Ekitundu 2—Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Okweteekateeka Okuyigiriza Omuntu Baibuli
1 Okuyigiriza obulungi omuntu Baibuli kisingawo ku kukubaganya obukubaganya ebirowoozo ku ebyo bye muyiga n’okusoma obusomi ebyawandiikibwa ebiba biweereddwa. Tusaanidde okuyigiriza mu ngeri etuuka ku mutima gw’omuyizi. Kino kitwetaagisa okuteekateeka obulungi kisobozese omuyizi okuganyulwa.—Nge. 15:28.
2 Engeri y’Okuteekateeka: Tandika ng’osaba Yakuwa ebikwata ku byetaago by’omuyizi. Musabe akuyambe osobole okuyigiriza mu ngeri eneemutuuka ku mutima. (Bak. 1:9, 10) Okusobola okutegeera obulungi ensonga gye mugenda okusomako, weekenneenye omutwe gw’essuula oba essomo, emitwe emitonotono n’ebifaananyi. Weebuuze, ‘Ekigendererwa ky’essuula eno kye kiruwa?’ Kino kijja kukuyamba okussa essira ku nsonga enkulu ng’oyigiriza.
3 Weekenneenye buli katundu. Zuula awali eby’okuddamu era osaze ku nsonga enkulu zokka. Wekkaanye engeri ebyawandiikibwa ebijuliziddwa gye bikwataganamu n’ensonga enkulu eri mu katundu, era olondemu ebyo by’onookozesa ng’oyigiriza. Oyinza okuwandiika ku mabbali g’olupapula ensonga ezinaakujjukiza ebiri mu byawandiikibwa ebyo. Omuyizi asaanidde okukitegeera nti by’ayiga biva mu Kigambo kya Katonda.—1 Bas. 2:13.
4 Bye Musoma Bituukaganye n’Ebyetaago by’Omuyizi: Lowooza ku bibuuzo by’ayinza okubuuza, ensonga eziyinza okumuzibuwalira okutegeera era ne z’ayinza obutakkiriza. Weebuuze: ‘Kiki ky’asaanidde okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo? Nyinza ntya okumutuuka ku mutima?’ Bw’omala okwekenneenya ensonga ezo zonna, zituukanye ne by’ogenda okumuyigiriza. Oluusi kiyinza okukwetaagisa okutegeka eky’okulabirako, engeri gy’onoomunnyonnyolamu, oba okutegeka ebibuuzo ebinaayamba omuyizi okutegeera ensonga gye mwogerako oba ekyawandiikibwa. (Nek. 8:8) Weewale okwongeramu ensonga ezitalina kye ziyamba mu kuggyayo amakulu g’omutwe gwe mwogerako. Okwejjukanya mu bufunze oluvannyuma lw’okusoma, kijja kuyamba omuyizi okujjukira ensonga enkulu.
5 Nga kitusanyusa nnyo abappya bwe babala ebibala eby’obutuukirivu ebiweesa Yakuwa ekitiibwa! (Baf. 1:11) Okusobola okubayamba okuweesa Yakuwa ekitiibwa, teekateeka bulungi buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi wa Baibuli.