Okwejjukanya Ebikwata ku
Kijjukizo
Ekijjukizo ky’omwaka guno kijja kubaawo ku Ssande nga Apuli 4. Abakadde balina okwekenneenya ensonga eziddirira:
◼ Nga mutegeka ekiseera eky’okukuŋŋaanirako, mukakase nti obubonero tebuyisibwa ng’enjuba tennaba kugwa.
◼ Buli omu, nga mw’otwalidde n’omwogezi, alina okutegeezebwa ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo.
◼ Ekika ky’omugaati ogusaanidde n’enviinyo birina okufunibwa era bitegekebwe.—Laba Omunaala gw’Omukuumi aka Maaki 1, 2003, olupapula 10-11.
◼ Essowaani, eggiraasi, emmeeza esaanira awamu n’ekitambaala eky’oku mmeeza birina okuleetebwa awanaaba omukolo n’okutegekebwa nga bukyali.
◼ Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ekifo ekirala kyonna ekinaakuŋŋaanirwamu kirina okulongoosebwa obulungi ng’obudde bukyali.
◼ Abaaniriza abagenyi n’abanaaweereza obubonero balina okulondebwa n’okutegeezebwa nga bukyali ebikwata ku mirimu gyabwe, enkola eneegobererwa era n’ebikwata ku nnyambala n’okwekolako mu ngeri eweesa ekitiibwa.
◼ Enteekateeka zirina okukolebwa okutwala obubonero eri eyafukibwako amafuta yenna ataasobole kubeerawo olw’obulwadde.
◼ Bwe kiba nti ebibiina ebisukka mu kimu bijja kukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu, wateekwa okubeerawo entegeka ennungi mu bibiina ebyo okusobola okwewala omujjuzo ku mulyango, mu luggya, n’awasimba emmotoka.