LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 1
  • Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Yesu Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
  • Koppa Yesu
  • Yogera mu Ngeri eya Bulijjo
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Okunyumya n’Omuntu ng’Olina Ekigendererwa eky’Okumubuulira
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Okulongoosa mu Ngeri gye Tunyumyamu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Emboozi Osobole Okubuulira Embagirawo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 1

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

Yesu ayogera n’omukazi ku luzzi.

Yok. 4:6-9

ESSOMO 1

Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu

Omusingi: “Okwagala . . . tekwenoonyeza byakwo.”​—1 Kol. 13:​4, 5.

Ekyo Yesu Kye Yakola

Yesu ayogera n’omukazi ku luzzi.

VIDIYO: Yesu Ayogera n’Omukazi ku Luzzi

1. Laba VIDIYO, oba Soma Yokaana 4:​6-9, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Kiki Yesu kye yeetegereza nga tannatandika kunyumya na mukazi oyo?

  2. Yesu yagamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.” Lwaki eyo yali ngeri nnungi ey’okutandika okunyumya n’omukazi oyo?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Bwe tutandika okunyumya n’omuntu nga twogera ku kintu ky’awulira nga kimukwatako, aba ajja kutuwuliriza.

Koppa Yesu

3. Ba mwetegefu okukyusakyusaamu. Teweesiba ku ekyo kye wabadde oteeseteese okwogerako. Tandika okunyumya n’abantu ng’oyogera ku ekyo kye balowoozaako ku olwo. Weebuuze:

  1. ‘Biki ebiri mu mawulire?’

  2. ‘Bintu ki baliraanwa bange, bakozi bannange, oba bayizi bannange bye boogerako?’

4. Weetegereze. Weebuuze:

  1. ‘Omuntu oyo akola? Kiki ky’ayinza okuba ng’alowoozaako?’

  2. ‘Ennyambala y’omuntu yo, endabika ye, oba amaka ge, biraga ki ku ebyo by’akkiririzaamu oba ku buwangwa bwe?’

  3. ‘Kino kiseera kituufu okwogerako n’omuntu ono?’

5. Wuliriza.

  1. Weewale okwogera ennyo.

  2. Kubiriza omuntu gw’oyogera naye okwogera ekimuli ku mutima. Bwe kiba kituukirawo, baako ebibuuzo by’omubuuza.

LABA NE

Mat. 7:12; 1 Kol. 9:​20-23; Baf. 2:4; Yak. 1:19

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share