Yamba Abantu ‘Okuzuukuka Okuva mu Tulo’
“Mumanyi ekiseera kye mulimu, nti essaawa etuuse mmwe okuzuukuka mu tulo.”—BAR. 13:11.
OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?
Lwaki Abakristaayo beetaaga okusigala nga batunula mu by’omwoyo?
Lwaki tusaanidde okuwuliriza abantu be tubuulira n’okufuba okutegeera embeera yaabwe?
Lwaki tulina okwoleka ekisa nga tubuulira?
1, 2. Abantu bangi bali mu tulo twa ngeri ki leero?
ABANTU nkumi na nkumi bafa buli mwaka olw’okusumagira oba olw’okwebaka nga bavuga ebidduka. Abalala bagobebwa ku mirimu olw’okuba beebaka nnyo ne batuuka kikeerezi ku mulimu oba olw’okwebakira ku mulimu. Kyokka okwebaka mu by’omwoyo kya kabi nnyo n’okusingako awo. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Alina essanyu oyo asigala ng’atunula.”—Kub. 16:14-16.
2 Olunaku lwa Yakuwa olukulu lugenda lweyongera okusembera, naye abantu abasinga obungi leero beebase mu by’omwoyo. N’abakulembeze b’amadiini agamu bagamba nti abagoberezi baabwe bali mu tulo. Kitegeeza ki okwebaka mu by’omwoyo? Lwaki Abakristaayo ab’amazima basaanidde okusigala nga batunula? Tuyinza tutya okuyamba abantu okuzuukuka okuva mu tulo otw’eby’omwoyo?
KITEGEEZA KI OKWEBAKA MU BY’OMWOYO?
3. Omuntu aba yeebase mu by’omwoyo yeeyisa atya?
3 Omuntu bw’aba yeebase aba talina ky’akola. Naye omuntu aba yeebase mu by’omwoyo, ayinza okuba ng’alina ebintu bingi by’akola naye ng’ebintu ebyo tebikwatagana na bya mwoyo. Ayinza okuba nga yeemalidde mu kunoonya ssente, eby’amasanyu, ettutumu, oba ebintu eby’obulamu obwa bulijjo. Olw’okuba aba yeemalidde ku bintu ebyo, aba n’obudde butono nnyo okulowooza ku bintu eby’omwoyo. Kyokka abantu abatunula mu by’omwoyo bakimanyi nti tuli “mu nnaku ez’oluvannyuma,” bwe kityo banyiikirira okukola Katonda by’ayagala.—2 Peet. 3:3, 4; Luk. 21:34-36.
4. Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Tuleme kwebaka ng’abalala bwe bakola”?
4 Soma 1 Abassessaloniika 5:4-8. Mu nnyiriri ezo, omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne baleme “kwebaka ng’abalala bwe bakola.” Kiki kye yali ategeeza? Tuyinza ‘okwebaka’ mu by’omwoyo singa tusambajja emitindo gya Yakuwa egy’empisa. Ate era tuyinza ‘okwebaka’ mu by’omwoyo singa twerabira nti Yakuwa anaatera okuzikiriza abantu abatatya Katonda. N’olwekyo, tulina okwewala empisa z’abantu ng’abo abatatya Katonda awamu n’endowooza zaabwe.
5. Ndowooza ki enkyamu abantu abeebase mu by’omwoyo ze balina?
5 Abantu abamu balowooza nti Katonda taliiyo, era nti tajja na kubabonereza olw’ebintu ebibi bye bakola. (Zab. 53:1) Abalala balowooza nti Katonda tafaayo ku bantu era nti n’abantu tebeetaaga kumanya bimukwatako. Ate abalala balowooza nti bwe babaako eddiini mwe bali ekyo kijja kubayamba okufuuka mikwano gya Katonda. Abantu bonna abalina endowooza ng’ezo enkyamu beebase mu by’omwoyo. Beetaaga okuzuukuka okuva mu tulo. Tuyinza tutya okubayamba?
TULINA OKUSIGALA NGA TUTUNULA MU BY’OMWOYO
6. Lwaki Abakristaayo balina okufuba okusigala nga batunula mu by’omwoyo?
6 Okusobola okuzuukusa abalala okuva mu tulo, ffe kennyini tulina okuba nga tutunula mu by’omwoyo. Tuyinza tutya okusigala nga tutunula? Bayibuli egeraageranya okwebaka mu by’omwoyo ku ‘bikolwa eby’ekizikiza,’ gamba ng’ebinyumu, okutamiira, obwenzi, obugwenyufu, okuyomba, n’okukwatirwa abalala obuggya. (Soma Abaruumi 13:11-14.) Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okwewala ebikolwa ng’ebyo. Kikulu okusigala nga tutunula. Singa omuvuzi w’emmotoka yeebaka ng’avuga, ayinza okufiirwa obulamu bwe. Mu ngeri y’emu, Omukristaayo alina okijjukira bulijjo nti okwebaka mu by’omwoyo kiyinza okumuviirako okufiirwa obulamu bwe!
7. Kiki ekiyinza okubaawo singa tuba n’endowooza etali nnuŋŋamu ku bantu be tubuulira?
7 Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayinza okutandika okulowooza nti abantu abali mu kitundu kye tebaagala kuwuliriza mawulire malungi. (Nge. 6:10, 11) Ayinza okugamba nti, ‘Bwe kiba nti tewali n’omu agenda kuwuliriza mawulire malungi, kati olwo lwaki mmala ebiseera byange okugenda okubuulira?’ Kyo kituufu nti abantu abasinga obungi leero tebaagala kuwuliriza mawulire malungi, naye embeera zaabwe ziyinza okukyuka ne kibaviirako okukyusa endowooza yaabwe. Abamu bamala ne bazuukuka ne bakkiriza amawulire amalungi. Tusobola okubayamba singa tusigala nga tutunula. Ekyo tusobola okukikola singa tufuba okubabuulira amawulire amalungi mu ngeri esikiriza. Bwe tuba ab’okusigala nga tutunula, tusaanidde okujjukira ensonga lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo.
LWAKI OMULIMU GWAFFE OGW’OKUBUULIRA MUKULU NNYO?
8. Lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo?
8 Tusaanidde okukijjukira nti ka kibe nti abantu bakkirizza okuwulira obubaka bwaffe oba nedda, omulimu gwaffe ogw’okubuulira guweesa Yakuwa ekitiibwa, era okuyitira mu gwo Yakuwa atuukiriza ekigendererwa kye. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kulamula abantu ng’asinziira ku ngeri gye beeyisaamu nga tubabuulidde amawulire amalungi. Abo abatagondera mawulire malungi bajja kuzikirizibwa. (2 Bas. 1:8, 9) Kiba kikyamu Omukristaayo okulowooza nti teyeetaaga kuba munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira olw’okuba “wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Ekigambo kya Katonda kiraga nti oluvannyuma lw’okulamulwa, abo abalinga ‘embuzi’ bajja kugenda “mu kufa okw’olubeerera.” Omulimu gwaffe ogw’okubuulira y’emu ku ngeri Katonda gy’ayolekamu obusaasizi bwe, kubanga guyamba abantu okufuna akakisa okukyusa obulamu bwabwe basobole okufuna ‘obulamu obutaggwaawo.’ (Mat. 25:32, 41, 46; Bar. 10:13-15) Singa tetubuulira, abantu banaafuna batya akakisa okuwulira amawulire amalungi aganaabayamba okuwonawo?
9. Omulimu gw’okubuulira gutuganyula gutya era guganyula gutya abo be tubuulira?
9 Okubuulira amawulire amalungi na ffe kituganyula. (Soma 1 Timoseewo 4:16.) Okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’Obwakabaka bwe kinyweza okukkiriza kwaffe era kituyamba okwongera okumwagala. Ate era kituyamba okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo n’okuba abasanyufu. Ab’oluganda bangi abalina abantu be bayambye okuyiga amazima bafunye essanyu okulaba engeri omwoyo gwa Katonda gye guyambamu abantu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.
WEETEGEREZE EMBEERA Y’ABO B’OBUULIRA
10, 11. (a) Yesu ne Pawulo baakiraga batya nti baali bategeera embeera y’abantu? (b) Okutegeera embeera y’abantu kiyinza kitya okutuyamba mu buweereza bwaffe.
10 Ebintu ebisikiriza abantu okuwuliriza amawulire amalungi bya njawulo. N’olwekyo, tulina okufuba okutegeera embeera y’abantu be tusanga nga tubuulira. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Olw’okuba yali atuukiridde, yasobola okutegeera nti Omufalisaayo eyali amukyazizza yali anyiize, nti omukazi eyali amanyiddwa ng’omwonoonyi yali yeenenyezza, era nti ne nnamwandu yali awaddeyo byonna bye yalina. (Luk. 7:37-50; 21:1-4) Yesu yali asobola okuyamba abantu aba buli ngeri kubanga yali amanyi ebyetaago byabwe eby’omwoyo. Naye tekitwetaagisa kuba nga tutuukiridde okusobola okutegeera embeera y’abantu. Ekyo kyeyolekera mu kyokulabirako ky’omutume Pawulo. Yabuuliranga mu ngeri ezitali zimu okusobola okusikiriza abantu aba buli ngeri.—Bik. 17:22, 23, 34; 1 Kol. 9:19-23.
11 Bwe tufuba okutegeera embeera y’abantu nga Yesu ne Pawulo bwe baakola, tujja kumanya engeri gye tuyinza okubasikiriza okutuwuliriza. Ng’ekyokulabirako, bw’oba tonnatandika kwogera na muntu, gezaako okutegeera by’ayagala. Era gezaako okutegeera obanga ali bwannamunigina, mufumbo, oba alina abaana. Weetegereze ky’aba akola mu kiseera ekyo oboolyawo obeeko ky’okyogerako ng’otandika okunyumya naye.
12. Bwe tuba tubuulira, kiki kye tusaanidde okwewala?
12 Omubuulizi afaayo ku bantu b’abuulira takkiriza kintu kyonna kumuwugula. Bwe tuba tubuulira, emboozi ze tunyumya ne babuulizi bannaffe zisobola okutuzzaamu amaanyi. Wadde kiri kityo, tusaanidde okukijjukira nti ensonga enkulu lwaki tugenda mu buweereza bw’ennimiro kwe kubuulira abalala amawulire amalungi. (Mub. 3:1, 7) Bwe kityo, tulina okufuba okulaba nti emboozi ze tunyumya tezituwugula kuva ku mulimu gwaffe. Bwe twogera ku ngeri gye tuyinza okuyambamu abo be tusanga nga tubuulira kiyinza okutuyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku mulimu gw’okubuulira. Wadde ng’essimu esobola okutuyamba nga tuli mu buweereza bw’ennimiro, tulina okukakasa nti amasimu ge batukubira tegawugula birowoozo by’oyo gwe tuba tubuulira.
FAAYO KU ABO B’OBUULIRA
13, 14. (a) Tuyinza tutya okumanya ebyo abantu be tuba twogera nabo bye balowooza? (b) Bintu ki bye tuyinza okwogerako okusobola okusikiriza abantu okwagala okuyiga Bayibuli?
13 Kikulu nnyo okuwuliriza obulungi abantu be tuba tubuulira. Bibuuzo ki by’oyinza okubuuza abantu b’osanga ng’obuulira okusobola okumanya ebyo bye balowooza? Bayinza okuba nga beebuuza ensonga lwaki waliwo amadiini mangi, lwaki waliwo ettemu lingi, oba lwaki gavumenti ziremereddwa okukola ku bizibu by’abantu. Osobola okusikiriza abantu okwagala okuyiga ebikwata ku Katonda ng’oyogera ku butonde oba ng’obayamba okulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abo abatakkiririza mu Katonda, baagala nnyo okumanya ebikwata ku kusaba. Bangi beebuuza obanga essaala zaabwe ziwulirwa. Abalala beebuuza ebibuuzo nga bino: Katonda awulira essaala zonna? Bw’aba ng’alina z’atawulira, kati olwo kiki kye tulina okukola okusobola okuwulirwa Katonda?
14 Tusobola okuyiga engeri y’okutandika okwogera n’abantu nga twetegereza engeri ababuulizi abalina obumanyirivu gye bakikolamu. Weetegereze engeri gye babuuzaamu ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi. Era weetegereze engeri eddoboozi lye bakozesa n’endabika yaabwe ey’oku maaso gye biragamu nti bafaayo okumanya endowooza y’oyo gwe baba boogera naye.—Nge. 15:13.
BA WA KISA ERA KOZESA AMAGEZI
15. Lwaki tulina okwoleka ekisa nga tubuulira?
15 Owulira otya singa omuntu akuzuukusa okuva mu tulo otw’amaanyi? Abantu bangi tebaagala kubagugumula mu tulo. Bangi baagala kubazuukusa mpolampola. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku kuzuukusa abantu mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu akukambuwalira ng’ogenze okumubuulira, kiki kye wandikoze? Beera wa kisa era kirage nti otegeera enneewulira ye. Mwebaze olw’okwogera ekyo ekimuli ku mutima era omuviire. (Nge. 15:1; 17:14; 2 Tim. 2:24) Bw’omuyisa mu ngeri ey’ekisa, ekyo kiyinza okumusikiriza okuwuliriza ku mulundi omulala.
16, 17. Tuyinza tutya okukozesa amagezi nga tubuulira?
16 Ebiseera ebimu tusobola okweyongera okunyumya n’omuntu wadde ng’agambye nti tayagala bubaka bwaffe oba nti alina eddiini ye. Ayinza okwogera bw’atyo olw’okwagala okukomya emboozi. Naye mu ngeri ey’amagezi era ey’ekisa, tusobola okumubuuza ekibuuzo ekiyinza okumuleetera okwagala okuyiga Bayibuli.—Soma Abakkolosaayi 4:6.
17 Ebiseera ebimu bwe tusanga abantu abalina eby’okukola ebingi, kiyinza okuba eky’amagezi okubaleka. Naye oluusi oyinza okukiraba nti osobola okubaako ebintu ebitonotono by’osobola okwogerako nabo nga tonnagenda. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda abamu basobola okukozesa eddakiika ng’emu okusomera omuntu ekyawandiikibwa era ne bamulekera ekibuuzo kye banaayogerako ku mulundi omulala. Ekyo ebiseera ebimu kiviiriddeko abantu be baba boogera nabo okukiraba nti basobola okuwaayo eddakiika entonotono okubaako ne bye bayiga okuva mu Bayibuli. Bw’osanga omuntu alina eby’okukola ebingi, lwaki naawe togezaako kukola bw’otyo?
18. Tuyinza tutya okweteekateeka okubuulira embagirawo?
18 Tusobola okusikiriza abantu okuyiga ebikwata ku Katonda singa tuba tweteeseteese okubuulira embagirawo. Ab’oluganda bangi ne bannyinaffe bafuba okutambula n’ebitabo byaffe mu nsawo zaabwe nga baliko gye balaga. Abamu babaako n’ekyawandiikibwa kye baba baategese okusomera omuntu singa baba bafunye akakisa. Omulabirizi w’obuweereza ne bapayoniya abali mu kibiina kyo bayinza okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okwetegekamu okubuulira embagirawo.
YAMBA AB’EŊŊANDA ZO OKUZUUKUKA
19. Lwaki tetulina kulekera awo kuyamba baŋŋanda zaffe kuyiga mazima?
19 Kya lwatu nti ffenna twandyagadde okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okuyiga amazima. (Yos. 2:13; Bik. 10:24, 48; 16:31, 32) Kyokka singa bagaana okutuwuliriza ku mulundi gwe tusoose okubabuulira, tuyinza okuwulira nga tetwagala kuddamu kubabuulira. Tuyinza n’okulowooza nti tetulina kya maanyi kye tuyinza kukola kukyusa ndowooza yaabwe. Wadde kiri kityo, wayinza okubaawo embeera eziyinza okubaleetera okukyusa endowooza yaabwe. Ate naawe kati oyinza okuba ng’osobola bulungi okubannyonnyola ebikwata ku nzikiriza yo mu ngeri esobola okubasikiriza.
20. Lwaki kikulu okweyisa mu ngeri ey’amagezi ng’obuulira ab’eŋŋanda zo?
20 Tusaanidde okufaayo ku nneewulira z’ab’eŋŋanda zaffe. (Bar. 2:4) Tusaanide okwogera nabo mu ngeri ey’ekisa nga bwe twogera n’abantu abalala nga tubuulira. Yogera n’ab’eŋŋanda zo mu ngeri ey’obukkakkamu era eraga nti obawa ekitiibwa. Tekiri nti buli kiseera olina kuba ng’oyogera nabo ku bya Bayibuli. Ebiseera ebimu engeri gye weeyisaamu esobola okulaga nti amazima gakyusizza obulamu bwo. (Bef. 4:23, 24) Bayambe okukiraba nti oganyuddwa nnyo mu kuyigirizibwa Yakuwa. (Is. 48:17) Kirage mu ngeri gye weeyisaamu nti oli Mukristaayo wa mazima.
21, 22. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti kikulu nnyo obutalekulira kuyamba ba ŋŋanda zaffe kuyiga mazima.
21 Mwannyinaffe omu yagamba nti akoze kyonna ekisoboka okuyamba baganda be ne bannyina 13 okuyiga amazima. Buli mwaka abadde afuba okuwandiikira buli omu ku bo ebbaluwa. Kyokka, mwannyinaffe oyo yamala emyaka 30 ng’ali yekka mu mazima.
22 Mwannyinaffe oyo era yagamba nti: “Lumu, nnakubira muganda wange essimu n’aŋŋamba nti yali asabye omukulembeze w’ekkanisa gye yali asabira amuyigirize Bayibuli, naye n’atakikola. Bwe nnamugamba nti nze nnali mwetegefu okumuyamba, yanziramu nti: ‘Ekyo tekirina mutawaana, naye ka kibe ki, nze sigenda kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa.’ Nnamuweereza akatabo Kiki Ddala Bayibuli Ky’Eyigiriza? era buli luvannyuma lw’ekiseera, nnamukubiranga essimu. Naye buli lwe nnamukubiranga, yaŋŋambanga nti yali tannaba na kukabikula. Nga wayise ekiseera, nnamukubira essimu ne musaba aggyeyo akatabo ako, era ne tumala eddakiika nga 15 nga tukubaganya ebirowoozo ku byawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo ako. Oluvannyuma lw’okumukubira essimu emirundi egiwerako, yansaba tusomenga naye okumala eddakiika ezisukka mu 15. Oluvannyuma lw’ekiseera yatandika okunkubiranga essimu ng’ayagala tusome. Ebiseera ebimu yankubiranga sinnaba na kuzuukuka era ng’oluusi akuba emirundi ebiri olunaku. Omwaka ogwaddako yabatizibwa. Nga wayise omwaka gumu, yatandika okuweereza nga payoniya.”
23. Lwaki tulina okweyongera okuyamba abantu okuzuukuka okuva mu tulo otw’eby’omwoyo?
23 Kitwetaagisa okufuba ennyo n’okukozesa amagezi okusobola okuyamba abantu okuzuukuka okuva mu tulo otw’eby’omwoyo. Leero waliwo abantu bangi abeetegefu okuyiga amazima. Okutwalira awamu, buli mwezi, abantu abasukka mu 20,000 beewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa. N’olwekyo, ka tweyongere okukolera ku bigambo bino Pawulo bye yagamba Alukipo eyaliwo mu kyasa ekyasooka: “Fubanga okutuukiriza obuweereza bwe wakkiriza mu Mukama waffe.” (Bak. 4:17) Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okumanya kye kitegeeza okubuulira n’obunyiikivu.
[Akasannduuko kali ku lupapula 13]
ENGERI GY’OYINZA OKUSIGALA NG’OTUNULA
▪ Nnyiikirira okukola Katonda by’ayagala
▪ Weewale ebikolwa eby’ekizikiza
▪ Jjukira akabi akali mu kwebaka mu by’omwoyo
▪ Ba n’endowooza ennuŋŋamu ku bantu abali mu kitundu kyo
▪ Gezaako okukozesa engeri ezitali zimu ng’obuulira
▪ Jjukira ensonga lwaki omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo