Enteekateeka y’Amaka—Okubuulira Awamu ng’Amaka
1 Yakuwa asanyuka bw’alaba ng’abaana abato batendereza erinnya lye. (Zab. 148:12, 13) Mu kiseera Yesu kye yabeererawo ku nsi, ‘abaana abato n’abayonka baatendereza’ Katonda. (Mat. 21:15, 16) Ne leero bwe kityo bwe kiri. Abazadde, muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okunyiikira okutendereza Yakuwa nga beenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo? Nga bwe kyaggumiziddwa mu kitundu ekikwata ku nkuŋŋaana z’ekibiina, ekintu ekisingayo obukulu kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Taata omu yayogera ekintu abazadde bonna kye bayinza okukkiriziganya nakyo bwe yagamba nti: “Ekyokulabirako abazadde kye bateekerawo abaana baabwe kikulu nnyo okusinga okwogera obwogezi!”
2 Mwannyinaffe eyakuzibwa abazadde abatya Katonda yagamba: “Buli Lwamukaaga twazuukukanga tukimanyi nti tulina okugenda mu buweereza.” Mu ngeri y’emu, naawe osobola okuyigiriza abaana bo obukulu bw’omulimu gw’okubuulira ng’ossaawo enteekateeka ebasobozesa okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro buli wiiki. Kino kijja kuyamba baana okukoppa ekyokulabirako kyo era naawe kikuyambe okutegeera endowooza zaabwe, empisa n’obusobozi bwe balina.
3 Okubatendeka: Abaana okusobola okunyumirwa obuweereza, beetaaga okuba nga beeteeseteese bulungi okusobola okubwenyigiramu. Mwannyinaffe gwe twayogeddeko waggulu era yagamba: “Tetwawerekeranga buwerekezi bazadde baffe mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Twali tukimanyi nti tulina okugwenyigiramu, ne bwe kyabanga kukonkona ku luggi kyokka oba okulekawo akapapula akayita abantu okujja mu nkuŋŋaana. Olw’okuba tweteekerateekeranga okubuulira buli wiikendi, ekyo kyatusobozesanga okuba ne kye tuyinza okwogerako.” Mu ngeri y’emu, naawe osobola okutendeka abaana bo ng’okozesa eddakiika ntonotono buli wiiki okubayamba okweteekerateekera obuweereza. Kino oyinza okukikola mu kiseera eky’okusoma kw’amaka oba mu kiseera ekirala kyonna.
4 Bw’obuulira n’ab’omu maka go kikuwa akakisa okuyigiriza abaana bo amazima. Taata omu Omukristaayo yatambulanga ne muwala we olugendo lwa mayilo mukaaga okusobola okugaba tulakiti mu kyalo ekirala. Omuwala oyo agamba nti: “Bwe twalinga tutambula, taata wange yanjigirizanga amazima era ne gantuuka ku mutima.” (Ma. 6:7) Naawe ojja kufuna emikisa gye gimu bw’onoofuba okukola enteekateeka y’okubuulira n’ab’omu maka go.