nkuŋŋaana, oba nga bagonza mu mbeera yaabwe ey’obulamu. Mu butuufu, okwefiiriza ng’okwo olw’okusinza okw’amazima kusanyusa Katonda.—Beb. 13:16.
4 Eby’okukola ebituweereddwa ku ssomero nabyo biyinza okuleetawo obuzibu. “Ebimu ku ebyo ebimpeebwa ku ssomero mbikola nga sinnaba kugenda mu nkuŋŋaana ate ebiba bisigaddeyo ne mbikola nga nkomyewo awaka,” bw’atyo omuvubuka omu bw’agamba. Singa omuyizi aba tasobodde kumaliriza ebimuweereddwa ku ssomero ku lunaku oluliko olukuŋŋaana, abazadde abamu basobodde okunnyonnyola abasomesa nti okubeerawo mu nkuŋŋaana kintu kikulu nnyo mu maka gaabwe.
5 Ng’amaka, kikulu nnyo okukolera awamu emirimu n’okweteekateeka obulungi okusobola okubeerawo mu nkuŋŋaana mu biseera. (Nge. 20:18) Era n’abaana abato bayinza okuyigirizibwa okweyambaza bokka basobole okubeera abeetegefu mu kiseera eky’okugenda mu nkuŋŋaana. Nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi, abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okutegeera obukulu bw’enkuŋŋaana.—Nge. 20:7.
6 Ng’embeera zino ez’ebintu zeeyongera okuzibuwala, kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Ka tweyongere okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira era tukitwale nti kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa.—Beb. 10:24, 25.