Tuyinza Tutya Okubuulira ab’Eŋŋanda Zaffe?
1. Lwaki kyetaagisa okukozesa amagezi nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe?
1 Nga kiba kya ssanyu nnyo okuyingira mu nsi empya n’ab’eŋŋanda zaffe nga ffenna tusinza Yakuwa! Kino kisobola okubaawo singa tubabuulira amazima. Kyokka, tulina okukozesa amagezi nga tubabuulira. Omulabirizi w’ekitundu omu yagamba: “Engeri esinga obulungi, kwe kubabuulira ebintu bitonotono ebiyinza okubasikiriza okwagala okumanya ebisingawo.” Kino tuyinza kukikola tutya?
2. Tuyinza tutya okusikiriza ab’eŋŋanda zaffe okuwuliriza obubaka bwaffe?
2 Basikirize: Sooka olowooze ku ngeri gy’oyinza okubasikirizaamu. (Nge. 15:28) Bintu ki ebisinga okubeeraliikiriza? Bizibu ki bye boolekagana nabyo? Oyinza okubalaga ekitundu okuva mu bitabo byaffe oba ekyawandiikibwa ekikwata ku ebyo ebibeeraliikiriza. Bwe kiba nti ab’eŋŋanda zo babeera walako, oyinza okubabuulira ng’okozesa essimu oba ng’obawandiikira ebbaluwa. Togezaako kubakaka kukkiriza by’obabuulira, wabula siga ensigo ez’amazima era osabe Yakuwa azikuze.—1 Kol. 3:6.
3. Ab’eŋŋanda zaffe bwe baba baagala okumanya ebitukwatako, tuyinza tutya okukozesa omukisa ogwo okubawa obujulirwa?
3 Yesu yagamba omusajja gwe yali agobyeko dayimooni nti: “Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by’akukoledde, ne bw’akusaasidde.” (Mak. 5:19) Teeberezaamu engeri ab’eŋŋanda z’omusajja oyo gye baakwatibwako olw’ekyo Yesu kye yakola! Wadde ng’ekintu ekifaananako bwe kityo kiyinza okuba nga tekikutuukangako, ab’eŋŋanda zo bayinza okwagala okumanya ebikukwatako gwe wamu n’abaana bo. Okubabuulira ku ebyo ebyali mu mboozi gye wawa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, bye wayiga mu lukuŋŋaana olunene, bye walaba ng’okyadde mu maka ga Beseri, oba ekintu ekirala kyonna, kiyinza okukutemera oluwenda okubaako by’obabuulira ku Yakuwa awamu n’ekibiina kye.
4. Biki bye twandyewaze nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe?
4 Kozesa Amagezi: Bw’oba obuulira ab’eŋŋanda zo, weewale okubabuulira ebintu ebingi omulundi gumu. Ng’ajjukira ekiseera we yatandikira okuyiga Baibuli, ow’oluganda omu yagamba: “Nnamalanga essaawa nnyingi nga mbuulira maama wange kumpi buli kye nnali njize mu Baibuli era kino tekyasanyusa taata wange.” Ka kibe nti omu ku b’eŋŋanda zo y’akubuuzizza ekibuuzo ekikwata ku Baibuli, tomubuulira bingi asobole okusigala ng’akyayagala okumanya ebisingawo. (Nge. 25:7) Ate era, bawe ekitiibwa ng’oyogera nabo, balage ekisa, era beera mugumiikiriza gye bali nga bwe wandikoze ng’oyogera n’omuntu yenna gw’oba osanze mu buweereza bw’ennimiro.—Bak. 4:6.
5. Kiki kye twandikoze singa ab’eŋŋanda zaffe bagaana obubaka bwaffe?
5 Lumu, ab’eŋŋanda za Yesu baali balowooza nti agudde eddalu. (Mak. 3:21) Kyokka, oluvannyuma abamu baafuka abakkiriza. (Bik. 1:14) Singa ab’eŋŋanda zo bagaana amazima, toggwaamu maanyi. Embeera yaabwe n’endowooza gye babadde balina bisobola okukyuka. Noonya engeri gy’oyinza okubasikirizaamu basobole okuwuliriza obubaka bwo. Oyinza okufuna essanyu bw’onoobayamba okutambulira mu kkubo eribatuusa mu bulamu obutaggwaawo.—Mat. 7:13, 14.