LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/07 lup. 4
  • Yigiriza Abaana Bo Okutendereza Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza Abaana Bo Okutendereza Yakuwa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Tendeka Abaana Bo Okuweereza Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Ababuulizi b’Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Yamba Abayizi Bo Okufuuka Ababuulizi b’Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 5/07 lup. 4

Yigiriza Abaana Bo Okutendereza Yakuwa

1. Abaana abato basobola okutendereza Yakuwa?

1 Zabbuli 148:12, 13 zikubiriza abawala n’abalenzi ‘okutendereza erinnya lya Yakuwa.’ Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako bingi eby’abaana abato abaakola ekyo. Ng’ekyokulabirako, ‘Samwiri yaweerezanga mu maaso ga Yakuwa nga mwana muto.’ (1 Sam. 2:18) ‘Omuwala omuto’ ye yagamba mukyala wa Naamani nti nnabbi wa Yakuwa ow’omu Isiraeri yali asobola okuwonya Naamani ebigenge bye. (2 Bassek. 5:1-3) Yesu bwe yayingira mu yeekaalu era n’akola ebyamagero eby’amaanyi, “abaana” be baayogerera waggulu nti: “Ozaana eri omwana wa Dawudi.” (Mat. 21:15) Abazadde basobola batya okuyigiriza abaana baabwe okutendereza Yakuwa?

2. Lwaki kikulu abazadde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi?

2 Ekyokulabirako: Nga tebannayigiriza baana baabwe mazima, bataata Abaisiraeri baalagirwa okusooka okwagala Yakuwa era n’okuteeka amateeka ge mu mitima gyabwe. (Ma. 6:5-9) Singa oyogera bulungi ku buweereza era n’obussa mu nteekateeka y’ebintu bye mulina okukola buli wiiki, abaana bo bajja kubutwala ng’ekintu ekikulu era ekireeta essanyu.

3. Mwannyinaffe omu yaganyulwa atya mu kyokulabirako kya bazadde be?

3 Mwannyinaffe omu agamba bw’ati: “Bwe nnali nga nkyali muto, amaka gaffe gaalina enteekateeka ey’okwenyigira mu buweereza obw’omu nnimiro buli wiikendi. Kyali kyeyoleka bulungi gyendi nti bazadde bange baali banyumirwa nnyo okubuulira. Okuviira ddala mu buto bwaffe, obuweereza twali tubutwala ng’ekintu ekireeta essanyu.” Mwannyinaffe ono yafuuka omubuulizi atali mubatize ku myaka musanvu egy’obukulu era kati ali mu mwaka gwe ogwa 33 mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

4. Kitegeeza ki okutendeka abaana mpolampola?

4 Batendeke Mpolampola: Abaana bammwe mubayambe okwenyigira mu buweereza. Oboolyawo bayinza okukonkona ku luggi, okuwa omuntu tulakiti, oba okusoma ekyawandiikibwa. Kino kijja kubasobozesa okunyumirwa era n’okufuna obuvumu mu kubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Bwe bagenda bakula, basaanidde okukola ekisingawo mu buweereza. N’olwekyo, mubayambe okukulaakulana era n’okulowooza ku biruubirirwa eby’eby’omwoyo.

5. Kiki ekyetaagisibwa omwana okusobola okukola ng’omubuulizi atali mubatize?

5 Yogerako n’abakadde amangu ddala ng’okitegedde nti abaana bo batuusizza ebisaanyizo by’okukola ng’ababuulizi abatali babatize era nga nabo bennyini bakyoleka nti baagala okufuuka ababuulizi. Bwe bafuuka ababuulizi kijja kubaleetera okumanya nti balina obuvunaanyizibwa obw’okutendereza Yakuwa. Kijjukire nti omwana omuto okusobola okufuuka omubuulizi, tekimwetaagisa kusooka kumanya bingi ng’abantu abakulu ababatize. Omwana wo ategeera enjigiriza za Baibuli ezisookerwako? Anywerera ku mitindo gya Baibuli egy’empisa? Ayagala okubuulira era n’okuyitibwa omu ku Bajulirwa ba Yakuwa? Bwe kiba bwe kityo, abakadde bayinza okusalawo nti atuusizza ebisaanyizo eby’okukola ng’omubuulizi atali mubatize.​—Laba akatabo Organized to Do Jehovah’s Will, lup. 79-82.

6. Lwaki kisaanira abazadde okutendeka abaana baabwe?

6 Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okuyamba abaana okutendereza Yakuwa okuviira ddala ku mitima gyabwe. Kyokka, ebintu si bingi ebireetera abazadde okusanyuka ennyo ng’okulaba abaana baabwe nga bakulaakulana mu by’omwoyo. N’ekisinga obukulu, Yakuwa asanyuka nnyo abaana bwe boogera ku bikolwa bye eby’ekitalo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share