Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 9: Okuyamba Abayizi Okubuulira Embagirawo
1 Andereya ne Firipo bwe baategeera nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa, tebaalonzalonza kubuulirako abalala amawulire gano ag’essanyu. (Yok. 1:40-45) Mu ngeri y’emu leero, abayizi ba Baibuli bwe batandika okukkiririza mu ebyo bye bayiga, babibuulirako abalala. (2 Kol. 4:13) Tuyinza tutya okubakubiriza okubuulira embagirawo era n’okubayamba okukikola mu ngeri ennungi?
2 Oyinza okubuuza omuyizi oba ng’abuuliddeko abalala ku bintu by’ayize okuva mu Baibuli. Oboolyawo waliwo mikwano gye n’ab’omu maka b’ayinza okuyita ne babeerawo ng’ayiga Baibuli. Mubuuze oba nga waliwo bakozi banne, basomi banne oba abantu abalala abalaze nti baagala amawulire amalungi. Singa ayita abalala okumwegattako mu kuyiga kwe, era n’ayogera n’abo abalaze nti baagala amawulire amalungi, ajja kuba atandise okubuulira embagirawo. Muyambe okulaba obukulu bw’okukozesa amagezi, okuwa abalala ekitiibwa era n’okuba ow’ekisa ng’abuulira abalala ebikwata ku Yakuwa Katonda n’ebigendererwa bye.—Bak. 4:6; 2 Tim. 2:24, 25.
3 Okunnyonnyola Abalala Enzikiriza Zaabwe: Kikulu nnyo okutendeka abayizi ba Baibuli okukozesa Ekigambo kya Katonda nga balina gwe bannyonnyola enzikiriza zaabwe. Oluusi n’oluusi nga musoma, oyinza okubuuza omuyizi wo: “Wandikozesezza otya Baibuli okunnyonnyola ab’eŋŋanda ze amazima gano?” oba “Kyawandiikibwa ki ky’oyinza okukozesa okunnyonnyola mukwano gwo ensonga eno?” Weetegereze engeri gy’addamu era omulage engeri gy’ayinza okukozesaamu Ebyawandiikibwa ng’abuulira abalala. (2 Tim. 2:15) Bw’okola bw’otyo, ojja kuba otendeka omuyizi wo okubuulira embagirawo era n’okubuulira awamu n’ekibiina ng’amaze okufuuka omubuulizi.
4 Kiba kirungi okuyamba abayizi ba Baibuli okuba abeetegefu okwolekagana n’okuziyizibwa. (Mat. 10:36; Luk. 8:13; 2 Tim. 3:12) Singa abantu babuuza ebibuuzo oba ne babaako kye boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa, kino kiyinza okuwa abayizi ba Baibuli akakisa okubannyonnyola kye bakkiriza. Brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa—be baani? Kiki kye bakkiriza? esobola okubayamba ‘okubeera abeetegefu okuwa obujulirwa.’ (1 Peet. 3:15) Erimu ebintu abapya bye basobola okukozesa okuyamba mikwano gyabwe n’ab’omu maka gaabwe okutegeera enzikiriza zaffe n’ebyo bye tukola ebyesigamiziddwa ku Baibuli.