LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 2
  • Yogera mu Ngeri eya Bulijjo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yogera mu Ngeri eya Bulijjo
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Firipo Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Firipo?
  • Koppa Firipo
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Emboozi Osobole Okubuulira Embagirawo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Okulongoosa mu Ngeri gye Tunyumyamu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 2

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

Firipo omubuulizi w’enjiri ng’ayogera n’omusajja Omwesiyopiya ali mu ggaali lye ng’asoma omuzingo.

Bik. 8:30, 31

ESSOMO 2

Yogera mu Ngeri eya Bulijjo

Omusingi: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!”​—Nge. 15:23.

Ekyo Firipo Kye Yakola

Firipo omubuulizi w’enjiri ng’ayogera n’omusajja Omwesiyopiya ali mu ggaali lye ng’asoma omuzingo.

VIDIYO: Firipo Abuulira Omwesiyopiya Omulaawe

1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 8:​30, 31, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Firipo yatandika atya okunyumya n’omusajja oyo?

  2. Lwaki tuyinza okugamba nti Firipo yatandika okwogera n’omusajja oyo mu ngeri eya bulijjo, n’asobola okubaako ekintu ekipya ky’amuyigiriza?

Kiki Kye Tuyigira ku Firipo?

2. Bwe tutandika okunyumya n’abantu mu ngeri eya bulijjo, kibayamba okusigala nga bakkakkamu era n’okuba abeetegefu okukubaganya naffe ebirowoozo ku ekyo kye tuba twogerako.

Koppa Firipo

3. Weetegereze. Endabika y’omuntu ey’oku maaso era n’ekyo ebitundu bye ebirala eby’omubiri kye byoleka, erina kinene ky’eraga ku muntu oyo. Omuntu alabika nga mwetegefu okunyumya naawe? Oyinza okubaako ky’omubuulira okuva mu Bayibuli ng’omubuuza nti, “Obadde okimanyi nti . . . ?” Togezaako kukaka omuntu okwogera naawe bw’aba nga tayagala.

4. Ba mugumiikiriza. Tokitwala nti olina okutandikirawo okubuulira omuntu Bayibuli ky’egamba. Linda ekiseera ekituufu ng’osobola okukwataganya obulungi ekyo kye mwogerako n’ekyo Bayibuli ky’egamba. Emirundi egimu kino kiyinza okukwetaagisa okulindako okutuusa lw’onoddamu okufuna akakisa akalala okunyumyako naye.

5. Ba mwetegefu okukyusaamu. Omuntu ayinza okukyusa emboozi n’agizza ku nsonga endala gy’obadde tosuubira. N’olwekyo beera mwetegefu okubaako ky’omubuulira ekikwatagana n’ensonga eyo, ka kibe nti ggwe obadde na nsonga ndala mu Bayibuli gy’obadde oyagala okwogerako naye.

LABA NE

Mub. 3:​1, 7; 1 Kol. 9:22; 2 Kol. 2:17; Bak. 4:6

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share