LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/04 lup. 8
  • Yoleka Omwoyo gw’Obwapayoniya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yoleka Omwoyo gw’Obwapayoniya
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Similar Material
  • Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Yogera mu Ngeri eya Bulijjo
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 8/04 lup. 8

Yoleka Omwoyo gw’Obwapayoniya

1. Wandinnyonnyodde otya omwoyo gw’obwapayoniya?

1 Ka babe nga basobola okuweereza nga bapayoniya oba nedda, ababuulizi b’Obwakabaka bonna basobola okwoleka omwoyo gw’obwapayoniya. Baagala nnyo okugondera ekiragiro eky’okubuulira n’okufuula abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Bik. 18:5) Bafaayo ku bantu era balina bye beerekereza okusobola okutuukiriza obuweereza bwabwe. (Mat. 9:36; Bik. 20:24) Abaweereza ba Yakuwa beetegefu okukola kyonna ekisoboka okusobola okuyamba abalala okuyiga amazima. (1 Kol. 9:19-23) Ka twekenneenye ekyokulabirako kya Firipo omubuulizi w’enjiri eyalaga omwoyo ng’ogwo.

2. Abakadde n’abaweereza bayinza batya okukoppa obunyiikivu bwa Firipo mu buweereza bw’ennimiro?

2 Okubuulira n’Okuyigiriza: Firipo yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo mu kibiina eky’omu kyasa ekyasooka. (Bik. 6:1-6) Kyokka, yali mubuulizi omunyiikivu ow’amawulire amalungi. (Bik. 8:40) N’olwekyo, nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe leero, abakadde n’abaweereza basobola okwoleka omwoyo gw’obwapayoniya nga bawoma omutwe mu buweereza bw’ennimiro. Nga kino kirina kinene nnyo kye kikola ku mwoyo oguba mu kibiina!​—Bar. 12:11.

3. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo gw’obwapayoniya nga tuyigganyizibwa?

3 Oluvannyuma lw’okufa kwa Suteefano, okuyigganyizibwa okw’amaanyi kwataataaganya nnyo abayigirizwa. Kyokka, Firipo teyalekulira era yakola kinene nnyo mu kubuulira Abasamaliya. (Bik. 8:1, 4-6, 12, 14-17) Tusobola okumukoppa nga tweyongera okubunyisa amawulire amalungi wadde nga tuyigganyizibwa era nga tubuulira awatali kusosola muntu yenna.​—Yok. 4:9.

4. Kyakulabirako ki Firipo kye yassaawo ng’omuyigiriza omulungi?

4 Obukugu bwa Firipo ng’omuyigiriza w’Ekigambo kya Katonda bulabikira mu mboozi eyaliwo wakati we n’Omuwesiyopya omulaawe. (Bik. 8:26-38) Engeri endala gye twolekamu omwoyo gw’obwapayoniya kwe kukozesa obulungi Baibuli ‘n’okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Byawandiikibwa.’ (Bik. 17:2, 3) Okufaananako Firipo, tufuba okubuulira amawulire amalungi wonna abantu we basobola okusangibwa era ne tukozesa buli kakisa ke tufuna.

5. Kiki ekiyinza okuyamba abazadde Abakristaayo okusiga mu baana baabwe omwoyo gw’obwapayoniya?

5 Amaka n’Ekibiina: Endowooza ya Firipo n’ekyokulabirako kye birina kinene nnyo kye byakola ku bawala be. (Bik. 21:9) Mu ngeri y’emu, abazadde Abakristaayo abakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe bakubiriza abaana baabwe okukola kye kimu. Wadde nga wiiki weggweerako omuzadde aba akooye, bw’aba omunyiikivu mu kubuulira abalala, kirina kinene nnyo kye kikola ku mutima gw’omwana we.​—Nge. 22:6.

6. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima bapayoniya abali mu kibiina kyaffe?

6 Firipo yakyaza Pawulo ne Lukka, Abakristaayo abaali abanyiikivu mu buweereza bwa Yakuwa. (Bik. 21:8, 10) Tuyinza tutya okusiima n’okuwagira abo abakola n’obunyiikivu leero? Oboolyawo tuyinza okukolako ne bapayoniya ku makya oba olweggulo ku lunaku ababuulizi we babeerera abatono mu buweereza. (Baf. 2:4) Tusobola n’okubaaniriza mu maka gaffe ne tuzziŋŋanamu amaanyi. Ka tubeere mu mbeera ki, ka ffenna tufube okwoleka omwoyo gw’obwapayoniya.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share