Okulongoosa mu Ngeri gye Tunyumyamu
KITERA okukwanguyira okunyumya n’abalala? Abasinga obungi bafuna ekiwuggwe bwe balowooza ku kunyumya n’omuntu gwe batamanyi. Abali ng’abo bayinza okuba nga balina ensonyi. Bayinza okwebuuza: ‘Njogere ku ki? Ntandike ntya okunyumya? Nnyinza ntya okwongera mu maaso emboozi?’ Ku luuyi olulala, abantu abakalukalu bayinza okwefuga emboozi. Bayinza obutawa balala kaagaanya kubaako kye boogera oba obutawuliriza ng’abalala boogera. N’olwekyo, ka tube nga tulina ensonyi oba nga tuli bakalukalu, ffenna twetaaga okulongoosa mu ngeri gye tunyumyamu.
Tandikira Waka
Okusobola okulongoosa mu ngeri gy’onyumyamu, lwaki totandikira waka? Okunyumya ku bintu ebizimba kireeta essanyu mu maka.
Ekintu ekisingira ddala obukulu mu kunyumya ng’okwo kwe kufaayo ennyo ku balala. (Ma. 6:6, 7; Nge. 4:1-4) Bwe tuba tufaayo ku balala, tunyumya nabo era ne tubawuliriza nga balina kye batugamba. Ekintu ekirala ekikulu kwe kubaako n’ekintu eky’okwogerako ekizimba. Singa tuba n’entegeka ey’okwesomesa n’okusoma Baibuli obutayosa, tujja kuba na bingi eby’okunyumyako. Okukozesa obulungi akatabo Okwekennenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku kisobola okutuyamba okufuna eby’okunyumyako. Tuyinza okuba n’ekyatusanyusizza mu buweereza obw’omu nnimiro. Tuyinza okusoma ku kintu ekizimba oba ekisesa. Twandinyumizza ku bintu ng’ebyo nga tuli wamu ng’amaka. Era ekyo kijja kutuyamba okunyumya n’abantu abatali ba mu maka gaffe.
Okunyumya n’Omuntu gwe Tutamanyi
Abantu bangi tekibanguyira kutandika kunyumya na muntu gwe batamanyi. Naye, olw’okwagala Katonda ne baliraanwa baabwe, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuyiga okunyumya basobole okubuulirako abalala amazima ga Baibuli. Kiki ekiyinza okukuyamba okulongoosa mu nsonga eyo?
Omusingi ogusangibwa mu Abafiripi 2:4 mukulu nnyo. Tukubirizibwa obutatunuulira, ‘byaffe ku bwaffe byokka naye era n’eby’abalala.’ Kirowoozeeko bw’oti: Omuntu bw’oba tomusisinkanangako, akutwala ng’omuntu gw’atamanyi. Oyinza otya okumuyamba okukkakkana? Osobola okukikola ng’omwenyamwenyaamu era ng’omubuuza mu ngeri ey’omukwano. Naye waliwo n’ebirala by’olina okulowoozaako.
Oyinza okuba omuggye ku ky’abadde alowooza. Singa ogezaako okunyumya naye ku kiri ku birowoozo byo kyokka n’otafaayo ku kiri ku birowoozo bye, anaakuwuliriza? Yesu yakola ki bwe yasanga omukazi Omusamaliya ku luzzi? Ebirowoozo by’omukazi ono byali ku kusena mazzi. Yesu yatandika ng’anyumya ku ekyo ekyali mu birowoozo by’omukazi oyo, era amangu ddala emboozi yagizza ku by’omwoyo.—Yok. 4:7-26.
Singa obeera weetegereza, naawe osobola okumanya ebyo abantu bye balowooza. Omuntu alabika nga musanyufu oba munakuwavu? Akaddiye era ng’alabika mukosefu? Waliwo ekiraga nti mu maka ago mulimu abaana? Waliwo ekiraga nti omuntu oyo mugagga oba mwavu? Ebintu ebitimbiddwa mu nju oba emikuufu gy’ayambadde biraga nga munnaddiini? Singa omuntu oyo omubuuza ng’olina ensonga ezo mu birowoozo, ajja kulaba nti mulina bye mufaanaganya.
Singa nnyinimu tomulaba maaso ku maaso, oboolyawo ng’owulira buwulizi ddoboozi lye olw’okuba yeesibidde mu nju wandirowoozezza ki? Omuntu oyo ayinza okuba mweraliikirivu olw’okutya. Oyinza okwogera naye ku nsonga eyo yennyini ey’okutya?
Mu bitundu ebimu osobola okutandika okunyumya n’omuntu ng’omubuulira ebikukwatako ggwe kennyini, kwe kugamba, gy’ozaalwa, ensonga ekuleese, ensonga lwaki okkiririza mu Katonda, lwaki watandika okusoma Baibuli, oba n’engeri Baibuli gy’ekuyambyemu. (Bik. 26:4-23) Kya lwatu ekyo olina okukikola mu ngeri ey’amagezi. Kino kiyinza okuleetera omuntu oyo okukubuulira ebimukwatako era n’akuwa endowooza ye ku Baibuli.
Mu bifo ebimu, kya mu buwangwa okwaniriza abantu b’otomanyi. Bayinza okukwaniriza n’essanyu era ne bakuwa aw’okutuula. Bw’obuuza nnyinimu embeera ab’omu maka gye balimu era n’owuliriza bulungi by’addamu, naye ayinza okussaayo omwoyo ku by’oyogera. Ate abantu abalala basanyukira nnyo abagenyi ne kiba nti ekiseera kye mumala nga mubuuzaganya kiba kiwanvuko. Mu kubuuzaganya kuno, bayinza okukisanga nti mukwatagana mu bintu ebimu. Ekyo kiyinza okubaviirako okunyumya ku by’omwoyo.
Ate kiri kitya singa mu kitundu ky’ewammwe abantu bangi boogera ennimi z’otomanyi? Oyinza otya okutuukirira abantu abo? Bw’oyiga okubuuza mu nnimi ezo, abantu bajja kukitegeera nti obafaako nnyo. Kino kiyinza okukuggulirawo ekkubo ne weeyongera okunyumya nabo ebisingawo.
Engeri y’Okwongera Emboozi mu Maaso
Okusobola okwongera emboozi mu maaso, laga nti ofaayo ku ndowooza y’oyo gw’oyogera naye. Mukubirize okwogera ekimuli ku mutima bw’aba nga mwetegefu okukikola. Okubuuza ebibuuzo ebituukirawo kisobola okukuyamba. Ebibuuzo ebireetera omuntu okuwa endowooza ye bye bisinga obulungi kubanga bikubiriza omuntu okubaako ky’ayogera so si kuddamu buzzi nti yee oba nedda. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okwogera ku kizibu ekikwata ku bantu b’omu kitundu kye, oyinza okumubuuza: “Olowooza kiki ekiviiriddeko ekizibu kino?” oba “Olowooza kiki ekiyinza okugonjoola ekizibu kino?”
Bw’obuuza ekibuuzo, wuliriza bulungi ky’addamu. Laga nti ogoberera ng’obaako ky’oyogera, ng’owuuna, oba ng’onyeenya ku mutwe. Tomusala kirimi. Ssaayo omwoyo ku by’ayogera. ‘Beera mwangu okuwulira, olwewo okwogera.’ (Yak. 1:19) Bw’oba omuddamu, kirage nti obadde owuliriza bulungi by’abadde ayogera.
Kyokka, kitegeere nti si buli muntu nti ajja kuddamu buli ky’obuuza. Abamu mu kifo ky’okuddamu ekibabuuziddwa balaga bulazi nti beewuunyiza oba ne bamwenya bumwenya. Abalala baddamu buzzi nti yee oba nedda. Toggwaamu maanyi. Beera mugumiikiriza. Tokaka mboozi. Singa omuntu abeera mwetegefu okuwuliriza, kozesa omukisa ogwo okumutegeeza ebirowoozo ebizimba okuva mu Byawandiikibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, omuntu oyo ayinza okukutwala nga mukwano gwe. Era, oboolyawo ayinza okuba omwetegefu okukubuulira ky’alowooza nga talina kutya kwonna.
Ng’oyogera n’abantu, lowooza ku ngeri gy’oyinza okuddamu okubakyalira. Singa omuntu abuuza ebibuuzo ebiwerako, ddamu ebimu, ebirala obiddemu ng’ozzeeyo omulundi omulala. Mutegeeze nti ojja kukola okunoonyereza, era bw’oddayo mutegeeze by’ozudde. Singa takubuuza kibuuzo kyonna, osobola okufundikira emboozi ng’omubuuza ekibuuzo ky’olowooza nti kinaamukwatako. Musuubize okukiddamu lw’onoddayo. Mu katabo Reasoning From the Scriptures ne mu ako akayitibwa Katonda Atwetaagisa Ki?, oba mu magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ezaakafuluma oyinza okusangamu bingi eby’okwogerako.
Ng’Oli ne Bakkiriza Banno
Bw’osisinkana omu ku Bajulirwa ba Yakuwa omulundi ogusooka, ofuba okumumanya oba osirika busirisi? Okwagala kwe tulina eri baganda baffe kwandituleetedde okwagala okubamanya. (Yok. 13:35) Wanditandikidde ku ki? Oyinza okumubuulira erinnya lyo, ate oluvannyuma n’omubuuza erirye. Okumubuuza engeri gye yayigamu amazima kisobola okubaviirako emboozi ennyuvu era kijja kubayamba okumanyagana. Ka kibe nti emboozi temmuka, okufuba okwogera naye kimulaga nti omufaako, era ng’ekyo kye kisinga obukulu.
Kiki ekiyinza okukuyamba okunyumya ku bintu eby’amakulu n’ow’oluganda mu kibiina? Mulage nti omufaako ng’omuntu kinnoomu era nti ofaayo ne ku b’omu maka ge. Olukuŋŋaana lwakaggwa? Yogera ku bintu ebyogeddwako ebiyinza okubayamba. Ekyo kiyinza okubaganyula mwembi. Oyinza okwogera ku kintu ekyakunyumidde mu katabo ka Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! obwakafuluma. Ekyo tewandikikoze olw’okweraga oba olw’okwagala obwagazi okumanya by’amanyi. Kikole ng’olina ekigendererwa eky’okumutegeeza ekintu ekirungi ekyakunyumidde. Muyinza okwogera ku mboozi omu ku mmwe gy’ajja okuwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda era ne mukubaganya naye ebirowoozo ku ngeri y’okugitegekamu. Muyinza n’okwogera ku baabaddewo mu buweereza obw’ennimiro.
Kyo kituufu nti, bwe tulaga nti tufaayo ku bantu, tusobola okunyumya ku bye boogera ne bye bakola. Tuyinza n’okwogera ku bintu ebisesa. Bye tunaayogera binaaba bizimba? Singa tunaakolera ku kubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda era ne tukubirizibwa okwagala, awatali kubuusabuusa bye twogera bijja kuba bizimba.—Nge. 16:27, 28; Bef. 4:25, 29; 5:3, 4; Yak. 1:26.
Nga tetunnagenda mu buweereza bw’ennimiro, tulina okwetegeka. Lwaki totegekayo eby’okwogera ne mikwano gyo ebinyuma? Bw’oba osoma oba ng’owuliriza ebintu ebitali bimu, weetegereze by’oyinza okubuulirako abalala. Oluvannyuma lw’ekiseera, ojja kuba na bingi by’osobola okunyumyako. Bw’onookola bw’otyo kijja kukuyamba obutoogera ku ebyo byokka ebibaawo mu bulamu obwa bulijjo. N’ekisingira ddala byonna obukulu, by’oyogera byandiraze nti Ekigambo kya Katonda okitwala nga kya muwendo nnyo gy’oli!—Zab. 139:17.